Minisitule y'amazzi n'obutonde bw'ensi (Uganda)
Minisitule y'amazzi n'obutonde bw'ensi (MWE), ye Minisitule ya Uganda evunaanyizibwa ku kuddukanya amazzi mu ggwanga lyonna, obutonde bw'ensi, entobazi, ebibira n'ensonga z'embeera y'obudde n'amateeka agakwata ku buyonjo. Minisitule ya Uganda ekulemberwa ba minisita. Omulimu gwayo omukulu kwekukakasa nti ensonga z'amazzi zikwatiibwako n'obutonde bw'ensi okubukuuma ku lw'enkulakulana mu Uganda".[1] Emirimu gyayo emikulu mulimu, okubunyisa amazzi n'obuyonjo, okukuuma entobazi, pulogulaamu eziyamabako mu kyukakyuka y'embeera y'obudde, okuddukkanya ebibira, pulogulaamu z'okufukirira ebirime n'okukuuma obutonde bw'ensi. Ebitongole ebirala ebikolera wansi wakyo kuliko; Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubunyisa amazzi n'okutambuza kazambi ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC), ekitongole ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bw'ensi (NEMA). Minisitule eno ekulemberwa Minisita Sam Cheptoris.[2]
Endagiriro w'ekisangibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ekitebe ekikulu ekya minisitule eno kisangibwa ku luguudo lwa Port Bell, okuliraana Luzira, mu Divizoni y'e Nakawa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obugazi.[3] Ebibalo by'ekitebe kya Minisitule biri 0°17'56.0"N, 32°38'56.0"E (Obukiika:0.298889; Obusimba:32.648889).[4]
Minisitule ezikolera wansi w'ekitongole kino
[kyusa | kolera mu edit source]Minisita ayambibwako ba minisita ababeezi babiri.
Obukulembeze bw'akyo
[kyusa | kolera mu edit source]Mu ngeri y'obukulembeze, Minisitule y'agabanyizibwamu obukiiko bw'aba Dayilekita busatu:
- Ofiisi ekwasaganya amazzi n'obugagga ebw'omuttaka
- Ofiisi evunaanyizibwa ku nkulakulana y'amazzi
- Ofiis ekwasaganya ensonga z'obutonde bw'ensi
Ebitongole eby'etongodde
[kyusa | kolera mu edit source]Minisitule eno ekolera wamu n'ebitongole eby'etengeredde n'ekigendererwa eky'okutuukiriza ebigendererwa byaabwe.[6]
- Ekitongole ekikwasaganya ebibira
- Dipaatimenti ekwasaganya enkyukakyuka y'ebeera y'obudde mu kitundu
- Ekitongole ekikwasaganya obutonde bw'ensi
- Ekitongole ekibunyisa amazzi mu Ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation
Olukalala lw'aba Minisita
[kyusa | kolera mu edit source]- Sam Cheptoris (6 Ogwomukaaga 2016 - okutuusa kaakano)[7]
- Ephraim Kamuntu (15 Ogwomunaana 2012 - 6 Ogwomukaaga 2016)[8]
- Maria Mutagamba (1 Ogwomukaaga 2006 - 15 Ogwomunaana 2012)[9]
- Kahinda Otafiire (2003 - 1 Ogwomukaaaga 2006)[10]
Laba na bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-17. Retrieved 2023-06-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://allafrica.com/stories/201606290702.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-02. Retrieved 2023-06-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B017'56.0%22N+32%C2%B038'56.0%22E/@0.2988944,32.6467057,445m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.298889!4d32.648889
- 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-unveils-new-cabinet-retains-nabbanja-alupo-and-janet-in-key-reshuffle-5474810
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-02-21. Retrieved 2023-06-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2025-02-21. Retrieved 2023-06-13.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20120816235713/https://www.newvision.co.ug/news/634161-president-yoweri-museveni-reshuffles-cabinet.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20151023124619/https://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=234&const=Ruhindi++County&dist_id=106&distname=Mitooma
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipediya
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukutu omutongole ogwa website
Template:Ministries of Uganda00°17′56″N 32°38′56″E / 0.29889°N 32.64889°ELua error: Invalid configuration file.