Maria Mutagamba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox officeholderMaria Emily Lubega Mutagamba (yazaalibwa nga 5 Ogwomwenda / September 1952 – n'afa nga 24 Ogwomukaaga / June 2017). Yali Munnayuganda nga munnabyanfuna era munnabyabufuzi. Yaliko Minisita w'Ebyobulambuzi, ebisolo by'omunsiko n'eby'omumazzi mu Kabineeti ya Uganda okuva nga 15 Ogwomunaana / August 2012[1] okutuuka nga 6 Ogwomukaaga / June 2016.[2]

Maria Mutagamba
Maria Mutagamba

Okuva mu 2011 okutuusa 2012, ye yali minisita w'amazzi n'Obutonde bw'ensi.[3] Era yaweerezaako ng'omubaka Omukazi owa Disitulikiti y'e Rakai mu Paalamenti okuva mu 2001 okutuusa mu 2016.[4]

Gye yazaalibwa n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Mutagamba yazaalibwa mu Disituliki y'e Rakai nga 5 Ogwomwenda / September 1952. Yasomera mu St. Aloysius Senior Secondary School e Bwanda, mu Disitulikiti y'e Kalungu era gye yatuulira S4 u 1970. Yeeyongerayo ku ssomero lya Mount Saint Mary's College Namagunga mu Disitulikiti y'e Mukono gye yatuullira S6 nga yasomerayo wakati wa (1971–1972). Yeeyongerayo mu Makerere University okuva mu 1973 okutuusa mu 1976, n'atikkirwa Ddiguli mu Byenfuna eya Bachelor of Arts in economics. Era yafuna ne Dipulooma mu kompyuta eya computer programming mu ttendekero lya ICL Computer School e Nairobi, Kenya, nga yagifuna mu 1980, n'afuna ne satifikeeti mu byobukulembeze okuva mu ttendekero lya John F. Kennedy School of Government e Cambridge, Massachusetts, mu Bungereza (United States), ng'eno yagifuna mu 1997.[5] Mu 2013, yaweebwa Ddiguli ey'ekitiibwa kya Dokita (an honorary doctorate in law) okuva mu McMaster University e Canada.[6]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mutagamba yakolako mu Bbanka ng'akolera mu Bbanka ya Uganda Enkulu okuva mu 1976 okutuuka mu 1980 oluvannyuma yafuuka Dayirekita wa Bbanka okuva mu 1991 okutuuka mu 1999. Mu 1999–2000, yafuuka mumyuka wa Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Democratic Party. Mu 2000, yalondebwa okufuuka Minisita omubeezi ow'ensonga z'amazzi ate mu 2006 n'alondebwa okufuuka Minisita omujjuvu ow'amazzi n'obutonde bw'ensi, nga yabeera mu kifo kino okutuuka mu 2012. Ye yali Pulezidenti w'olukiiko lwa Baminisita b'ensonga z'amazzi ab'omu Afrika yonna okuva mu 2004 okutuuka mu 2012 era akwataganya ekibiina k'abakazi abafaayo ku mazzi n'obuyonjo mu nsi yonna ekya Global Women Leaders Forum for Water and Sanitation okuva mu 2005 okutuuka mu 2012. Era yamyukako n'akulira ekitongole kya United Nations Task Force on Integrated Water Resource Management. Ajjukirwa nnyo olw'okukola ennyo olw'okulaba ng'amazzi amayonjo gabuna mu bantu ne mu kitongole kya Global Water Harvesting Network.[5][6]

Mutagamba yaweerezaako nga Minisita w'Ebyobulambuzi, ensolo ez'omunsiko n'ebiramu ebibeera m mazzi okuva nga 15 Ogwomunaana / August 2012 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga / June 2016 nga yasikizibwa Ephraim Kamuntu. Bwe yali Minisita, ajjukirwa olw'okutumbula ebyokulya omuli emagi, enva endiirwa ne chapati gye bazingamu eggi emanyiddwa nga Rolex.[7] Yakomyawo n'empaka za Nnalulungi wa w'ebyobulambuzi owa Uganda.[8] Yava mu byobufuzi mu 2016 olw'obulwadde obwali bumubala embiriizi.[9]

Obirala ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

Yafumbirwa Tarsis Matthew Mutagamba eyali omukozi wa Bbanka enkulu eya Uganda okumala emyaka 17 okutuusa lwe yalekulira mu 1980. Y'akulira ababazi b'ebitabo aba Bbanka Omuddugavu eyasooka mu Afrika.[10] Tarsis yafa ndwadde ya Mutima nga 2 Gatonnya/ January 2004 ng'alina emyaka 70. Yaleka azadde abaana 16.[11]

Okufa kwe[kyusa | edit source]

Mutagamba yafa nga 24 Ogwomukaaga 2017 ku ddwaliro lya Case Medical Centre mu Kampala oluvannyuma lw'okulwala Kookolo w'ekibumba (liver cancer), kyokka nga yalina n'endwadde endala nga gallstones. Yafiira ku myaka 64 oluvannyuma lw'okumala ku kitanda wiiki ssatu ng'olumbe lumubala embiriizi. Ssaabaminisita wa UgandaRuhakana Rugunda bwe yali ayogera ku kufa kwe yagamba nti "Okufa kwa Mutagamba ddibu ddene eri eri Eggwanga lino - Uganda".[9] Yaziikibwanga 28 Ogwomukaaga 2017 ku kyalo Gamba, mu Ggombolola y'e Kakuuto mu Disitulikiti y'e Rakai. Mmisa ey'okusabira omugenzi yakulemberwa eyali Omusumba w'Essaza ly'e Masaka mu Eklezia Katolika, kati naye omugenzi John Baptist Kaggwa.[12]

References[kyusa | edit source]

 

  1. http://www.newvision.co.ug/news/634161-president-yoweri-museveni-reshuffles-cabinet.html
  2. https://wolfganghthome.wordpress.com/2016/06/06/ugandas-president-museveni-names-prof-ephraim-kamuntu-as-new-tourism-minister/
  3. https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  4. http://www.monitor.co.ug/News/National/Over-20-MPs-bow-out-of-2016-race/688334-2728402-9p2w28z/index.html
  5. 5.0 5.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Palm" defined multiple times with different content
  6. 6.0 6.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "McMaster" defined multiple times with different content
  7. http://capitalradio.co.ug/tourism-minister-launches-rolex-festival/
  8. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1330268/miss-tourism-2013-kicks-thursday
  9. 9.0 9.1 {{cite web}}: Empty citation (help) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Death" defined multiple times with different content
  10. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1109774/bishop-kakooza-mourns-mutagamba
  11. http://allafrica.com/stories/200401050552.html
  12. http://www.monitor.co.ug/News/National/Bishop-Kaggwa-Mutagamba-Museveni-character/688334-3991248-oqdre4/index.html