Jump to content

Minisitule y'emirimu n'entambula (Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia
General Wamala Katumba
Commander owa UPDF Land Forces Lieutenant General Edward Katumba Wamala nga ali Mogadishu

 

Minisitule y'emirimu n'entambula Minisitule ekulemberwa ba Minisita okuva mu Gavumenti ya Uganda, ey'ateekebwawo okuteekateeka, okukulakulanya, n'okukwasganya eby'ensimbi wamu n'eby'entambula ebiri ku mutindo, obuweereza eri eby'entambula ku nguudo, egaali y'omukka, amazzi, ne mubbanga. Minisitule era kigikakkatako okukwasaganya emirimu gya Gavumenti omuli ebizimbe bya Gavumenti, n'okulinyisa omutindo mu kisaawe ky'okuzimba. Minisitule ekulemberwa Minisita. Minisita w'emirimu n'entabula ye Katumba Wamala.

Endagiriro

[kyusa | edit source]
General Edward Katumba Wamala

Ekitebe ekikulu ekya Minisitule eno kiri ku nsonda y'oluguuda lwa Jinja ku luguudo lwa Old Port Bell, mu Divizooni ya Kampala ey'omumasekkati, mu kifo ky'amakolero mu Kampala, ekibuga ky'eGgwanga ekikulu. Ebibalo by'ekitebe ekikulu biri:0°19'04.0"N, 32°35'48.0"E (Obukiika:0.317779; Obuwanvu:32.596681).[1]

Ebikikwatako

[kyusa | edit source]

Okuva mu Gwomusanvu, Minisitule elina ebiyongole by'ekola n'abyo mu pulojekiti z'okuzimba ez'enjawulo mulimu:

  1. Okuzimbibwa kw'oluguudo mwasanjala olwa Entebbe–Kampala Expressway. Olwa kilomita 53 (33 mi) lugatta ku kisaawe ky'eggwanga ekikulu eky'Entebbe n'oluguudo mwasanjala olwa Kampala Northern Bypass wamu n'emiriraano gya Kampala nga Munyonyo, ku mbalama z'oBukiikakkono bw'ennyanja Nalubaale.[2] Oluguudo luno teluggya kukozesebwa bantu bonna era luggya kubaako okukugira.[3]
  2. Okugaziya n'okwongera omutindo ku kisaawe ky'ennyonyi ky'eggwanga Entebbe International Airport. Enkola eno ey'okugabanya mu kugaziya ekisaawe esuubirizibwa okuggwa mu 2033 nga mwe muli okugaziya awayita emigugu, ekizimbe omuyita abasaabaze, okuzimba etterekero ly'amafutaeppya, okuzimba awateekebwa emmotoka, okuzimba ekizimba awalagirirwa ennyonyi n'okunweza n'okukwasa awaddukira ennyonyi. Embalirira y'okuddabiriza ekisaawe kino ebalirirwamu obukadde bwa Doola 586.[4]
  3. Okugaziya oluguudo mwasanjala olwa Kampala Northern Bypass Highway okukozesebwa emmotoka ez'etikka emigugu.[5]
  4. Okuzimba oluguudo lw'eggaali y'omukka olwa Malaba–Kampala Standard Gauge Railway.[6]
  5. Okuzimba olutindo lwa New Nile Bridge ku Njeru.[7]

Ba Minisita ababeezi

[kyusa | edit source]

Ebitongole ebiyamba n'okukolera awamu

[kyusa | edit source]
  1. Ekitongole ekikwasanya entambula z'ennyonyi
  2. Ekitongole kya Uganda ekikwasaganya eby'enguudo
  3. Ekitongole ekivujirira enguudo
  4. Rift Valley Railways
  5. Ekitongole ekikwasaganya ekibuga (Kampala Capital City Authority)

Olukalala lw'aba Minisita

[kyusa | edit source]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

 

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'04.0%22N+32%C2%B035'48.0%22E/@0.3177844,32.5944977,450m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.317779!4d32.596681
  2. https://web.archive.org/web/20150712044941/http://observer.ug/news-headlines/37179-entebbe-k-la-highway-what-is-done-so-far
  3. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1341843/private-company-manage-kampala-entebbe-expressway
  4. http://www.newvision.co.ug/news/672647-entebbe-airport-expansion-starts-on-saturday.html
  5. http://www.monitor.co.ug/Business/Shs200b-Northern-Bypass-expansion-project-kicks-off/-/688322/2512018/-/pbjy8u/-/index.html
  6. https://www.theeastafrican.co.ke/business/China-Exim-sets-terms-for-financing-Uganda-SGR/-/2560/3223214/-/t0cd96z/-/index.html
  7. http://www.newvision.co.ug/news/651883-museveni-to-launch-new-nile-bridge-construction.html
  8. https://web.archive.org/web/20161119192536/http://www.parliament.go.ug/index.php/members-of-parliament/cabinet-members
  9. https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-shuffles-Cabinet-drops-Muloni-Nadduli-Ssekandi/688334-5386130-139sq4lz/index.html
  10. https://www.africanews.com/2016/06/07/museveni-appoints-his-wife-to-key-ministry-in-new-cabinet//
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2022-08-30. Retrieved 2023-06-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  13. https://web.archive.org/web/20151023121239/https://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=194&const=Kazo++County&dist_id=69&distname=Kiruhura

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

00°18′48″N 32°34′55″E / 0.31333°N 32.58194°E / 0.31333; 32.58194