Jump to content

Margaret Sekaggya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Sekaggya mu 2016

Margaret Sekaggya Munnamateeka wa Uganda era mulwanirizi w'eddembe ly'abantu. Yazaalibwa mu Kampala 23 Ogwekkumi 1949. In 1970, Yatandikira emisomo gye mu Yunivasite y'e Makerere nga yali asoma Diguli esooka mu mateeka. Mu 1990, yafuna Diguli ey'okubiri mu mateeka okuva mu University of Zambia. Yakola ne Gavumenti ez'enjawulo omuli Uganda, Zambia, ne United Nations. Okuva mu 1996 okutuusa mu 2009, Ye Ssentebe w'ekitongole kya Uganda ekirwanirizi ky'eddembe ekya Uganda Human Rights Commission. Mu 1995, yali yalondebwa ng'omulamuzi wa Kkooti ya Uganda enkulu. Mu Kaseera kano, yalondebwa okwekennenya ebyali bikolebwa mu kakiiko k'ebyokulonda. Yetaba mu kuwandiika Ssemateeka wa Uganda ow'okuna mu 1995. Mu myaka gye 80s, yali mu United Nations Institute for Namibia, ng'asoma n'okwekennenya amateeka n'engeri y'okutuukamu ku mefuga. Okuva mu 1978 - 1982, Yali mulamu owe Lusaka.[1][2] Okuva mu 2008 okutuusa mu 2014, Sekaggya yali mugoberezi, kalabalaaba wa United Nations special rapporteur era omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu.[3]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.ohchr.org/Documents/Issues/Defenders/MARGARETSEKAGGYA_CV.pdf
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-25. Retrieved 2023-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.ohchr.org/EN/HRBodies/SP/Pages/Currentmandateholders.aspx