Jump to content

Majid Musisi

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Majid Musisi (Oluusi liwandiikibwa nga Magid Musisi[1][2]) (Okuva nga 15 Ogw'ekkumi 1967 okutuusa nga 13 Ogw'ekkumineebiri 2005). Yali Munnayuganda omusambi w'omupiira amannyiddwa okuba omuzannyi eyasooka okuzannyira ku ttiimu Y'abangereza.[3][4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Musisi yazaalibwa Omwami Siraje Katende n'omukyala Deborah Namutebi.[5] Yasomerako ku ssomero lya New Mulago Primary School oluvannyuma nadda ku Bashir High School gye yawandukira naatandika okusamba omupiira.[6][7]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Majid Musisi, nga abasambi ab'amanyi abalala okuva mu Gy'ekinaana yaliisa ekitone kye, nga yali atendekebwa mu kisaawe ky'eMulago ekimanyiddwa nga 'Maracana' nga lino erinnya lyabbulwa mu kisaawe kye Brazil. Yali omu ku bazannyi abaali bateereddwako ennyo amaaso mu ssomero lya Mulago Primary School wamu ne banne okwali Adam Semugabi ne Rajab Sekalye.

Musisi olw'okuba ow'amanyi ennyo, nga ate mwangu mu kisaawe kyamuleetera okuyitibwa omukulu mu banne era kino mu 1983 ku myaka 16 ky'amuleetera okutwalibwa aba ttimu ya Pepsi FC. Mu mbeera eno, Majid Musisi yasuulawo emisomo gye bwe yali ali mu Bashir High School erisangibwa e Wandegeya. Oluvannyuma lw'okusamba obulungi mu ssizoni eyo, omuzannyi omulungi okuva mu SC Villa ayitibwa David Otti yamulaba era naamugatta mu kibinja kya Villa nga bano baali beetegekera mpaka z'akikopo kya Cecafa Club Championship mu Gw'oluberyeberye 1985.

Wabula mu zino, Majid Musisi yasubwa okugenda ebweru w'eggwanga okuzannya nga kyava ku ppaasipooti ye okulwawo okukolebwako. Oluvannyuma yasobola okuba ne banne ne basamba ne El-Hilal mu mpaka za Africa Club Championship nga wayise wiiki ssatu. Mu kiseera ekyo, SC Villa yali y'amanyi nnyo era nga balina ebikopo bibiri mu liigi zebeetabamu. Rogers Nsubuga yeeyali asinga okulamba mu kisaawe wamu ne Ronald Vubya ne Shaban Mwinda mu kibinja.

Ekibinja ky'alina abawuwuttanyi abaali bagerezaako ddala omwali Issa Kawooya ne George Muwanguzi abaali balumba. Naye ddala SC Villa yali yeetaaga Majid Musisi? Abawagizi bangi baali beebuuza mu kiseera ekyo. Otti yali amanyi bulungi era yanenyezebwa era yalekulira mu kiseera kitono olw'okukola obubi mu ttiimu. Nga bafunye omutendesi omupya, eyali ayitibwa imothy Ayiekoh, Musisi yakola bulungi mu kuzannya kwe okwasooka bwe baali bazannya ne, era yateeba emirundi ebiri. Oluvannyuma yateeba ggoolo lwe baasamba ne ttiimu ya Heroes.

Olw'ensonga ezimu, Ayiekoh yali ayagala abasambi abaali bagezesaddwako okuzannya mu mipiira egyamanyi. Mu mipiira egimu gyeyazannya, Ayiekoh yamuteeka ku ludda olwali ku mukono gwa ddyo mu kisaawe naye terwamusobozesa kuzannyanga bulungi. Mu Gw'omunaana gwa 1985, yayitimuka mu bugubi, era erinnya lye nerissibwa ku lukalala lw'abasambi ab'amanyi mu ggwanga. Villa lwe yali esamba ne Express…Kampala yenna emirimu gyaayimiriranga, abawagizi enkuminenkumi ne beesomba mu Nakivubo era baatuuka nga balwana bulwanyi okuyingira ekisaawe, Majid Musisi, yateeberawo mu ddakiika ennya ezasooka era ne kiwa SC Villa obuwanguwa bwa ggoolo 2–0 nga baaali ne Express.

