Jump to content

Madoxx Sematimba Sematimba

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

David Amon Ssemanda Ssematimba (yazaalibwa 1972) amanyiddwa n'erinnya lye erya siteegi, Madoxx Ssemanda Sematimba munnayuganda omuyimbi ow'ennyimba ez'ekika kya Legge (Raggae genre). [1] Amanyiddwa nnyo mu Uganda olw'ennyimba ze ez'ekika kya Legge (Raggae genre) eziri mu Luganda, abeera mu Kampala, Uganda [2]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssematimba yazaalibwa mu Kampala mu 1972. Yasomera mu ssomero lya pulayimale erya Makonzi Boarding Primary School ne siniya Busoga College Mwiri. Bweyali tannalondawo kkubo lya kuyimba, Ssematimba yakola ng'omusomesa wa pulayimale. Yasenguka n’agenda e Stocholm Sweden mu 1991, bweyali aweza emyaka 21 egy’obukulu. Bwe yali ayimba mu bifo ebisanyukirwamu ekiro ( Night clubs) okusasula ssente z'okusoma kompyuta, yasisinkana Kenneth "Mafo" Ssejjemba Magoye,muyimbi munne, eyamwanjula eri Aggrey Ssembatya nnannyini kkampuni ya Small Axe Productions . Yagenda e Gothenburg oluvannyuma gye yatandikira okukola ku alubaamu (Album) ze ku kkolero ly'ennyimba / situudiyo ya Small Axe Studios. Yawandiika, yayiiya, yategeka,yasengeka amaloboozi , yutabula era naafulumya ennyimba zonna ku ntambi nga Aggrey bwakola eby'ekikugu n’okuyambako ku kutabula entambi .

Omulimu gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Madoxx Sematimba muyimbi wa nnyimba ez'ekika kya Legge,(Raggae genre) ayimba mu Luganda .Alubaamu oba olutambi lwa Madoxx olwasooka olwafuluma mu 2000 ,olwatuumibwa Tukolagane lwalimu ennyimba "Namagembe", "Tukolagane", "Omukwano Gwafe", "Munakyalo", ne "Eddembe" . [3] Yagigobereza mu 2006 n'olutambi Abato, n'ennyimba nga "Nakatudde", "Leka Nkulage", "Easy" ne "Wansonyi"............ [4] Yakwatibwako Gregory Isaac ne Israel Vibration menye ki ndeke ki . Yeeyongera okuyimba okutuusa mu 2009 lwe yakomawo mu Uganda, kyokka kigambibwa nti yava ku by'okuyimba oluvannyuma lw'omwaka gumu. [5] Okuva mu 2014 Maddox abadde ayimba wano awaka mu Uganda. Alina abaana babiri. [6]

Olukalala lwa alubaamu (Album) / ennyimba ze

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Tukolagane, 2001. Enkola y’okusomesa abantu
  • Abato, 2006. Omuwandiisi w’ebitabo

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Maddox Sematimba: I love music but miss my family". monitor.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  2. "Reggae made in Uganda". newvision.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  3. "Maddox Sematimba Arrested. – Red Pepper Uganda". www.redpepper.co.ug. Retrieved 2016-10-07.
  4. "What songs made the hit list in 2007?". newvision.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  5. ♫ Abato - Madoxx. Listen @cdbaby, archived from the original on 2016-10-09, retrieved 2016-10-07
  6. "Bayimba festival ready for second round". Daily Monitor (in British English). Archived from the original on 2016-10-09. Retrieved 2016-10-07.
  7. Eupal, Felix. "Star Trail: Maddox now chapatti seller". www.observer.ug. Retrieved 2016-10-07.
  8. "Maddox Sematimba: I love music but miss my family". Daily Monitor (in British English). Retrieved 2016-10-07.
  9. Ndyabahika, Davidson (2016-06-09). "Ugandan Music Hero: Madoxx Sematimba the Ugandan reggae Master". TheSpyNews. Archived from the original on 2016-10-14. Retrieved 2016-10-07.
  1. "Maddox Sematimba: I love music but miss my family". monitor.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  2. "Reggae made in Uganda". newvision.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  3. "Maddox Sematimba Arrested. – Red Pepper Uganda". www.redpepper.co.ug. Retrieved 2016-10-07.
  4. "What songs made the hit list in 2007?". newvision.co.ug. Retrieved 15 December 2014.
  5. Eupal, Felix. "Star Trail: Maddox now chapatti seller". www.observer.ug. Retrieved 2016-10-07.
  6. Ndyabahika, Davidson (2016-06-09). "Ugandan Music Hero: Madoxx Sematimba the Ugandan reggae Master". TheSpyNews. Archived from the original on 2016-10-14. Retrieved 2016-10-07.

Lua error: Invalid configuration file.