Mariam Nabatanzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mariam Nabatanzi Babirye (yazaalibwa mu mwaka gwa 1980)[1] amanyikiddwa nga Maama Uganda oba Mother Uganda, munnayuganda omukyala amanyikidwa okuzaala abaana ataano mu bana (ana mu baana balamu).[2][3] Mu Gwokuna 2023, abaana be abakulu balina emyaka amakumi asatu mu gumu, era nga abasembayo obuto balina emyaka mukaaga.[2] Ye maama ye taata, eyasulibwaawo omwami we mu mwaka gwa. Kigambibwa nti yatya obuvunaanyizibwa bw'okulabirira abaana abangi.[4][5]

Eyazaalibwa mu biseera bya 1980, Babirye yasookera ddala okuzaala nga alina emyaka kumi ne ssatu, nga akakaiddwa mu bufumbo omwaka oguwedde. Ku myaka amakumi asattu mu mukaaga, yali azadde abaana amakumi ana bu bana, omwali emigogo esaatu ejy'abaana bana ab'enzaalo emu, emigogo enna ejy'abaana bassatu ab'enzaalo emu, n'emigogo jy'abalong mukaaga, wona wamu enzaalo kumi na ttaano. Ennamba y'enzaalo enyingi yava ku mbeera ya nnabuzaale e talabikalabika neleeta hyperovulation ekyava kukugaziwa kw'amagi g’ekikazi. Mu mwaka gwa 2019, nga Babirye awezeza emyaka amakumi ana, Yalongoosebwa okuziyiza okudamu okufuna embuto endala.[6] Abeela kukyaalo kye Kasawo, ekisangibwa mu disitulikitti ye Mukono masekatti ga Uganda.[7]

obulamu n'ebimukwatako[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 1993, Babirye yatundibwa mu bufumbo nga akyaali mutto ku myaka kumi ne bbiri eri omusajja kirisa maanyi ow'emyaka amakumi ana mu ettaano. Omwaka nga guyisewo, Yasooka okufuuka maama mu mwaka gwa 1994 n'abalongo, nazaako abaana bassattu ab'enzaalo emu mu mwaka gwa 1996. Oluvanyuma y'azaala abaana bana ab'enzaalo emu oluvanyuma lw'emyeezi kumi na mwenda. Teyasanga ngeri jy'eyali azaalamu okuba eyenjawulo okusinziira ku by'afaayo bya famire ye jyavaamu; Baddamu ebigambo bye yayogera nti: "Taata we yazaala abaana amakumi ana mu bakyaala ab'enjawulo, era bonna bajyira mu nzaalo y'abaana battaano omulundi gumu, enzaalo y'abaana bana omulundi gumu, abalongo n'enzaalo y'abaana bassattu omulundi gumu."[6]

Mu Uganda, waliyo entababuvobwawamu (community) ezimu ezikaka abaana abato mu bufumbo, eyo nga abawala abatto bafumbizibwa eri abasajja abakulu ne babawanyisamu n'ebintu ebisingila ddala okuba ente. Obufumbo bwa Babirye kye kyaali eky'okulabirako.[6] Ku myaka abbiri mu essattu, yali azadde abaana abbiri mu battaano, naye yaweebwa amagezi okw'ongera okuzaala, nti kinaakendezaako ku bujimu bwe. [clarification needed][8] Abo abayita mu mbeera nga eya Babirye baweebwa amagaezi buli kaseera nti okw'ewala okuzaala kisobola okuleetawo ebeela embi mu bulamu bwaabwe.[9]

Okusinziila ku Charles Kiggundu, omusawo w'endwadde z'abakyaala mu ddwaaliro lya Mulago National Specialised Hospital, nga amaliriza okuzaala abalongo be abasembayo nga bamulongooseza, Babirye bamulongoosa n'ebamusibiba ensekke ze, nebaziyiza okufuna embuto endala.[6] Omu ku balongo beyasembayo okuzaala yafa nga azaala, nabeela omwana we eyakafa mu biseera by'akaakati.

Nga amaliriza okuzaala abaana amakumi ana, omwaami we yamudukako ol'obutaba na busobozi kulabirira ennamba y'abaana abangi, era oluvanyuma n'atunda ennyumba Babirye gye yali abeeramu n'abaana be. Ye n'abaana be baasuzibbwa jajja we.[10] Oluvannyuma yakizuula nti baawe yali yamuleka n'olubuto lw'abalongo. Jajja wa Babirye yaffa nga wayise akaseela katono, n'aleka Babirye mu mbeera y'okulwanira ewaka n'abenganda abalala, naye oluvannyuma bakiliza Babirye atwaale obwananyini we waka wona nga sente azisasula mu bitundutundu; Mu Gokuna gwa 2023, akyalina ebbanja ly'okumalayo nga tanafuuka nanyini w'ekifo. Babirye mu bissera bino ye maama ne taata, nga ye yelabirira abaana be.

