Lulyansolo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lulyansolo kye kiramu ekifuna amasoboza (energy) n'ebiriisa (nutrients) okusingira ddala nga ekikula kyakyo kirya nnyama ya nsolo endala okuyita mu kugajambula n'okuyuza ebiramu (predation) oba okuyigga ensolo ezifudde. Muno mulimu ensolo nga empologoma, goonya, engo, n'endala.

Lulyabimera (Herbivorous) eba nsolo efuna ebiriisa (nutrients) n'amsoboza (energy) gaayo nga okusingira ddala erya bimera. Muno mulimu ente, embuzi, n'endala.

Ate "lulyansolobi" (Omnivorous) efuna ebiriisa byayo n'amasoboza nga erya byombi, ensolo n'ebimera. Weetegereze : Ensolo + Bimera = Ensolobi (Omunivorous). Omuntu naye lulyansolobi.

Bivudde mu kitabo "Essomabiramu"(Biology) ekya Muwanga Charles