Mu kumaliriza okusamba okwo, ebyavaamu si bye byali ebyenkomereddde naye waliwo omuzannyi "eyeewunyisa ennyo" owa Villa eyali atebye nga bangi abalala tebannayingira. Yadde Villa teyawangula kikopo kyonna sizoni eyo,tebaawangula kikopo kyonna, baali boogerwako birungi byereere nti baali bagenda kufunamu ebirungi mu maaso. Ddala bwekyali kubanga mu sizoni ya 1986, Villa yafuna omutendesi omupya nga ye yali Polly Ouma. Mu budde bwe yayongera omutindo ku ggoolo ze ez'emirundi omukaaga ku munaana ez'omu 1985. SC Villa yawangula mu liigi yaayo eyasooka era ne bafuna ekikopo emirundi ebiri.

Era ggoolo zaatandika okuyiika mu 1987; yateeba ggoolo ssatu SC Villa beyawangula mu mpaka za Cecafa Club Championship era Nsubuga bwe yatuuzibwa oluvannyuma lwokufuna obuvune, Ouma yateeka Majid Musisi mu kifo kyasinga okuzannyiramu obulungi eky'omumakkati, era yateeba ggoolo munaana mu mipiira omukaaga egyasooka mu liigi eyo. Olw'obujagujagu bweyalina bwaleetera omutendesi wa Cranes Barnabas Mwesiga okumuwa omukisa ku myaka abiri okuzannya omulundi gwe ogwasooka mu Gw'omusanvu gwa 1887 mu mpaka z'okusunsulamu eza Olympic ezaaliwo mu 1888 ngabaali bazannya ne Mozambique.

Majid Musisi yakola ne Phillip Omondi mu maaso, era baakola bulungi nnyo ekyabaviirako okuwangula Mozambique ne ggoolo 4–1. Oluvannyuma, ababiri bano buli omu yateeba ggoolo nga zino zaakola obuwanguzi bwa ggoolo 2–0 ekyayamba okukakasa nti Uganda yeeyongerayo mu maaso ku mutendera oguddako. Bwe yali akyali mu Villa, Vubya yeeyali amufaanana, era nga naye azannya bulungi ddala nga Musisi intelligent. Era ssizoni bwe yaggwako, Musisi yawangula ekifo ky'omuteebi asinze nga yalina ggoolo.

Oluvannyuma mu mwaka gwegumu, ababiri bano baajeemera etteeka lya Fufa nebeetaba mu mpaka za Buganda ez'ebika nga ebula nnaku empaka z'okusunsulamu eza Olympic ze baali bagenda okusamba ne Zambia. Baabawummuzaamu, naye abawagizi beegayirira babazze kino bakama babwe baakiwuliriza, era baabakkiriza okudda ne basobola okwetaba mu mpaka ezo. Ababiri bano Musisi ne Vubya beebaawanguza Uganda ne ggoolo 2–1.

Wabula ate, abaZambian baali basobola okujjako Uganda naye ttiimu ebbiri bwe zaasisinkana, mu mpaka z'ekikopo kya CECAFA oluvannyuma mu mwaka ogwo, Majid Musisi yakola bulungi nnyo nga bazannya n'abaZambia, era yateeba ggoolo ssatu ekyavaamu kwekufuna eky'omuteebi asinze oluvannyuma lwempaka. Yalondebwa ku kifo Ky'omuzannyi w'omwaka mu 1987. Patrick Kawooya, nga yali mugagga wa SC Villa, era nga yali omu ku baali beegomba ennyo Musisi. Yamupangisiriza ennyumba eyebbeeyi e Najjanankumbi nga yaamulembe era nga erimu ebyetaagisa byonna okwali ffiriigi, akuuma akafumba, ttivvi, ne gerereeta wamu neebintu ebirala ebyebeeyi.

