Lucy Akello

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lucy Akello Munayuganda alwanirira obwenkanya bw'abantu n'okulaba nga babeera mu mbeera nungi nga kuno kw'ateeka okubeera munabyabufuzi, awereza ng'omubaka wa Paalamenti mu konsitituweensi y'abakyala mu Disitulikiti ya Amuru mu Paalamenti eyekumu okuva mu 20216 okutuuka mu 2021.[1][2][3] Yalondebwa emirundi ebbiri egy'omudiringanwa mu Paalamenti eyekumineemu okukiikirira Disitulikiti ya Amuru District ng'ali wansi w'ekibiina kyobufuzi ekya FDC.[4][5] Y'omu kubali mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) ekivuganya gavumenti, ng'awereza nga minisita ow'ekisikirize ow'ebyemirimu ekikula ky'abantu n'enkulaakulana y'ebitundu.[6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Akello yazaalibwa nga 9 Ogwekumi mu 1980, ku kyalo kya Lamogi, mu Disitulikiti ya Amuru, mu bitundu bya Bukiika ddyo bwa Uganda. Taata we ye John Obina, omusomesa ku Yunivasite y'e Kyambogo.[7]

Akello yasomera ku Olwal Ocaja Primary School,oluvannyuma n'agenda ku Lacor Primary School, Mary Immaculate Primary School e Gulu ne Kyambogo Primary School gyeyatuulira P7. Oluvannyuma yagenda ku Iganga Secondary School gyeyamalira S4, ate S6 n'agituulira ku Uganda Martyrs' Secondary School e Namugongo. Yagenda ku Yunivasite y'e Makerere, mu Kampala, gyeyatikirwa mu 2004, ne Diguli mu by'ensonga z'abantu mu bitundu. Oluvannyuma mu 2011, yafuna Diguli eyookubiri mu byokulakulanya ebitundu, okuva ku Uganda Martyrs University esinganibwa e Nkozi, mu Disitulikiti y'e Wakiso.[1][7][8]

Obumannyirivu bw'alina mu bye mirimu[kyusa | edit source]

Mu 2005, yaweebwa ab'ekibiina kya Justice & Peace Commission (JPC), ekitadukanyizibwa gavumenti, nga kiri mu Klezia y'abakatulikiokulakulanya emirembe n'enkolagana mu bifo ebyatataganyizibwa entalo mu Bukiika Ddyo bwa Uganda. Yakolera okumala emyaka 10, nga y'avunaanyizibwa ku bya pulogulaamu ezigenda mu maaso, oluvannyuma nga yakulira abadukanya pulogulaamu, ate okuva 2006 okutuuka mu 2014, nga y'akulira. Esira yasinga kuliteeka ku ddembe ly'abantu, obuyinza ku ttaka, eddembe ly'abakyala n'eddembe ly'abaana.[1][7]

Emirimu gye mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu Gwekumi 2014, Betty Bigombe, eyali Omubaka w'Abakyala mu Paalamenti owa Disitulikiti ya Amuru yeewandiisa okugenda okufuna omulimu mu Baanka y'Ensi yonna mu kibuga Washington, DC.[9] Okulonda okwenjawulo kwategekebwa okujuza ekifo kino mu Gwekumineebiri mu 2014. Akello, nga yeesimbyewo ku ludda oluvuganya ng'ali ku tiketi y'ekibiina kya FDC ekyebyobufuzi yawangula abalala musanvu abaali beesimbyewo.[10][11] Mu biseera by'okulonda kwa Paalameenti okwa 2016, yaddamu ne yeesimbawo era ng'ali ku tikiti ya FDC.[12] Yayogera eirundi 30 mu mwaka gwe ogusooka mu Paalamenti eyekumi.[13]

Eteeka erirwanisa obuli bwebisiyaga[kyusa | edit source]

Akello yali omu ku Babaka eyali ayagala Eteeka erivumirira obuli bw'ebisiyaga okudizibwa obugya.[14] Eteeka lino, lyali likugira eddembe ly'okwogera ku bali beebisiyaga n'ensonga zonna ezibyekuusa ku buli bwebisiyaga okubeera nga za musango wabula nga Ekkooti Etaputa Semateeka wa Uganda yategeeza nga bwelyali lyagwawo 2014. Yamala n'awangula ku kyeyali aluubirirwa Eteeka Erivumirira obuli bw'ebisiyaga weryayisibwa mu Gwokutaano mu 2023. Eteeka lino liwakanya Eddembe ly'Abantu munsi yonna omuli okwenyigira munsonga z'Abantu, Ebyobufuzi eryayisibwa olukiiko lw'Ekitongole Ekigatta Amawanga G'ensi nga kiwakanya emirembe gy'okwogera era nga kikuvirako okuteekebwa ku kalaba.

Yayogerako ng'awakanya eddembe ly'abantu ekikula kino bweyali nga ku mikolo ky'ensi yonna, gamba nga kumikola ng'egyali mu Yitale nga gitegekeddwa aba World Congress of Families mu 2019 .[15]

Famire[kyusa | edit source]

Akello mukyala mufumbo alina n'abaana.[7]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 https://web.archive.org/web/20171112021046/http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=130
  2. http://kfm.co.ug/news/lucy-akello-to-be-sworn-in-as-new-amuru-woman-mp-on-tuesday.html
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/amuru-woman-mp-sued-over-election-1595692
  4. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/5b74a303-fe48-4b2b-832c-1e8f05220b99/
  5. https://www.youtube.com/watch?v=75waAUjjiko
  6. http://capitalradio.co.ug/fdc-shadow-cabinet-list/
  7. 7.0 7.1 7.2 7.3 "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/amuru-woman-mp-sued-over-election-1595692
  9. https://web.archive.org/web/20151017091959/http://www.redpepper.co.ug/bigombe-resigns-as-amuru-mp/
  10. http://www.monitor.co.ug/News/National/Amuru-Woman-MP-sued-over-election/688334-2574526-15f7dmnz/index.html
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://ugandaradionetwork.com/story/tda-drops-akello-lucy-as-its-candidate-for-amuru-mp-race-
  13. https://web.archive.org/web/20171201033912/https://uganda7.com/info/most-silent-active-mps-named/
  14. https://www.nytimes.com/2023/03/22/world/africa/uganda-lgtbq-anti-gay-law.html
  15. https://www.politico.eu/article/verona-italy-world-congress-of-families-lgbt-protests/

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]