Jump to content

Mariam Fauzat Wangadya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Mariam Fauzat Wangadya
Mariam Mutonyi Wangadya
Yazalibwa
Eggwanga Munnayuganda
Amannya ge amalala Mariam Mutonyi Wangadya
Emisomo gye O levo ku Ngora High School,

Emisomo gye egya Alevo yagisomera ku Kibuli Secondary School,

Diguli ye mu mateeka ku Makerere Yunivasite,

Dipuloma mu kukola amateeka ku Law Development Center,

Diguli ey'okubiri eya public administration and management
Emirimu gye Munnamateeka, ssentebe w'akakiiko ka k'eddembe ly'obuntu mu Uganda
Amukozesa Uganda Human Rights Commission
Ebijmufudde omumanyifu Okulwanirira abaana, eddembe ly'ebyobufuzi mu kibuga
Abaana 1

Mariam Fauzat Wangadya amanyikiddwa nga Mariam Mutonyi Wangadya Munnayuganda, Munnamateeka era mulwanirizi w'eddembe. Mulwanirizi w'eddembe ly'ebyobufuzi mu kibuga n'enddembe lya'abaana,[1] Wangadya ye ssentebe w'akakiiko akalwanira eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission.[2][3][4][5]

Wangadya mmemba mu bibiina by'abannamateeka omuli East African Law Society, Uganda Law Society, International Bar Association n'ekitongole ekiwolereza abakyala mu Uganda ekya Uganda Women Lawyers Association (FIDA Uganda).

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Wangadya yazaalibwa abasomesa babiri abawummula mu Disitulikiti y'e Bulambuli. Alina baganda be bataano.

Wangadya emisomo gye egya Ordinary Level yagimaliliriza ku Ngora High school ne Advanced Level nagimaliliriza ku Kibuli Secondary school. Yatikkirwa ne Diguli me mateeka okuva ku Ssettendekero wa Makerere, Dipuloma mu kukola amateeka yagifunira ku Law Development Center. Yafuna Satifikeeti emukkiriza okwegatta ku Kkooti ya Uganda enkulu nga munnamateeka. Alina Diguli mu Public Administration and Management mu Uganda.[5]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Emirimu gye yagitandikira mu kitongole ky'abannamateeka ekya Dagira and company advocates ekisangibwa ku luguudo lwa republic street mu Disitulikiti y'e Mbale nga mu kitongole ky'ekimu y'afunamu emigabo. Era yasalawo okuyamba nga munnamateeka w'ekitongole ekieolereza abakyala ekya Uganda Women Lawyers Association (FIDA Uganda).

Mu 1996, Wangadya yalondebwa ng'omu ku bammemba abatandiisi b'ekitongole ekirwanirira eddembe ly'obuntu ekya Uganda Human Rights Commission (UHRC) nga kitandikibwawo. Yaweereza ne Sekaggya ne Med Sozi Kaggwa.[6][7][8][1][9]

Mu 2013, Wangadya yalekulira ekitongole ekirwanirizi ky'eddembe ly'abantu ekya Uganda Human Rights Commission okutandiika omulimu gwe omugya nga Omumyuka w'akaliisoliiso wa Gavumenti, ekifo kye yaweerezaamu okutuusa mu 2021 nga amyuka Kaliisoliiso wa Gavumenti.[10][11][12][13][14]

Mu Gwomusanvu 2021, yalondebwa nga Ssentebe w'akakiiko akalwanirizi k'eddembe ly'abantu aka Uganda Human Rights Commission nga yalondebwa Yoweri Museveni era nga yasunsulwa akakiiko ka Paalamenti akasunsula ababeera balondeddwa mu Paalamenti ya Uganda.[15] Yafuna offiisi ye mu butongole nga 29 Ogwomwenda 2021, oluvanyuma lw'okulayizibwa Omulamuzi Alfonso Owiny-Dollo.[7][5]

Mu 2023, Wangadya ku lwa UHRC y'assa omukono ku kiwandiiko kya National Fellowship of Born-Again Pentecostal churches of Uganda (NFBPCU) ekyalina okukugira okutyobolwa kw'eddembe ly'amakanisa g'Abalokole n'okubalemesa.[16] Ekiwandiiko kino kisigala kikola okutuusa mu 2028 wabula bwe wabeerawo enzikiliziganya etuukiddwako kisobola okukyusibwa.[16]

Mu 2023, Wangadya ng'aweereza nga Ssentebe w'ekitongole kya UHRC yavunaana omukulembeze w'ekitongole kya National Unity Platform (NUP) olw'okutambula n'ebyobulwanisa olw'ebigendererwa bye mu by'obufuzi.[17][18] Omukulembeze wa NUP yali agamba nti eb'ekitongole ekikuuma ddembe baali bawamba n'okutulugunya abawagizi ba NUP okuva mu 2020.[17] UHRC yakizuula nti ddala abamu ku balabikira ku lukalala baalli bakwatibwa era bateebwa mu Gwekkuminebiri 2022.[17][18][19]

Mu 2024, Wangadya yayanjula alipoota y'ekitongole ekirwanirira eddembe ly'abantu ekya Uganda Human Rights Commission (UHRC) eri Paalamenti ya Uganda, nga yalimu ebikwata mbeera n'ebikwekweto bya Polisi ya Uganda (Uganda Police Force (UPF). Alipoota yalimu embeera abasirikale gy'ebawangalira, abasirikale abatalina by'akulwanyisa, okukozesa emiguwa ng'empingu, enkola y'okubakyusa mu bitundu etali y'abwenkanya saako n'okyusa abasirikale olw'okulya enguzi.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Wangadya maama era alina omutabani

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://www.kas.de/documents/252038/253252/11_Peter.pdf/4a8b59a6-be34-5919-5552-a790e6a2b1b4
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_163177
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/karamoja-mps-vow-to-seek-justice-for-starved-suspects-4195996
  4. https://theinspector.co.ug/uhrc-boss-mariam-wangadya-exposes-shocking-rot-in-uganda-police-force-in-latest-uhrc-report-to-parliament/
  5. 5.0 5.1 5.2 https://uhrc.ug/chairperson-to-the-commission/
  6. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  7. 7.0 7.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  9. https://www.independent.co.ug/new-uhrc-chairperson-commissioners-pledge-swift-investigations/
  10. https://actvuganda.org/download/UHRC-Annual-Reports/UHRC-16th-Annual-Report.pdf
  11. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-06-17. Retrieved 2024-04-10.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://medium.com/@UNDPUganda/combating-cross-border-corruption-undp-uganda-partners-with-national-and-local-authorities-to-b69de71a6ee9
  13. https://www.independent.co.ug/igg-asks-mps-exiting-parliament-to-declare-wealth/
  14. https://www.independent.co.ug/development-partners-demand-immediate-appointment-of-igg/
  15. https://www.independent.co.ug/it-is-hard-to-stop-human-rights-abuses-uhrc-boss/
  16. 16.0 16.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_173429
  17. 17.0 17.1 17.2 https://www.independent.co.ug/uhrc-accuses-nup-of-using-abductions-for-political-gains/
  18. 18.0 18.1 https://charmarnews.com/wangadya-attacks-nup-for-providing-a-false-list-of-missing-persons/
  19. https://mulengeranews.com/uhrc-rebukes-nup-for-playing-politics-of-victimhood/

Ebijuliziddwamu eby'bweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]