Jump to content

Micheal Azira

Bisangiddwa ku Wikipedia
Micheal Azira

 

Micheal Azira yazaalibwa nga 22 Ogwomunaana mu 1987, nga munayugada azannya omupiira gw'ensiimbi mu kiraabu ya New Mexico United ne ttiimu ya Uganda ey'eggwanga.

Gy'azannyira omupiira gw'ensiimbi

[kyusa | edit source]

Azira yateeka omukono kundagaano mu kiraabu ya Charleston Battery ng'eno eri mu kibinja USL Pro mu 2012.[1]  Yeeyateeba ggoolo ey'obuwanguzi Charleston bweyali ezannya ne Wilmington Hammerheads mu mupiira ogwali ogw'empaka za 2012 eza USL Pro.[2] Azira yateeba ggoolo mukaaga endala bweyali ne ttiimu eno Battery mu 2013.

Azira yatwalibwa aba kiraabu ya Seattle Sounders FC eri mu kibiinja kya Amerika ekyababinywera nga 6 Ogwokusatu, 2014.[3][4] Yazannya omupiira gwe ogwali gusooka mu kibinja kya MLS bweyagibwa ku katebe nga bazannya Montréal nga 23 Ogwokusatu.[5]

Seattle teyazza ndagaano ye buggya oluvannyuma lwa sizoni ya 2015. Azira yateekebwa kulukalala lw'abazannyi abaali bagenda okusalibwaako mu 2015 Ogwokumineebiri, nga yalondebwa aba kiraabu ya Colorado Rapids.[6]

Azira yatundibwa aba kiraabu ya Rapids nga 8,Ogwomunaana 2018 mu kiraabu ya Montreal Impact bweyali kulukalala lw'abaalina okusalibwako omulundi ogw'okuna, nga balina okukimwayo mu 2020 oluvannyuma lw'okutekebwa ku lukalala lw'ekibinja kya MLS .[7]

Azira yatundibwa neera mu 2019 Ogwomunaana, mu kaseera kano mu kiraabu ya Chicago Fire.[8] Endagaano ye ne kiraabu eno yagwaako kunkomerero ya sizoni ya 2020.[9]

Nga 1 Ogw'okubiri ,mu 2021, Azira yateeka omukono kundagaano ne kiraabu y'ekibinja kya USL Championship gyebayita New Mexico United.[10]

Ku mutendera gw'ensi yonna

[kyusa | edit source]

Azira azannyira ensi ye gyebaamuzaaliramu eya Uganda. Omutendesi Milutin Sredojević gwebasinga okumannya nga Micho, yamulonda, n'ateekebwa mu ttiimu y'abazannyi 23 abaali bagenda okuzannya empaka ezeetabwamu amawanga gw'okusemazinga wa Afrika eza 2017.[11]

Obulamu bwe mukutendeka

[kyusa | edit source]

Azira yakolalo ng'omutendesi owawagulu mu akademi ya Daniel Island Soccer Academy, ku ttiimu z'abalenzi abaali tebasusa myaka 16 wamu n'ey'abali wasi w'emyaka 18 mu kitundu kya Charleston,mu saza lya South Carolina. Yakola ng'omumyuka w'omutendesi ku UMS-Wright mu kitundu kya Mobile, mu saza lya Alabama gyeyamala sizoni biri, ng'era yabayamba n'okuwangula ekikopo ky'eggwanga mu 2011.[12]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Azira yalina ekiwandiiko ekyaali kimukirisiza ekya U.S green Card okubeera omuzannyi wa lliigi ya Amerika eyawagulu nga kino kyali kimukiriza okukola omuli ogwo.[13]

Nga 9 Ogwekumi, mu 2021, Azira yaweebwa obutuuze bw'okubeera munaasi wa Amerika ng'era abeera mu bitundu bya Albuquerque.[14]

Ebibalo bye nga bw'azze akola gy'abadde azannyira

[kyusa | edit source]

Mu kiraabu

[kyusa | edit source]

Template:Updated[15]Emipiira gy'azannye nga 23 Ogwokuna, mu 2022[16]

