Mac Elvis

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Mac Elvis (yazaalibwa era natuumibwa Mutalya Mark Elvis; Ogwekkuminebiri 1, 1987 - Ogwekkumi 18, 2013)[1]), yali Muyimbi wa Uganda ow'ennyimba z'eddiini era omutunzi w'ennyimba.[2] Yabbira mu kidiba ekiwugirwamu bweyali mu kulambula mu Dar es Salam.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Mac Elis yazaalibwa nga 1 Ogwekkuminebiri 1987. Yafiirwa bakadde be ku myaka 6. Okuyita mu kkanisa ya Watoto Church's ministry eri bamulekwa n'abaana abateesobola, yayambibwako mu kusoma kwe. Oluvanyuma lw'okumaliriza sekendule, Elvis yagenda mu situdiyo n'esuubi nti ekirooto kye eky'okuyimba kigya kutuukirira.[4]

Mu kisaawe ky'okuyimba[kyusa | edit source]

Mac Elvis yakuzibwa ku musingi n'obuweereza bw'ekkanisa. Yalina okwagala mu kuyimba era yalikodinga n'afulumya Alubaamu ye eyasooka eya "Yo Love" mu 2009. Ne Alubaamu ye eno, yatandiika n'okulambula amasomero n'ekigendererwa eky'okubunya enjiri mu bavubuka. Alubaamu ye ey'okubiri eya, "Church boy" ya likodingibwa mu 2011. Yali akuguse mu kuwandiika ebigambo saako n'obukugu mu kukola n'okutunda ennyimba. Alubaamu eno yamuteeka ku mutendera gwa waggulu nnyo mu kisaawe ky'okuyimba. Yalondebwa emirundi ebiri mu awaadi za Olive Gospel awards ng'omuyimbi omupya era omuyimbi wa RnB asinze. Asitudde abantu abanene nga Papa San, Kirk Franklin ne Cece Winans mu ndaga zaabwe mu Kampala.[5]

Ennyimba ze y'ayimba[kyusa | edit source]

Ennyimba[kyusa | edit source]

  • Topowa game
  • Church boy
  • Mufiirako

Alubaamu ze yakola[kyusa | edit source]

  • Yo love, 2009
  • Church boy, 2016

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20140309084006/http://www.redpepper.co.ug/gospel-singer-mac-elvis-dead/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20131027202035/http://investigator.co.ug/entertainment/1012-topowa-game.html
  4. https://web.archive.org/web/20160304095747/http://www.watotochurch.com/index.php?option=com_content&task=view&id=246&Itemid=335
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-06. Retrieved 2022-12-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]