Embeela jy'abeelamu[kyusa | edit source]

Babirye ne famire ye (abawera abantu nga nkaaga mu mukaaga, omuli abaana be, bazukulu n'ebakaamwaana), babeelawo okusingila ddala ku buyambi bwa bazira kisa ababawa emere, ebitanda, n'ebintu ebirala eby'etaagisa. Alwaana okulabirira abaana be assattu mu munaana abalamu, bakaamwaana be, n'ebazukulu be. Babirye akola nga omutunzi w'ekyalani mubissera ebimu, omusawo w'eddagala eriva mu bimera, era omusibi w'enviiri hairdresser.[11][7][12] Abeerawo nyo ku bintu ebi mu weereddwa, engeri omwaami we jye yatwaala sente za famire zonna lwe yamusuulawo n'abaana beyayanikano obuvunaanyizibwa.[13]

Ekizimbe Babirye n'ezadde lye kye babeera mu bonna kiliko five cement block houses, n'amabaati wagulu mukasolya. Okusinziira ku Uganda Times, ekizimbe kilina luumu kumi na musanvu, nga kumi na ttaano bisenge era nga luumu ebbiri ddiro maddiiro ag'okutuulamu n'okuliiramu, kigambibwa nti mu luumu zonna temuli yadde ntebe n'ameeza. Ebisenge mwenda temuli bitanda era nga newansi wabyo wakyaafu, era nga n'ebisenge mukaaga ebirala bilina ebitanda munaana ebya deeka , ebina ku byo nga tebiri mumbeera ey'okukozesebwa. The other four beds accommodate a total of twenty-four children on worn-out mattresses.[7][1]

Pulaani[kyusa | edit source]

Okusinziira ku Uganda Times, Babirye asuubira okufuna obukadde buttaano obwa sente za Uganda (nga $1,400 USD) okusasula sente ezisigaddeyo ku kizimbe kwabeera ne eri famire ya eyali omwami we atwaale obwa nanyini bwonna.[7]

Era asuubira okufuna amabaati amapya mukifo kyaago agatonya, obutanda abiri mu ttaano obupya, n'emifaliso emipya nkaaga mu mukaaga, buli muntu abeere n'omufaliso gwe. Alina esuubi eddala el'okufuna ettaka ly'okulimirako emere n'okulundirako ebisolo nga akozesa famire ye, n'okufunira balabirira obusobozi. Asuubira n'okutandikawo wooteli, saluuni y'abagole, n'ekitongole ekidukanya ebivulu awe abaana be emirimu.

Notes[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 https://www.reuters.com/article/us-uganda-fertility-idUSKCN1S11JV Cite error: Invalid <ref> tag; name ":5" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 https://www.mirror.co.uk/news/world-news/worlds-most-fertile-woman-44-22269476
  3. https://www.africannewsagency.com/east-africa/meet-mama-uganda-the-woman-who-birthed-44-children-by-the-age-of-36-bf3ec23c-9a09-468c-ae90-5114fd320482/
  4. https://www.standardmedia.co.ke/entertainment/news/article/2001376992/worlds-most-fertile-woman-from-uganda-with-44-kids-stopped-from-having-more
  5. https://allthatsinteresting.com/mariam-nabatanzi
  6. 6.0 6.1 6.2 6.3 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/at-37-she-has-given-birth-to-38-children--1697958 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  7. 7.0 7.1 7.2 7.3 https://utimez.com/meet-the-worlds-most-fertile-abandoned-mother-of-44-children-in-uganda/ Cite error: Invalid <ref> tag; name ":3" defined multiple times with different content
  8. https://face2faceafrica.com/article/the-worlds-most-fertile-woman-is-in-uganda-and-she-has-44-children
  9. https://nationalpost.com/news/world/woman-with-rare-medical-condition-gives-birth-to-44-kids-by-age-40
  10. https://www.darpanmagazine.com/news/interesting/the-most-fertile-woman-this-40yearold-from-uganda-has-44-children/
  11. https://7news.com.au/lifestyle/mother-banned-from-having-more-babies-after-giving-birth-44-times-c-508691
  12. https://www.mirror.co.uk/news/world-news/worlds-most-fertile-woman-who-21108979
  13. https://www.sentinelassam.com/international/ugandan-women-at-40-gave-birth-to-44-kids-from-one-man-know-her-story-565394