Jump to content

Mariam Nalubega

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Mariam Patience Nalubega munnabyabufuzi wa Uganda. Ye mubaka omukazi akiikirira Disitulikiti y'e Butambala mu Paalamenti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kyo mu Gwokusatu 2011.[1] Ngebyo tebinnabaawo, okuva mu 2005 okutuusa mu 2011, yaweerezaako ng'omuwala omuvubuka mu Paalamenti ya Uganda.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Butambala, masekkati ga Uganda, nga 27 Ogwekkuminogumu 1981 eri Saidi Lubega ne Jalia Nakayange. Yasomera ku Makerere University Primary School, nga tannakyusibwa kutwalibwa mu Butawuka Secondary School mu misomo gye egya O-Levo. Yasomera ku St. Francis Secondary School e Mengo, mu msomo gye gya A-Levo. Nalubega alina Diguli asooka mu mirimu gya Gavumenti eya Bachelor of Public Administration, okuva ku [[St Lawrence University ], Satifikeeti eya Public admistration and Management gye yafunira ku ( Makerere university)]. Era Dipuloma mu mateeka, gye yafunira ku ttendekero ly'amateeka erya Law Development Centre mu Kampala.

Ebikwata ku mirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 2001 okutuusa mu 2006, Mariam Nalubega yali memba mu Kakiiko akakulembera Disitulikiti y'e Mpigi, nga aweereza nga omuwandiisi wa Disitulikiti ow'ebyobulamu okuva mu 2003 okutuusa mu 2006. Mu 2006, yalondebwa ng'omubaka omuvubuka mu Paalamenti, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2011. Mu kaseera ako, yaweereza ku kakiiko ka paalamenti ak'ebyensimbi ne ku kakiiko akakwasaganya eby'mpuliziganya aka Information and Communications Technology. Mu 2011, yalondebwa ng'omubaka omukazi owa Disitulikiti empya eyali eteekeddwawo eya Butambala.

Obuvunaanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Mariam Nalubega nakyeyombekedde era maama wa baana bana, mmemba mu kibiina kya Rorary, musuubuzi era nga asoma Dipuloma ey'ennyongereza eya Diploma in Public admistration

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. Namaganda, Agnes (9 April 2011).
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-04-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]