Lillian Bagala

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lillian Bagala
Eggwanga Munnayuganda
Obutuuze Munnayuganda
Obuyigirize Dipuloma eyenyongereza mu Project Planning and Management okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute, Diguli ya Social Sciences okuva ku Ssettendekero wa Makerere
Gyakoleddeko Irise International, USAID, British Council,

Lillian Bagala ye Dayilekita wa Irise International, mu kitundu kya East Africa era Dayilekita wa Uganda Youth Network .[1][2][3][4] Abadde ku kakiiko k'abakugu aka USAID – CORE okwekenenya n'okulondoola ebiteeso saako ne ba mmemba abaliwo mu kutandiika ekitngole kya AFRiYAN - Africa Youth Adolescent Network for sub-Saharan Africa nga kyali kilungaamizibwa UNFPA okuddukirira enzonga ezikwata ku nddwadde z'ekikaba mu bavubuka[5][6] .Yatandikawo omukutu gwa Period Equality Network nga gukunyiza wamu ba mmemba 85 ab'ebitongole okwetoloola East Africa naddala ebyo ebikola ku by'obulamu byabakyala nga bali mu nsonga saako n'obuyonjo.

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Lillian Bagala ye mukugu akwasaganya pulogulaamu ng'alina obumanyirivu bwa myaka 15 mu kukolagana n'abavubuka saako n'okubakulakulanya[7]Alina Dipuloma ey'enyongereza mu Project Planning and Management okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute[7] Alina Diguli mu Social Sciences (nga yakuguka mu kukwasaganya abantu n'embeera zaabwe, eby'obufuzi, n'endowooza z'abantu) okuva ku Makerere University[7].

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yaweereza ku bukiiko bw'abakugu obuwerako mu Uganda ne ku kakiiko ka British Council okuyitimusa abavubuka okwetaba mu bigendererwa ebinene, Offiisi ya Ssabaminisita ekwasaganya pulojekiti egenderera okubudabuda abavubuka b'omu Bukkikakkono bwa Uganda eya Northern Uganda Youth Rehabilitation Fund (NURF) ng'evujirirwa Bbanka y'ensi yonna era yaweereza ng'eybuuzibwako mu kuzimba ebitongole bya bavubuka. Lillian yali kitundu ku tiimu eyava mu Minisitule y'ekikula ky'abantu mu Uganda abaali bakola okunoonyereza ku mbeera eleesewo obwavu n'okugirwa mu baana mu Uganda nga bakolagana wamu n'ekitongole kya UNICEF, Uganda, Economic Policy Research Centre, Uganda.[8]

Bye yafuna[kyusa | edit source]

Yalondebwa okwegatta ku kibiina ekyali kikolera awamu okusomesa ku by'obulamu eri bakyala naddala obuyonjo ng'abali mu nsonga ekya Global Menstrual Health Collective[9]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.irise.org.uk/2020/09/welcoming-lillian-bagala-as-irise-east-africas-new-regional-director/
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  3. https://www.thecovaproject.com/cova-conversations/2021/9/23/the-cova-conference
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  5. https://www.sharethedignity.org.au/gpff-speakers
  6. https://www.afripads.com/blog/partner-of-the-year-irise-institute-east-africa-champions-of-period-positive-movement/
  7. 7.0 7.1 7.2 https://www.irise.org.uk/2020/09/welcoming-lillian-bagala-as-irise-east-africas-new-regional-director/
  8. https://www.unicef.org/uganda/media/1856/file/Child%20Poverty%20Report:%20main%20report.pdf
  9. https://rise.org.uk/wp-content/uploads/2023/10/Annual-Report-IIEA-2022.pdf