Margaret Baba Diri

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Margaret Baba Diri Munnayuganda ow'ebyobufuzi eyasookera ddala okulondebwa mu Paalamenti ya Uganda nga akiikirira abantu abaliko obulemu mu 1996 gyabadde okutuusa kati. Nga tanegatta mu by'obufuzi yakola nga omusomes ku St. Charles Lwanga mu Koboko wakati wa 1976 ne 1990 era nga avunaanyizibwa ku nkulaakulana z'ekika ky'abantu ayitibwa gender development officer ku National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) wakati wa 1992 ne1996.[1]

Obuto n'emisomo[kyusa | edit source]

Margaret Baba Diri yazaalibwa nga 29 Ogw'omukaaga mu 1954. Alina Dipulooma mu by'Enjigiriza okuva mu National Teachers College Kyambogo, era yafuna diguli y'ebyenjigiriza mu bakulu n'entababuvobwawamu eya Bachelor in Adult and Community Education okuva mu Yunivasitte y'e Kyambogo.[1]

Emirimu[kyusa | edit source]

Margaret Baba Diri yatandika emirimu gye nga omusomesa ku somero lya St. Charles Lwanga Koboko wakati wa 1976 ne 1990 era nga avunaanyizibwa ku nkulaakulana z'ekika ky'abantu ayitibwa gender development officer ow'ekibiina ekigatta abantu abaliko obulemu mu gwanga lya uganda ekya National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) wakati wa 1992 ne 1996.[1]

Oluvanyuma yegatta mu by'obufuzi nga akiikirira abantu abaliko obulemu. Abadde mu Paalamenti okumala ebisanjya bittaano okuva mu mwaka gwa 1996 omwo era mwe yakiikirira Koboko nga omubaka omukyaala mmemba wa Paalamenti.[2] Margaret Baba Diri mmemba w'akakiiko ka Parliamentary Committee ku Commissions, State Authorities ne State Enterprises era mmemba w'akakiiko k'ebyenjigiriza n'emizannyo.[3]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Margaret Baba Diri namwandu.[3]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]