Mariam Naigaga
Mariam Naigaga (yazaalibwa nga 22 Ogwokutaano 1979) Munnayuganda omukozi wa Bbanka, omukugu kukungaanya ebikwandiiko era munnabyabufuzi. Ye mubaka omukazi akiikirira Disitulikiti y'e Namutumba mu Paalamenti ye 10 era mmemba w'ekibiina ekiri mu bukulembeze bwa Uganda ekya NRM.[1] Aweereza ku kakiiko ek'enjawulo akawabuzi ka Pulezidenti ku nsonga z'ebyembalirira aka Presidential Advisory Committee on Budget (PACOB) era Mmemba ku Kkakiiko k'ebyembalirira ne ku kakiiko k'ebyensimbi, enteekateeka n'ebyenkulakulana mu Paalamenti.[2]
Naigaga Mmemba mu kakiiko ka Paalamenti akakwasagana eby'enkyukakyuka y'obudde aka Parliamentary Forum on Climate Change (PFCC), akakiiko akakubaganya ebirwoozo ku baana aka the Uganda Parliamentary Forum for Children (UPFC), n'ekibiina ky'abakazi abali mu Paalamenti ekya Uganda Women's Parliamentary Association (UWOPA),[3] n'akakiiko ka the Uganda Parliamentary Forum on Social Protection (UPFSP). Okwongera kwebyo, Y'akulira ekibiina kya NRM mu Disitulikiti y'e Namutumba, omuwanika w'akakiiko ka NRM akalondoola ebitongole bya Gavumenti era omuwandiisi w'Akakiiko ka Paalamenti ya Busoga.[4]
Naigaga yali Maneja w'ettabi lya Centenary Bank gye yakolera okumala emyaka kkuminesatu okuva mu 2003 okutuusa mu 2015 bweyalekulira okwegatta mu by'obufuzi.[5] Mmemba mu Ttendekero lya Uganda Institute of Banking and Financial Services (UIBFS) n'essomero lya East African Banking School.
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Naigaga yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Namutumba, Ttundutundu lye Busoga, nga 22 Ogwokutaano 1979 mu Famire y'abasiraamu mu Basoga. Pulayimale ye yagisomera ku kyalo gyeyazaalibwa mu Disitulikiti y'e Namutumba nga yafuna Satifiketi ya PLE certification mu 1992.
Naigaga oluvanyuma yasomera ku Bugobi High School mu misomo gye egya O-Level, gye yafunira UCE certification mu 1996, n'oluvannyuma St. Mathias Kalemba Senior Secondary School Nazigo mu misomo gye egya A-Level, gye yafunira UACE certification mu 1998.
Naigaga yeyongerayo ku kasozi e Makerere gye yatikkirwa mu 2002 ne Diguli esooka mu kukungaanya ebiwandiiko n'emiwendo eya Bachelor of Science in Statistics. Mu Yunivasite y'emu, yafuna Diguli ey'okubiri mu by'ensimbi mu 2011.[6]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Oluvanyuma lw'okufuna Digula esooka, Naigaga yafuna omulimu mu Centenary Bank gye yakolera okumala emyaka kumunesatu okuva mu 2003 - 2015, era mu myaka egyo yayongerako okumanya mu kukwasaganya eby'ensimbi. Yatandika nga ayambako abantu okutereka ssente okuva mu 2003 okutuusa mu 2007. Oluvanyuma yakuzibwa mu kifo kya Kalabaalaba w'ettabi, ekifo kye yalimu okutuusa mu 2009 era bweyalinyisibwa eddaala okutuuka ku omumyuka wa Maneja w'ettabi mu 2009. Mu 2011, yalinyisibwa nafuuka Maneja w'ettabi okutuusa lwe yalekulira mu 2015 okuyingira by'obufuzi.[5]
Okugoberera okulekulira kwe okuva mu Centenary Bank n'okutandikirawo eby'obufuzi, Naigaga yesimbawo ku kifo ky'omubaka omukazi owa Disitulikiti y'e Namutumba ku kaadi ya NRM ticket era n'awangula mu bululu bw'ombi ak'ekibiina kya NRM mu 2015[7] ne mu kulonda kw'abonna mu 2016 okufuuka omubaka mu Paalamenti eye 10 ey'eKkula lya Africa.[8]
Mu Paalamenti eya 10, Naigaga aweereza ku kakiiko ak'enjawulo akawabula Pulezidenti ku nsonga z'embalirira aka Presidential Advisory Committee on Budget (PACOB) era mmemba ku kakiiko k'ebyembalirira era Akakiiko ku by'ensimbi, enteekateeka, n'enkulakulana mu by'ensimbi. Era mmemba ku kakiiko akakubaganya ebirowoozo ku nkyukakyuka y'obudde aka Parliamentary Forum on Climate Change (PFCC), n'akakiiko akakwasganya ensonga z'abaana aka Uganda Parliamentary Forum for Children (UPFC), ne mu kibiina ky'abakyala ba Paalamenti aka Uganda Women's Parliamentary Association (UWOPA) n'aka Uganda Parliamentary Forum on Social Protection (UPFSP).
Mu 2021 yaddamu n'alondebwa mu kifo ky'omubaka wa Paalamenti.[9][10][11]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/-Empowering-youth-will-end-Namutumba-s-poverty-/691232-3220358-b0iom7/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Gomesi--the-MP-way/689842-3221640-137mfitz/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2023-04-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/NRM-elects-Parliament-leaders/688334-3280064-136fkflz/index.html
- ↑ 5.0 5.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2023-04-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-28. Retrieved 2023-04-02.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://ugandaradionetwork.com/story/namutumba-woman-mp-loses-in-nrm-primary-election
- ↑ https://web.archive.org/web/20170606032019/http://ugblizz.com/winners-and-losers-of-uganda-member-of-parliament-mps-elections/
- ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/naigaga-mariam-10607/
- ↑ https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/62e9bd9c-2b38-440d-a587-bce2d772cd7e/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1487444