Maud Kamatenesi Mugisha
Maud Kamatenesi Mugisha (yazaalibwa nga 5 Ogwokutaano 1970) mukyala Munnayuganda mukugu mu by'obutonde era mukulu w'essomero. Yali Mumyuka w'akulira Yunivasite y'e Bishop Stuart University (1 Ogwokutaano 2014-23 Ogwokubiri 2023[1]), ettendekero ery'awaggulu ery'obwannanyini[2] mu Uganda, nga ly'akkirizibwa okukola obuwereza ab'akakiiko k'eggwanga akakwasganya eby'enjigriz eby'eddaala ery'awaggulu (Uganda National Council for Higher Education).[3] Aweereza nga ssentebe w'olukiiko lwa Yunivasite ya Kampala International University okuva nga 1 Ogwokusatu 2023.[4]
Obuto bwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Kitagata, Disitulikiti y'e Sheema, mu Buggwanjuba bwa Uganda, mu 1970.[5]
Emisomo gye
[kyusa | edit source]Yasomera ku Kasanna Primary School. Oluvanyuma yegatta ku Nganwa High School mu misomo gye egya O-Levo, wakati wa 1984 ne 1988. Mu 1985, yegatta ku Maryhill High School, e Mbarara, mu misomo gye egya A-Levo. Mu 1993, yegatta ku Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obunene n'obukulu mu Uganda. Yasoma essomo ly'ebimera n'ebisolo, nga yatikkirwa ne Diguli esooka mu Sayansi. Yagattako Dipuloma mu busomesa nga n'ayo yagiggya Makerere.
Diguli ye eya Master of Science in Environment and Natural Resources Management ne Doctor of Philosophy in Medical Ethnobotany and Ethnopharmacology, z'ombi yazifunira ku Makerere Yunivasite.
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Oluvanyuma lw'okukola ebigezo bye mu ssomo ly'ebimera n'ebisolo e Makerere mu 1996, yatwalibwa nga omuyambi w'omusomesa mu somero lya sayansi mu ttendekero lye limu. Okuva mu 1998 okutuusa mu 2000, yaweereza nga Lekikyala era omukulu wa Dipaatimenti ya Uganda Fisheries Training Institute e Entebbe. Oluvanyuma yawereeza nga akulira eby'enjigiriza mu byenyanja n'okubikwasaganya, ettendekero elisomesa ku by'enyanja, Entebbe. Okuva mu 2010 okutuusa 2011, yaweereza ng'omumyuka akwasisa empisa, mu misomo gy'okunoonyerea, mu ssomero lya sayansi ku Yunivasite y'e Makerere. Okuva mu Gwokubiri 2011 okutuusa mu Gwokutaano 2014, yaweereza nga Dean of the School of Biosciences, College of Natural Sciences ku Yunivasite y'e Makerere.
Nga 2 Ogwokutaano 2014, Mugisha yalondebwa ku kifo ky'omumyuka akulira Yunivasite ya Bishop Stuart University[6]
Ebirala
[kyusa | edit source]Mugisha alina ebitabo bya sayansi 30 ebiriko elinnya lye.
Famile ye
[kyusa | edit source]Mufumbo era maama w'abaana bana.[7] Mukyala Mulokole.[8]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.bsu.ac.ug/2023/02/fare-thee-well-prof-maud-kamatenesi/
- ↑ https://www.bsu.ac.ug/about/#:~:text=private%2C%20not%2Dfor%2Dprofit%20University%2C%20chartered%20in%202014
- ↑ https://web.archive.org/web/20141017054940/http://www.unche.or.ug/institutions/private-universities
- ↑ https://twitter.com/ProfKamatenesi/status/1631195255620902912
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/PeoplePower/Kamatenesi--Bishop-Stuart-s-VC-rises-from-grass-to-grace/-/689844/2348504/-/iy6lic/-/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20160304030644/http://www.bsu.ac.ug/index.php/staff/staff-profile/167-assoc-prof-maud-kamatensi-vice-chancellor
- ↑ https://www-monitor-co-ug.webpkgcache.com/doc/-/s/www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kamatenesi-bishop-stuart-s-vc-rises-from-grass-to-grace-1574820
- ↑ https://www-monitor-co-ug.webpkgcache.com/doc/-/s/www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/kamatenesi-bishop-stuart-s-vc-rises-from-grass-to-grace-1574820
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Choosing Singlehood, monitor.co.ug. Accessed 2 March 2024.