"Nzijukira lumu Musisi yantuukirira nga alina ensawo ejudde ssente ne tugenda e Kyebando gyetwagula ppoloti, ssente zaali nnyingi", maama wa Majid Musisi Namutebi bw'ayogera. Agamba nti ye yali ayimirizzaawo ffamire yonna . "Bweyafuna ssente ngaatutumuse, obuvunaanyizibwa bwa ffamire bwonna yabutwala era naatandika okuweerera banne abaali bawera nga 12", ayongerako.

Majid Musisi ne Kawooya baalinga wamu mu mbeera nnyingi, era Musisi yeeyali atabaganya abazannyi abalala.

"Mu kiseera ekyo, abazannyi ba Villa abato nga nze twayogera nga ebitusoomooza nga tubiyisa mu Majid Musisi era olunaku olwaddiriranga ekizibu kyabanga kigonjooleddwa", ayogera ye Charles Sebugwawo eyali omuzannyi wa SC Villa player. Goolo, ggoolo ggoolo

Olw'obuvumu bwe neekiwago tewali mukuumi yamusobolanga. Abawagizi baamukazaako lya 'Tyson,' eryagyibwa ku mukubi w'ebikonde omuzito Mike Tyson nga ono gwe baali bamugeraageranyako era nga yali w'amanyi mu biseera bye. 'Magic' kye kigambo ekirala kye baamuteekako olw'enzannya ye. Mu ssizoni ya 1988, Majid Musisi yagumira embeera ey'okunnyikibwa era okwekkiririzaamu kweyalaga kwamwongera ettetumu.

Katemba yalabibwa mu mpaka ez'okusalawo ani asinga bwe baali basamba ne KCC, Majid Musisi yasubwa okuteeba emirundi egyawerako era ne basooka babeera 1–2. Wabula oluvannyuma Vubya yateeba ggoolo nebasooka benkana nga wabula eddakiika ntono, Kawooya yagenda ku lusaze olwawulamu n'anyakula amanyi ga Geoff Hudson, eyali omutendesi wa Villa. Yasaba John Kaweesi yeetegeke olw'okuteeka Majid Musisi mukifo ekikyamu.

Nga bakyalinze mu bugubi, Majid Musisi yateeba ggoolo y'obuwanguzi era Kawooya yadduka naagenda ewa Musisi okusobola okumukulisa. Sizoni weyaggwera, Majid Musisi yali atebye ggoola 13 mu liigi eyo. Naye okusinziira ku nkola ye, yali addiridde era nga kyava ku kuba nga emipiira egimu yagisubwa olw'obuvune ku kakongovule.

Majid Musisi yanditeebye oluvannyuma, okusobola okujja KCC mu Kikopo kya Uganda nga tannaba kuteeba ggoolo ennungi ennyo nga basamba ne Express mu Kikopo kya Uganda mu z'akamalirizo bwe baali basamba. Villa yeeyawangula empaka ezo era ekikopo neekitwala emirundi ebiri. Nga wayiseewo wiiki emu,yeeyongerayo n'okusamba mu mpaka z'ebika bya Buganda nga yali akulembeddemu ab'ekika Ky'olugave era baawangula abe'Ngabi ne ggoolo 5–0 mu kamalirizo. Naye ate olugero lwakyuka mu 1989; Musisi teyakoma ku kuyamba Villa okusobola kunywera wabula yawangula n'engule y'omuteebi asinze ne ggoolo 15.

Mu kumaliriza empaka za CECAFA n'obuwanguzi, yeeyali omuteebi asinze ne ggoolo nnya era naayongera naakola bulungi mu kamalirizo mu mupiira gwa mweyakubira Malawi era neewangula omuzannyo gunno nga wayise emyaka kkumuneebiri. Mu 1990, SC Villa ne Musisi baasigala nga bawulikika nnyo, era ebitongole ebiraga omupiira ku mitimbagano by'asigaza liigi eno era ne balaga ggoolo za Majid Musisi 28 bwe zenkana n'eza Isa Sekatawa ezaali awaadi essatu ez'omuteebi asinze. Ku ntandikwa y'omwezi Gw'omwenda mukuumi mu mupiira gwe baasamba ne DR Congo era yateeba ggoolo ey'obuwanguzi mwebaateebera ggoolo 2–1 mu mpaka za Nations Cup qualifier.