Kiraabu Sizoni Ligii Ekikopo ky'ewaka Ekikopo kya liigi Ku mutendera gwa semazinga Omugate
Ekibiinja Emipiira gy'abazannyiddde Ggoolo z'ateebye Emirundi gy'azannyidde Ggoolo z'ateebye Emipiira gy'abazannyidde Ggoolo z'ateebye Emirundi gy'abazannyidde Ggoolo z'ateebye Emirundi gy'abazanyidde Ggoolo z'ateebye
Mississippi Brilla 2010 USL PDL 10[16] 0 0 0 10 0
2011 15[17] 5 2[lower-alpha 1] 0 17 5
Omugate 25 5 2 0 27 5
Charleston Battery 2012 USL Pro 14 0 0 0 3[lower-alpha 2] 1 17 1
2013 26 5 2[lower-alpha 3] 0 2[lower-alpha 2] 2 30 7
Omugate 40 5 2 0 5 3 47 8
Seattle Sounders U-23 2013 USL PDL 1 1 0 0 1 1
Seattle Sounders FC 2014 MLS 14 0 5[lower-alpha 3] 0 4[lower-alpha 4] 0 23 0
2015 10 0 1[lower-alpha 3] 0 2[lower-alpha 4] 0 4[lower-alpha 5] 0 17 0
Omugate 24 0 6 0 6 0 4 0 40 0
Seattle Sounders U-23 (loan) 2014 USL PDL 6 0 6 0
Tacoma Defiance (loan) 2015 USL 4 0 0 0 0 0 4 0
Colorado Rapids 2016 MLS 30 0 1[lower-alpha 3] 0 4[lower-alpha 4] 0 35 0
2017 30 0 1[lower-alpha 3] 1 31 1
2018 5 0 1[lower-alpha 3] 0 1[lower-alpha 5] 0 7 0
Omugate 65 0 3 1 4 0 1 0 73 1
Colorado Springs Switchbacks (loan) 2018 USL 1 0 0 0 1 0
Montreal Impact 2018 MLS 10 1 0 0 10 1
2019 19 0 2[lower-alpha 6] 0 21 0
Omugate 29 1 2 0 31 1
Chicago Fire 2019 MLS 4 0 0 0 0 0 4 0
2020 6 0 0 0 6 0
Omugate 10 0 0 0 0 0 0 0 10 0
New Mexico United 2021 USL Championship 28 1 28 1
2022 2 0 2[lower-alpha 3] 0 4 0
Omugate 30 1 2 0 0 0 32 1
Omugate mu kiraabu zonna z'abadde azannyira 235 13 15 1 17 3 5 0 262 17


Ku nsi ye

[kyusa | edit source]

Template:Updated[18]Emipiira gy'azannye nga 16 Ogwomusanvu, mu 2019[17]

Ttiimu ya Uganda ey'eggwanga
Omwaka Emipiira gy'abazannyidde Ggoolo z'ateebye
2016 1 0
2017 4 0
2018 0 0
2019 5 0
Omugate 10 0

By'awangudde

[kyusa | edit source]

Mu kiraabu ya Charleston Battery

  • Ekikopo ky'empaka za USL Pro Championship mu 2012
Kiraabu ya Seattle Sounders

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-01. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.postandcourier.com/sports/charleston-battery-captures-fourth-usl-title-with---win/article_e2e80d79-cd11-5132-b3f0-0393861dab11.html
  3. https://web.archive.org/web/20151211061309/http://charlestonbattery.com/news/charleston-battery-transfers-mike-azira-to-seattle-sounders-fc/
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-08. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-02. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.soundersfc.com/post/2015/12/09/former-sounders-fc-midfielder-micheal-azira-lands-colorado-rapids
  7. https://www.coloradorapids.com/post/2018/08/08/colorado-rapids-trade-micheal-azira-montreal-impact-receive-2020-draft-pick
  8. https://www.mlssoccer.com/post/2019/08/07/chicago-fire-pick-micheal-azira-trade-montreal-impact
  9. https://www.mlssoccer.com/post/2020/11/05/mls-contract-options-whos-staying-and-whos-going-entering-2021-offseason
  10. https://www.uslchampionship.com/news_article/show/1143724
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2017-01-07. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. http://www.seattletimes.com/sports/sounders/micheal-azira-finds-his-niche-on-sounders-with-good-humor-positive-attitude/
  13. https://www.impactmontreal.com/en/post/2018/08/08/impact-acquires-uganda-international-midfielder-micheal-azira
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-08. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. "Uganda - M. Azira - Profile with news, career statistics and history - Soccerway". us.soccerway.com. Retrieved February 28, 2021.
  16. 16.0 16.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-08. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  17. 17.0 17.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-08. Retrieved 2022-12-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. Template:NFT

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]
  • Micheal Azira ku kibinja kya Ameriak ekya babinywera (Major League Soccer)
  • USL Pro profile