Mariam Luyombo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mariam Luyombo eyali Dorothy Nanziri munayuganda omusuubuzi w'ebyenjigiriza era y'akulira amasomero ga Taibah mu Uganda

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Mariam Luyombo yasomera mu ssomero lya Mount Saint Mary's College, Namagunga. Yafuna diguli esooka n'ey'okubiri mu by'enjigiriza okuva mu Makerere University mu Kampala mu 1985 ne 1997 era yatendekebwa mu by'obusuubuzi mu Uganda ne United States.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mariam Luyombo yatandika ng'omusomesa wa Sekendule ku Makerere College School wakati wa 1987-1988 n'oluvannyuma n'agenda mu St. Joseph's Secondary School Nsambya (1988-1990). Oluvannyuma yafuuka omukulu w'essomero erya Nabisunsa Muslim Girls' School.

Mu 1991 yatandikawo essomero lye erisooka, Taibah High School Kampala; oluvannyuma yatandikawo Silver Spoon Daycare Center Kampala mu 1996, Taibah Junior School Entebbe Road mu 1998, ne Taibah College School Entebbe Street mu 2000.

Mu 2013, yali Senkulu w'ekibiina kya Uganda Women Entrepreneurs Association (UWEAL).

Byatuseeko ne awaadi[kyusa | edit source]

Awaadi z'afunye mwe muli eya National Rotary Clubentreprise award for young women entreprenuers and New Vision mu 1995, the Namagunga Old Girls' Association award in 1998, n'ekirabo kya Uganda Investment Authority satifikeeti ezamuweebwa olw'okubeera nnagwano w'okukyuusa ebyenjigiriza mu Uganda mu 2001.

Mu 2014, yali omu ku bantu 20 abaafuna Uganda's Golden Jubilee Medal olw'obuyambi bwe yawa mu by'enjigiriza mu masomero ga Taibah n'obusuubuzi.[1]

Mu 2015, yali omu ku bawangula ekirabo kya World of Difference Award mu 2015 & Champions

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mariam Luyombo yafumbirwa Hajji Abbas Luyombo nnannyini Taibah Group of Companies. Alina abaana basatu. Yagenda Canada mu 2006 era kati abeera mu Ontario, Canada, gy'alina bizinensi.

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named newvision.co.ug