Jump to content

Marie Solome Nassiwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Marie Solome Nassiwa, also Marie Solome Nassiwa-Martin, iMunnayuganda Mubalirizi w'abitabo. Dayilekita w'ebyensimbi ku Baylor Foundation Uganda, ekitongole ky'obwanakyewa ekissa essira ku kutumbula eby'obula by'abaana, endabirira, okutangira n'enzijjanjaba y'enddwadde z'abaana abato mu Uganda. Baylor Foundation Uganda ekolagana ne Texas Children's Hospital ne Baylor College of Medicine.[1]

Yali akulira eby'ensimbi mu Kkampuni esinga okubunyisa amasanyalaze mu Uganda eya Umeme Limited,[2] ng'elina ba Kasitoma obasukka mu 1,125,000, okuva mu Gwokuna 2018,[3][4] ng'elina emigabo mu Uganda Securities Exchange ne mu Nairobi Stock Exchange.[5]

Obuto bwe ne misomo gye

[kyusa | edit source]

Nassiwa yasomera ku University of Greenwich imu Bungereza, gye yatikkirwa Diguli esooka mu bubalirizi bw'ebitabo ne by'ensimbi. Mmemba mu kibiina kya Fellow of the Association of Chartered Certified Accountants mu Bungereza n'ababalirizi b'ebitabo ba Gavumenti mu Uganda.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Oluvanyuma lw'okutikkirwa kwe okuva ku University of Greenwich, yakola ne British Aerospace Systems Limited. Oluvanyuma y'adda mu Shell Finance Operations n'oluvanyuma, Morgan Stanley mu Bungereza. Yegatta ku Umeme nga maneja w'ebyensimbi (omubalirizi w'ebitabo), nga tannaba kulinyisibwa mu kifo ky'akulira eby'ensimbi.[2]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | edit source]

Marie Solome Nassiwa Martin yaweereza nga Dayilekita ku Association For Reaching & Instructing Children In Africa, ekibiina ekitakola magoba, ekisangibwa mu Norwich, United Kingdom, okuva nga 10 Ogwomwenda 2009, okutuusa lwe yalekulira nga 3 Ogwekkuminebiri 2012.

Laba na bino

[kyusa | edit source]
  • Uganda Securities Exchange

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. Texas Children's Hospital (28 August 2022).
  2. 2.0 2.1 Umeme (18 April 2018).
  3. Wesonga, Nelson (8 April 2018).
  4. Howwe News Reporter (29 March 2018).
  5. Mugwe, David (13 December 2012).

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]