Lulu Hassan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Obulamu bwe obwasooka[kyusa | edit source]

Lulu yazaalibwa mu Ssaza Mombasa era yasomera ku Aga Khan Academy. Oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye, Lulu yatendekebwa mu mirimu egy'enjawulo egikwata ku by'obulambuzi mu Salrene Travel Operations College. Oluvannyuma yatandika okukola ng'omuweereza ku leediyo eya Salaam e Mombasa era n'asalawo okweyongerayo n'emisomo n'asoma eby'amawulire.

Emirimu[kyusa | edit source]

Lulu Hassan yatandika omulimu gwe ogw'amawulire ng'omwanjuzi ku leediyo eya Salaam oluvanyuma lw'okumaliriza emisomo gye egya siniya. Mu 2008, yali akola ng'omuweereza w'amawulire ku leediyo, nga agasoma mu Lungereza. Mu kiseera kino omutambi wa KTN yamutegeeza ku kizibu obwali ku mukutu, ng'abanaabwe babiri ab'oluswayiri bwebaali baagenda mu luwummula lw'okuzaala. Hassan yasalawo okweteeka mu kabaate okufuna omulimu gun era bebamwekebegya, yaweebwa omulimu ku KTN Television ng'omusomi w'amawulire.

Oluvannyuma yagenda ku Royal Media Services, gye yeeyongera okukola ng'omusomi, w'amawulire, era ng'akola neku pulogulaamu eya Nipashe Wikendi ne Rashid Abdalla ku Citizen TV.

Lulu Hassan y'avunaanyizibwa ku kukuuma erinnya era omutandisi wa Jiffy of Pictures, ennyumba y'okufulumya firimu gy'akulira n'omwami we, Rashid Abdalla. Jiffy Pictures yafuna ettutumu olw'okufulumya programu z'oku ttivi ez'omu ezayagalibwa okulagibwa ku mikutu nga nga MultiChoice's DStv ne Showmax. Hassan era yemuteesiteesi wa flimu enyimpimpi ez'ebitundu ezifulumizibwa Jiffy Pictures okuli Maria, Sultana, Zora, Moyo ne Aziza ku Citizen TV, Huba ku Maisha Magic Bongo, Kovu ku Showmax, ne Maza ku Maisha Magic East. Mu 2018, Maza yalondebwa okuba akazannyo ka ttivi akaasinga era ng'omuzanyi omukyala eyasinga ku Awaadi eza Kalasha. Obuzannyo buno bwa ttutumu mu Kenya ne Tanzania kuba olulimi oluswayiri gyerusinga.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Lulu Hassan yafumbirwa Rashid Abdalla, omuweereza w'oluswahili ku Citizen TV mu Royal Media Services. Bombi bafumbiriganwa mu 2009 e Mombasa, oluvannyuma lw'okusisinkana nga bakolera ku Radio Salaam.

Okusiimibwa[kyusa | edit source]

Lulu yaweebwa engule ya "Mwanamke Wa Shoka" (Omukazi ow'okusikirizibwa) mu East Africa mu 2022 Mwanamke wa Shoka awards eyateekebwawo ekitongole kya Tanzania media house EFM ne TVE.

Lulu yaweebwa ekirabo kya Best Movie/Series Producer of the Year mu Africa mu 2022 ZIKOMO Awards. Embaga y'ebirabo mu nsi yonna yakwatibwa mu Zambia.

Lulu Hassan, ng'ayitira mu kkampuni ye Jiffy Pictures, yawangula ekirabo kya Best Producer Award (TV Drama - Maria) mu 2021 Women in Film Awards ceremony.

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]