Jump to content

Mary Goretti Kitutu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Kitutu Mary Goretti Kimono

 

Mary Goretti Kitutu, nga atera okweyita Mary Goretti Kitutu Kimono munayuganda omusomesa, munabyabufuzi ,era alwanirira obutonde. Yaweebwa ekya Minisita avunaanyizibwa kunsonga z'e Karamoja nga 8 Ogwomukaaga mu 2021, ng'adira John Byabagambi, mu bigere. Yeeyali Minisita avunaanyizibwa ku by'amasanyalaze n'okulakulanya eby'obugagga eby'omutaka, mu Kabineeti ya Uganda, okuva nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019 okutuuka nga 8 Ogwomukaaga mu 2021.[1][2] Nga tanaba kutuuka eyo, okuva nga 10 Ogwomukaaga mu 2016 okutuuka nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, yawereza nga Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'etolodde n'eby'obutonde mu Kabineeti ya Uganda.[3] Dr Mary Kitutu yayongerezaako nga akola nga Omubaka omukyala eyalondebwa okukiikirira Disitulikiti ye Manafwa, mu Paalamenti eye kumu okuva mu 2016 okutuuka mu 2021.[4]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Manafwa nga 17 Ogwomwenda mu 1962. Oluvannyuma lw'okugenda ku masomero g'ebitundu eby'etolodde, yayingira Yunivasite ye Makerere mu 1984, n'atikirwa mu 1987 ne Diguli mu sayaansi mu by'okutabula edagala n'ekutegeera enkula y'ensi. Mu 1993, yaddayo ku Yunivasite ye Makerere n'ayongerezaako Dipulooma mu By'obusomesa. Diguli ye ey'okubiri yagifuna mu sayaansi ng'eno yamutikirwa mu 1998 okuva kutendekero erisomesa ebikwatagana ku sayaansi w'ekikula ky'ensi wamu n'okwekaanya ensi okuva ku University of Twente, mu kibuga kya Enschede, mu ggwanga lya Netherlands. Mu 2011, yafuna Diguli ye ey'okusatu okuva ku Yunivasite ye Makerere, mu Kampala, Uganda.[4][5]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Omulimu gwe ogwasooka ng'ali wabweru wa Yunivasite yali musomesa ku Busoga College Mwiri, okuva mu 1988 okutuuka mu 1991. Okuva mu 1991 okutuusa mu 1996, yasomesa ku Our Lady of Good Counsel School, erisinganibwa e Gayaza, mu Disitulikiti y'e Wakiso. Oluvannyuma yalekulira obusomesa, n'atandika okukola nga eyeebuzibwaako ku Axis Technical Geo Mineral Consult, wakati wa 1998 okutuuka mu 2001.[4]

IMu Gwokuna mu 2002, yapangisibwa okukola nga omukugu eyali akulira eby'okunoonyereza ku by'etolodde n'obutonde ku kitongole ekivunaanyizibwa ku by'obutonde mu Uganda, ng'awereza mu kiti ekyo okutuuka mu Gwokubiri mu 2015. Okuva mu Gwokubiri mu 201, yakola nga omukugu omuwabuzi ku by'ekikugu era kalabalaba mu by'okulondoola ku bikwatagana ku by'obutonde ku Tetra Tech, ng'eno pulojekiti eyali evugirirwa ekitongole kya USAID, ng'awereza mu kiti ekyo okutuuka mu 2015.[4]

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Mu nkomekerero ya 2015, yayingira mu by'obufuzi bweyavuganya ku ky'omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ya Manafwa mu kulonda kwa Uganda yonna n'okwa Paalamenti. Yavuganya ng'ali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[6] Yawangula era nebaddamu okumulonda nga yali mu kifo kino. Yaweebwa eky'okubeera Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by'obutonde nga 6 Ogwomukaaga mu 2016.[7] Mu kukyusa kyusa kabineeti nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, Mary Goretti Kitutu, yatekebwa ku ky'okubeera Minisita mu kabineeti nga y'avunaanyizibwa ku by'amasanyalaze wamu n'okulakulanya eby'obugagga by'omuttaka. Yadira Irene Muloni mu bigere eyali asuliddwa okuva mu kabineeti.[2]

Laba ne bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.independent.co.ug/new-cabinet-museveni-drops-kutesa-10-ministers/
  2. 2.0 2.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
  3. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2019-03-31. Retrieved 2023-04-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=229
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-27. Retrieved 2023-04-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2017-05-10. Retrieved 2023-04-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.monitor.co.ug/News/National/Who-are-the-new-faces-in-Museveni-s-Cabinet-/688334-3237208-item-00-obgwqy/index.html