Luyonsa (Mammals)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Luyonsa

 ( Mammals)

Ebikula bya luyonsa biri eyo mu nkumi nnya , nga ekikula kya luyonsa ekisingayo obutono ke kawundo ek’oluyindo ate ekikula kya luyonsa ekisinga obunene ye lukwata (whale) eya bbulu eno nga ebaako nga fuuti kikumi ate ezitowa ttani kikumi mw’ataano . Kyokka oba zibeera ku lukalu oba mu mazzi , luyonsa zonna zirina ebisonjozo eby’awawamu . Luyonsa zonna :

• Nsolo ez’enkizi ( vertebrates) kuba zirina ebikoggo oba olukoggo( backbone or spine).

• Nsolo ez’omusaayi omubugumu (warm-blooded animals) oba “lwepimirabbugumu “( endothermic animals). Lwepimirabbugumu nsolo ezirina emibiri egifuga obwoki bwagyo, ekintu ekizisobozesa okuwangaalira kumpi mu buli mbeera ya budde ku Nsi.

• Zirina obwoya ku mibiri gyazo

• Emibiri gyazo gikola amata okuyonsa ebito byazo. Kati nno eno y’ensonga lwaki Muwanga aziyise Luyonsa .


Bivudde mu kitabo "Essomabiramu"(Biology) ekya Muwanga