Jump to content

Miriam Muwanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Miriam Sebaggala, nga yazaalibwa ye Miriam Muwanga (yafa nga 10 Ogwokutaano 1975) yali mukugu mu by'amasanyalaze okuva mu Uganda, eyaggya nga mmemba ow'omugaso mu kakiiko k'abakyala aka Women's Engineering Society. Oluvanyuma lw'okutendekebwa mu Bungereza, yakomawo mu Uganda era nga yakola mu biti eby'enjawulo ku kakiiko akakwasaganya ensonga z'amasanyalaze mu Uganda saako n'okusunsula obutabo bw'ekitongole.

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Bitono nnyo ebimanyikiddwa ku buto bwa Muwanga, yegatta ku kibiina ekikwasaganya abakyala mu by'amasanyalaze ekya Women's Engineering Society (WES) mu 1965 nga mmemba.[1] Yali akolera mu kkolero ly'ebyamasanyalaze (Associated Electronics Industries) ng'oluvanyuma yafuuka Metropolitan Vickers, ng'omutendesi omukugu mu kaseera bwe yali akyasomera ku John Dalton College of Technology, nga mu kaseera kano eyitibwa Manchester Metropolitan University, okufuna Satifikeeti eya Higher National Certificate.[2] Mu kaseera ako, yali akola ku nguudo z'amasanyalaze okutambulirwa egaali.[3] Mu kiwandiiko ekyasomebwa mu kufa kwe, aba The Woman Engineer bawandiika nti yasalawo okusoma eby'amasanyalaze n'alekawo eby'obusawo okusinzira ku "kwegomba kwe okwewaayo okuweereza abantu n'eGgwanga lye".[4] Mu 1968 yafuuka mmemba mu ttendekero ly'ebyamasanyalaze erya Institute of Electrical Engineers.[5] Nga mujjumbize mu WES, mu 1971 yali mmemba ku kakiiko ka WES mu ttabi lye Bungereza.[6] Era yakolerako ne mu kitongole kya International Conference of Women Engineers and Scientists eky'okubiri, eyali mu Cambridge, nga era lw'elukungaana ttabamiluka olw'okusatu mu Turin.[4]

Mu lugendo lwe olw'okudda mu Uganda yakolerako ab'akakiiko akakwasaganya eby'amasanyalaze n'okuteekateeka ensasanya y'amasanyalaze, n'oluvanyuma nga omukugu mu kutambuza amasanyalaze saako n'okulondoola amataala agateekebwa ku kkubo. Mu 1974 yafuuka omusunsuzi w'akatabo k'akakiiko k'ebyamasanyalaze.[7] Wabula Proscovia Margaret Njuki anyonyolwa ng'omukyala Munnayuganda eyasooka okufuuka omukugu mu by'amasanyalaze, Muwanga yali munyikivu mu kisaawe ekyo okumala emyaka.

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | edit source]

Muwanga yafumbirwa mu 1968 era ne muwala we, Kulabata, yazaalibwa nga 1 Ogwomwenda 1974.[8] Yafa nga 10 Ogwokutaano 1975 nga yafiira mu kabenje akagwaawo mu Kampala, Uganda, nga akabenje kano kakosa nnyo muwala era kamuleka apookya n'abiwundu.

Ebikuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://electrifyingwomen.org/uganda-has-lost-its-first-woman-engineer-remembering-miriam-sebaggala-nee-muwanga/
  2. https://twej.theiet.org/twej/WES_Vol_9.html
  3. https://books.google.com/books?id=Uh3jAAAAMAAJ&q=miriam+muwanga
  4. 4.0 4.1 https://twej.theiet.org/twej/WES_Vol_11.html
  5. https://books.google.com/books?id=4ZI7AAAAMAAJ
  6. https://twej.theiet.org/twej/WES_Vol_11.html
  7. https://twej.theiet.org/twej/WES_Vol_11.html
  8. https://twej.theiet.org/twej/WES_Vol_11.html