Teyakoma awo, mu Gw'ekkumineebiri yakola bulungi era Uganda yakuba Sudan ne ggoolo 2–0 okusobola okusigala erinnya lya CECAFA. Ekiteewunyisa, yeeyawangula eky'omusambi w'omwaka mu kifo eky'okubiri. Mu 1991, yateeba ggoolo 17 mu liigi era naafuuka omusambi asoose okutuuka ku ggoolo 100 mu liigi naye Villa yamaliriza sizini ended the season empty-handed.

Wabula ate, baalina ensonga zonna okujaguliza ekifo ky'awaggulu mu mpaka za Africa Club Championship. Majid Musisi yateeba ggoolo ezaawerako mu kkampeyini ya fairytale era ekyamanyi kyeyakola kyali ky'akuteebesa mutwe bwe yali asamba n;omuNigeria Iwuanyanwu Nationale mu mpaka ezaddirira ez'akamalirizo.

Mu 1992, yali ku mulamwa gw'akujjawo likodi ya Jimmy Kirunda ey'okuteeba ggoolo 32 buli sizoni. Yateeba ggoolo 29 ezaatakuza abantu emitwe mu kitundu kya liigi ekyasooka. Mu liigi ye eyasembayo, yatigomya omusambi wa KCC goalie Sadiq Wassa naatuuka ne ku ssa ly'okuteeba ggoolo ye ey'okuna ku ggoolo 5–0 ez'obuwanguzi, yatambula naava mu kisaawe nga alinga agamba nti abasambi b'omu Uganda baali tebakyamugyamu. Oluvannyuma yeeyongera okukola obulungi era omuwendo gwa ggoolo ze gweyongera nezituuka ku ggoolo 144.

Waaliwo omukisa nga oluvannyuma olwa ttiimu enkulu eya Bufaransa eyitibwa Rennes lweyamuwandiisa ku ssente ezaali ziwera $180,000. Villa yakozesa ezimu ku ssente zino okugula ekizimba ky'ekibinja kya Makindye-Luwafu . Twewali ky'abalemesa

Majid Musisi asobola okunnyonyolwa nga omuntu Omusoddookisi, omuntu alowoozesa omuntu omulala nti okuteeba kwangu nnyo. Yali mulungi mu kumaliriza era yafuna ekisinga mu kikula kye era yali mulungi mu kuzannyisa omupiira. Ku ludda olulala, yali akola nnyo n'amanyi, nga mwangu nnyo, erabnga asobola okusala basambi banne era nga abuuka nookubuuka ekyamufuula omusambi omuzibu wookukuuma.

While many of today's strikers avoid tackles, Majid Musisi was a nightmare for man-markers. Yet despite his fearsome frame, Musisi was always composed and never lost his temper or retaliated yet many teams purposely set out to eliminate him. Professional football

Bwe yali mu Rennes, Majid Musisi yakola bulungi nnyo er yateeba ggoolo ez'omugaso eky'asikiriza ab'eButuluuki okumuwandiisa mu Bursaspor mu 1997 ku $1m. Oluvannyuma yadda mu Dardanelspor, ekibiina ekirala eky'omupiira mu Butuluuki bwe yali tannaba kuva mu kusamba mupiira mu 2001. Akyabanja "Dardanelspor" ssente ze", Nantongo bwagamba, naye teyayogera muwendo.

[Musisi (olukuuba olw'okubiri ku ddyo) nga ali mu Dardanelspor]

Musisi (olikuubo olw'okubiri mu maaso ku ddyo mu Dardanelspor

Majid Musisi yadda mu ggwanga naddamu okwegatta ku mu 2001. Wabula, yali alaga nti akooye kuba teyaddamu kuzannya nga bweyali azannya emabega. Yasigala nga muzannyi wankizo mu ggwanga, era nga ye kkapiteeni mu mbeera nnyingi, era lwe baasamba ne Rwanda mu 1998 era nebakuba ggoolo 5–0. Wabula ate, nga tekimanyidda wabasinga, yalekulira okusamba omupiira mu Cranes oluvannyuma lw'omutendesi Harrison Okagbue okumugoba mu ttiimu olw'ensonga z'okujeemera amateeka mu 2000.

Mu 2002, ku Vietnamese side Da Nang nye naakomawo mu 2004 era neyeegatta ku ttiimu ya Ggaba United. Bweyaliiyo, yalemwa okukola obulungi era naalekulira. Oluvannyuma lw'okukolanga obulungi, ekya Uganda obutayitamu mu mpaka z'amawanga ky'amulemesa okusobola okufuukira ddala ow'amanyi. Mu 1991, Musisi ne nanne mu Villa baalemwa okuyitawo mu mpaka bwe baawangulwa DR Congo.

Oluvannyuma lw'okumala sizoni bbiri mu Rennes mu France eno nga yasamba emipiira 64, naateeba ggoolo 18 (Liigi 2 ne Coupe de France), yatundibwa mu kkiraabu y'omu Butuluuki enkulu eya Bursaspor oluvannyuma nadda mu Çanakkale Dardanelspor[8] era nga baamalawo obuwumbi bwa Uganda 1.8 era neezookumukyusa zaali ($1 million), era naakola likodi y'okuba omusambi eyali asinze okugulibwa ebbeeyi ennene ebweru. Mu sizoni y'omu 1996, yalondebwa ku kifo ky'Omusambi Munnamawanga Asinze mu liigi y'omu Butuliiki. Oluvannyuma lw'okuzannya mu Butuluuki, yazannyira ttiimu ya Đà Nẵng ey'omuVietnam. Yeeyatandikawo ekikolwa kya Bursaspor crocodile walk nga eno ngeri yaakujaguzaamu nga oli ateebye bwe yali mu kusambira ekikopo kya UEFA Intertoto Cup bwe baali basamba ne German side Karlsruher SC nga 2 Ogw'omunaana 1995.[9]

Yazannyira nei Ttimu Enkulu eya Uganda.

Ebikyamu ebimwogerwako

[kyusa | edit source]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Magid Musisi yali mufumbo nga mukazi we ye Suzan Nantongo era baayawukana mu kaseera katono nga tannafa.[10] Musisi yalina abaana musanvu.[11]

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Yafa oluvannyuma lw'okulwalira ebbanga mu nga 13, Ogwwekkumineebiri, 2005 mu maka ga maama we e Bwaise, ekitundu ekiriraanye ekibuga gyeyali oluvannyuma lw'embeera ye okweyongera okuba embi. Omubiri gwe gw'atwalibwa mu maka ge e Muyenga, gyegwagyibwa negutwalibwa e Bukasa gyeyaziikibwa ku ssaawa kkumi ez'olweggulo nga 14 Ogw'ekkumineebiri 2005.[12]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/1370466-1372028-14daxc4/index.html
  2. https://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/1370466-1372028-14daxc4/index.html
  3. https://mobile.monitor.co.ug/Sports/Musisi--Sekagya-moves-still-the-biggest-soccer-transfers/691256-3851296-format-xhtml-4sta08z/index.html
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1111033/magic-majid-musisi-dead
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/1370466-1372028-14daxc4/index.html
  8. http://www.tff.org/Default.aspx?pageId=526&kisiId=25817
  9. http://www.uefa.com/uefachampionsleague/news/newsid=1521538.html
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1111033/magic-majid-musisi-dead

Endagiriro endala

[kyusa | edit source]
  • Rennes profile
  • Life and career overview at the Wayback Machine (archived 2005-12-17)