Michael Chibita, omuwandiisi w’ebitabo
Michael Chibita munnamateeka era mulamuzi aweereza mu Kkooti enkulu eya Uganda, okuva mu mwezi Ogw'ekkumi n'ebiri mu 2019.[1] Okuva nga 15 Ogw'omunaana 2013 okutuusa nga 6 Ogw'ekkumi n'ebiri 2019, yaweereza nga Dayirekita w'abawaabi ba Gavumenti mu Uganda. Nga tanatuuka ku kifo ekyo, yaweereza n'omulamuzi wa High court ya Uganda.[2]
Ensibuko n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Chibita yazalibwa ku kyalo kye Buwesa mu Ddisitulikiti ye Butaleja mu Buvanjuba bwa Uganda nga asatu Ogw'okuna mu 1963, era nga bazadde be ye Clement ne Edisa Duallo. Bweyamaliriza okusomera pulayimale mu kyalo, yaweebwa ekifo ku King's College Buddo mu Ddistulikiti ye Wakiso, gy;eyamalira emisono gye egy'eddaala lya O ne A level, nattikirwa ne Dipuloma ya siniya mu 1985.[2]
Yayingira mu ssomero lya mateeka mu Makerere University, natikkirwa Ddiguli mu Mateeka mu 1988. Yagigobereza Dipulooma mu Legal Practice, ku Law Development Centre mu 1989. Oluvannyuma yafuna Ddiguli ya Masters mu mateeka g'ensi yonna n'ag'okugeraageranya mu University of Iowa, mu United States.[3]
Omulimu
[kyusa | edit source]Chibita yasomesa International Relations n'ebyafaayo bya Africa mu University of Northwestern- St. Paul, mu Roseville, Minnesota, mu kitundu ekiriranye St. Paul mu United States mu 1993.[3]
Mu 1994, yakomawo e Uganda era naweebwa omulimu gwa Ssaabawolereza wa Gavumenti mu Woofiisi y'obwassaabawolereza. Yaweereza nga omuyambi mu by'amateeka eri SSaabawolereza wa Uganda okuva mu 1995 okutuuka mu 1996.[3]
Oluvannyuma yalondebwa ng'omuwandiisi ow'obwanannyini ow'ebyamateeka mu Wofiisi y'omukulembeze w'eggwanga Uganda, okumala emyaka musanvu okuva mu 1996 okutuuka mu 2003. Mu 2003 yaddayo okukolera mu woofiisa ya Ssaabawolereza gy'eyamala emyaka emirala ebiri.Olwamala n'awereeza ng'omuyambi wa kamisona mu Woofiisi ya Kamisona enkulu mu Uganda Revenue Authority, okutuusa mu 2010.
Wakati wa 2013 ne 2019 yaweereza nga dayirekita w'abawaabi ba gavumenti (DPP). [2] Mu Gw'ekkumi n'ebiri wa 2019, yalondebwa okwegatta ku Kkooti enkulu eya Uganda.[1]
Amaka
[kyusa | edit source]Omulamuzi Mike Chibita yawasa Ppulofeesa Monica Chibita Dean w'abasoma eby'amawulire mu Uganda Christian University.[2][4] Bombi balina abaana bataano, abawala babiri [5] n'abalenzi basatu.[2]
- Jane Kiggundu
- Susan Okalany
- Ministry of Justice and Constitutional Affairs (Uganda)
- ↑ 1.0 1.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://eagle.co.ug/2019/12/06/dpp-mike-chibita-two-others-appointed-to-supreme-court.html - ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/News/National/688334-1948392-6b5s3dz/%2523https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitorhttps://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitorhttps://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor Cite error: Invalid<ref>
tag; name "1R" defined multiple times with different content - ↑ 3.0 3.1 3.2
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190527184305/https://www.dpp.go.ug/index.php/about-dpp/top-management-team/director-of-public-prosecutionshttps://web.archive.org/web/20190527184305/https://www.dpp.go.ug/index.php/about-dpp/top-management-team/director-of-public-prosecutionshttps://web.archive.org/web/20190527184305/https://www.dpp.go.ug/index.php/about-dpp/top-management-team/director-of-public-prosecutionshttps://web.archive.org/web/20190527184305/https://www.dpp.go.ug/index.php/about-dpp/top-management-team/director-of-public-prosecutions Cite error: Invalid<ref>
tag; name "2R" defined multiple times with different content - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://www.independent.co.ug/ucu-promotes-dr-monica-chibita-to-rank-of-full-professor/ - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)https://campusbee.ug/lifestyle/meet-the-brilliant-maria-chibita-from-ucu/