Jump to content

Margaret Sentamu Masagazi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Margaret Masagazi amanyiddwa nga Margaret Sentamu Masagazi (yazaalibwa nga 22 Ogwokuna, 1960) munnayuganda omukugu mu by'obusubuzi era omukugu mu by'empuliziganya. Margaret ye mutandisi w'ekitongole ekya MaMa FM era y'avunaanyizibwa ku nzirukanya y'\emirimu mu kitongole ekya Uganda Media Women's Association (UMWA).

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Masaka eri Edward Patrick Ssentamu ne Theresa Nakalema Ssentamu nga kati bombi bagenzi. Ye mwana ow'omukaaga mu baana 12 era ye muwala omukulu mu maka gaabwe. Margaret era mwannyina wa John Ddumba Ssentamu eyaliko omumyuka w'omukulu wa Makerere University.

Yasoma pulayimale mu masomero okuli St Theresa Bwanda, Kimaanya ne St Clare Nkoni. Oluvannyuma yeegatta ku Trinity College Nabbingo mu Uganda Certificate of Education (UCE) ne Uganda Advanced Certificate of education (UACE). Wakati wa 1980 ne 1983, Margaret yafuna ddiguli esooka by'obufuzi ne sociology okuva mu Makerere University. Yakola PGD mu by'amawulire ku Uganda Management Institute (UMI) n'oluvannyuma n'akola Postgraduate Diploma mu Mass Communication mu 1985 mu University of Nairobi, nga tannaddayo mu Makerere University okufuna diguli ey'okubiri mu Women and Gender Studies. Bwe yali ng'afuna diguli esooka mu Makerere University, Margaret yali munyiikivu nnyo mu by'obufuzi by'abayizi ng'omu ku bammemba b'ekibiina kya Democratic Party era ng'omubaka wa Mary Stuart Hall era kino kyamuviirako okuwangula sikaala ya postgraduate diploma mu University eya Nairobi.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yatandika omulimu gwe ogw'okufulumya amawulire mu 1983 ku Radio Uganda. Nga tannafuna diguli ye eya Postgraduate mu Yunivasite y'e Nairobi, yakolera ku Radio Uganda ku pulogulaamu y'ebitundu n'emizannyo, mu 1983, mu kiseera kye kimu ng'anoonya diguli mu by'amawulire mu Yunivasiti y'e Makerere.

Bwe yamaliriza emisomo gye, yatendekebwa ng'omwogezi mu kitongole kya Nation Media Group mu Nairobi, era ng'omuwandiisi w'ekitongole kya Harare ekya Inter Press Service okumala omwaka gumu. Mu 1987, oluvannyuma lw'okudda e Kampala, Sentamu yeegatta ku Uganda Television (kati eyitibwa UBC) ng'omusunsuzi w'amawulire okumala omwaka gumu nga tannaba kuyingira Ssomero lya byamawulire mu Uganda Management Institute (UMI) ng'omusomesa.

Mu 1994, Margaret yafuuka omuwandiisi w'ekibiina kya Uganda Media Women's Association, era oluvannyuma yasikira Victoria Namusisi Nalongo nga Sentebe nga Victoria olwava mu kifo ekyo n'ayingira eby'obufuzi.

Margaret yafuna okwegomba n'okusiima abakazi n'ekikula kyabwe wakati wa 1996 ne 1998 bwe yanoonyereza ku bakazi ku mikutu gy'eby'empuliziganya okufuna diguli ye ey'okusatu mu kitongole ky'abakazi n'ebyenjigiriza mu Makerere University. Olw'obutaba na bakyala mu mikutu gy'amawulire, baayamba sikaala z'abakazi era abakazi abasoba mu 50 be baasobola okuganyulwa. Okuva olwo, Margaret abadde alwanirira n'okugatta ekikula ky'abantu mu kutendekebwa mu by'amawulire n'okukola okugonjoola ekizibu ky'abakazi okuboolebwa nga bakolers mu mikutu gy'abamawulire mu Uganda. Okulwana kwa Margaret kusinga kukwaata ku kukabsasanyizibwa mu mikitu gy'amawulire mu Uganda.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Margaret yafumbirwa Nasser Kiggundu Masagazi nga baalina abaana babiri kyokka oluvannyuma baayawukana olw'emirimu gye okuyitirira okwali okulwanirira eddembe ly'obuntu, amawulire ekyakosa enyo embeera z'abantu.

By'akola mu biseera bye eby'eddembe[kyusa | edit source]

Margaret ayagala nnyo okuzina.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]