Loyce Biira Bwambale

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Loyce Biira Bwambale yali mmemba mu Paalamenti etaba amawanga ga Africa ng'ava mu Uganda.[1]

Abaddeko omusomesa, era y'aweerezaako nga Omumyuka wa Minisita ow'ekikula ky'abantu okuva mu 1992 okutuusa mu 1994 era nga mmemba mu Kakiiko ka Uganda akakulu okuva mu 1996 okutuusa mu 2001.

Yaweerezaako nga Ssabaminisita w'obwakabaka bwa Rwenzururu era Omubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y'e Kaseseokuva mu 1989 okutuusa 2006 nga tannaba kwegatta ku Bwakabaka bwe Rwenzururu ng'omumyuka wa Katikkiro mu 2010.

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Loyce Biira Bwambale yazalibwa mu Disitulikiti y'e Kasese mu Buggwanjuba bwa Uganda mu 1952. Pulayimale ye yagimalira ku Bwera Primary School, mu Bwera mu 1967. Mu 1968 okutuusa mu 1971, yasomera ku Kyebambe Girls Secondary School okuva mu S1 - S4. Okuva mu 1972 okutuusa 1974, yasomera ku Nabumali High School mu S5 ne S6.

Okuva mu 1974 okutuusa mu 1977, yasomera ku Makerere University, gye yafunira Diguli ye mu bimera n'ebisolo eya BSC [Botany & Zoology] (ebitiibwa) ne Dipuloma mu busomesa (first Class).

Laba na bino[kyusa | edit source]

  • Olukalala lw'aba mmemba ba Paalamenti etaba ensi za Africa

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]