Lumonde mmer

Bisangiddwa ku Wikipedia

LUMONDE MMERE[kyusa | edit source]

Lumonde ddala mmere kubanga abantu bangi bagyettanira.

LUMONDE ASIMBIBWA ATYA? Osooka n'otegeka ekisambu nga mu kutegeka mwemuli okusaawa n'okutema ebikata. Naye nze kye nneetegerezza ebikata byetaaga ettaka eritali gimu nnyo kubanga amalagala okusobola okukola lumonde omugumu akuumuka yetaaga ettaka ekalukalu.

Amalagala geetaaga okuba eg'ekikka ekirungi.

Nkukubiriza nti bw'oba onoolima lumonde okusobola okufuna ensimbi nnandikusabye olime lumonde mu bungi kubanga omu afa omulala n'akola so kyandibadde kya magezi okulima nga mungi okutandika ne yika nnamba.

Akatale weekali wano mu Ggwanga.