Jump to content

Lweza FC

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lweza Football Club yali kiraabu ya mupiira nga esiinziira mu Kampala, Uganda. Baakyaliza ng'emipiira gyabwe ku kisaawe kya Muteesa II e Wankuluku.[1]

Ebigikwatako

[kyusa | edit source]

Kiraabu eno yzannyira nga mu kibinja kya Uganda ekya babinyweera. Oludda luno olwaali lusinziira e Kajjansi baalutandikawo mu 1990 okuteekawo eddaala ly'obumannyirivu mu kutendekerwa okwekikugu wamu ne pulogulaamu z'okukulakulanya abazannyi nga bazizimbidde ku mitendera gy'ensi yonna.

Kiraabu y'e Lweza ey'omupiira yakulakulana okutuuka muzimu ku kiraabu ezaali zisinga okubeera enene era nga zatutumu mu Uganda, ng'eyambye abazannyi abasoba mu 70 ku mutendera gw'okuzannya omupiira gw'ensimbi ebweru w'eggwanga wamu ne ku ttiimu z'abavubuka.

Lweza FC yali ezimbiddwa ku musingi gw'okubeera nga yali siyakukola magoba, ng'era yali ekolagana n'akakiiko akaaliko ba memba, abazannyi, banakyewa, abatendesi wamu ne bamaneja okutekawo kiraabu y'omupiira nga yakitundu omusinganibwa kyonna, era nga y'abantu. Yasinga nga kwesigama ku banakyewawamu ne ssente ezakungaanyizibwa nga zaali zikozesebwa okuyamba kiraabu wamu n'abantu abeetolodde.

Mu 2017, kiraabu yagulibwa Jude Mbabali, eyali munamateeka ate munabyabufuzi, eyagenda oluvannyuma nagigya e Kajjansi gyeyali esiba amakanda n'agitwala e Makasa.[2][3]

Byeyaganyulwaamu

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]