Michael Lulume Bayigga
Michael Lulume Bayigga Munnayuganda physician era munnabyabufuzi. Yaweerezaako nga ssaabawandiisi wa Democratic Party okuva mu 2007 okutuuka mu 2010.[1] He mubaka wa Paalamenti akiikiiria kosituwensi ya Buikwe ey'obukiikaddyo, Mu disitulikiti y'e Buikwe .[2]
Obuvo n'okusoma
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 1 Ogwokutaano 1970. Lulume Bayiga yasomera ku St. Paul's Boys Primary School e Nkokonjeru, Yasomera ku Kyambogo College School e Kyambogo, Kampala gye yasomera O-Level ne A-Level. Mu 1991 yayingira Makerere University School of Medicine, n'atikkirwa diguli mu Medicine and Bachelor of Surgery (MBChB) mu 1996. Mu 2004, yatikkirwa okuva mu Southern African Regional Institute for Policy Studies, ku University of Zimbabwe, Ne diguli eyookubiri mu Policy Studies.[3]
Obumanyirivu
[kyusa | edit source]Mu 1997, yatandika okukola ku "Nsambya General Clinic", ng'omusawo atali ku gavumenti nga y'amyuka ssenkulu w'eddwaliro. ekifo ky'akayalimu okutuuka na kati. Mu mwaka gwe gumu ogwo, yalondebwa nga ssenkulu wa Uganda Medical Volunteers' Association, ekitongole eky'obwannakyewa, ekifo ky'akyalimu okutuusa ne leero. Yasooka okuyingira ebyobufuzi 2006 wabula teyasobola kuwangula Anthony Mukasa ow'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ku kifo ky'obubaka wa Buikwe ey'obukiikaddyo. Wabula Bayiga yeekubira enduulu mu kkooti ya Uganda ensukkulumu era n'esazaamu obuwanguzi bwa Mukasa olw'okugulirira abalonzi.[4] Mu kuddamu okuonda mu Gwokutaano gwa 2008, Bayigga yawangula gwe yali avuganya era n'alayira ng'omubaka wa Paalamenti owa konsituwensi ku Lwokusatu Ogwokutaano 7, 2007.[5] Yaddamu okulondebwa mu 2011.
Ebimukwatako ebirala
[kyusa | edit source]Dr. Lulume Bayiga mufumbo. Agambibwa okuba ng'ayagala okukubaganya ebirowoozo, ttena n'obusawo. Atuula ku kakiiko ka Paalamenti ak'ensonga z'ebweru w'eggwanga ne ku kakiiko k'embalirira.[6]
Laba ne
[kyusa | edit source]- Olukalala lw'ebibiina by'ebyobufuzi mu Uganda.
- Olukalala lw'amalwaliro mu Uganda
- Paalamenti ya Uganda
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20150402104305/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/570146
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament