Jump to content

Molekyo

Bisangiddwa ku Wikipedia
molekyo

Molekyo zitondekabwawo nga obuziba bubiri (two atoms) oba okusingawo bwekozeemu enkwasowazo ez’enkyusabuziba (chemical bonds).

Si kikulu okuba nti obuziba bwa kika kimu oba bwa njawulo. Okiraba nti molekyo ziyinza okuba ennyangu oba enzibuwavu. Zino wansi byakulabirako bya molekyu eza bulijjo: a) Molekyu y’amazzi (H2O) b) Molekyu ya naitogyeni (N2) c) Molekyu ya Ozoni (O3) d) Molekyu ya kalusiyamu-okisayidi (Calcuim oxide) CaO e) Molekyu ya ggulukoosi, C6H12O6. Eno molekyo ekwasiwazibwa atomu za kaboni 6, atomu za k-mazzi 12, n’eza okisigyeni 6. Ggulukoosi kiba kisukaali (sugar) Molekyu ezikolebwa endagakintu(elements) bbiri oba okusingawo ze zikola ekipooli eky’enkyusabuziba (chemical comound). Amazzi, kalusiyamu-okisayidi (calcium oxide), ne ggulukoosi ze zimu ku molekyo ezikola ebipooli eby’enkyusabuziba. Ebipooli byonna ziba molekyu naye si buli molekyu nti kitooli. Molekyu ya Ozoni (O3) n’aya naitogyeni N2 si bitooli. Okiraba nti molekyo kiba “kirimba kya buziba”( a cluster of atoms) bbiri oba okusingawo ezikwasiwaziddwa(bonded) n’enkwasowazo oba “enkwaso”(chemical bonds). Molekyo ntini nnyo era yadde nga zzo nneneko ku atomu nazo zetaagisa enzimbulukusa ey’obusannyalzo(electron microscope). Buli kintu ku Nsi ne ku nkulungo endala kikolebwa molekyo era bwe kityo bwe kiri ku lufuufu olusinga mu bwengula. Molekyo ezasooka zakolebwa emyaka mitwalo ng’asatu oluvannyuma lw’okubwatuka okunene okwaliwo, emyaka egitasukka buwumbi 15 egiyise. Ze zaali molekyo ezisingayo obutini nga obuziba bwa ayidologyeni(hydrogen atoms) bbiri zegasse wamu. Ekiseera bwe kyayitawo semufu, okuva mu njuba ezibumbulukuka ne zibwatuka ne zifulumya mu bwengula ebika bya atomu eby’enjawulo n’ebika bya moolekyo eby’enjawulo, ne bijjawo ne bibuna wonna mu bwengula Kubanga atomu ezisinga mu bwengula zaali za kitondekamazzi, molekyo zino ezisinga zakwasawaza kitondekamazzi ne atomu ey’ekika ekirala. N’olwekyo kitondekamazzi yekwasawaza ne okisigyeni okukola molekyo z’amazzi. Kitondekamazzi yekwasawaza ne kaboni okukola kaboni za nakazzi (hydrocarbons), zino nga ze molekyo ezikola ebiramu byonna. Mu butuufu ekitundu eky’ebiramu ekisinga kirimu mazzi. Ne bwe waali tewannaba kubaawo nkulungo zonna, amazzi ne kaboni za nakazzi zaali zitengejja eyo mu bwengula ku bwazo. Molekyo endala zaakolebwa atomu enzito okusingawo nga sirikoni oba zaabu. Era mu bwengula kaboni za nakazzi ezimu zekwasawaza ne zikola molekyo ennene okusingawo eziyitibwa aminasidi. Enkulungo bwe zatondekebwawo, ezo ezaali zisinga okuba ewala n’enjuba ng’enkulungo ya Kibuuka (jupitor) n’enkulungo ya Ggulu (Neptune) zaakolebwa okusinga molekyo empewufu nga molekyo z’amazzi ne kaboni za nakazzi. Ensi, eyatondekebwawo emyaka nga obwumbi 4.5 egiyise yali eri kumpi nnyo n’enjuba era ng’ekolebwa okusinga molekyo enzito okusingawo nga kkalwe, sirikoni ne minero endala bye bikola enjazi mu magombe g’ensi. Tekinnakakasibwa ngeri ki na ddi amazzi, kaboni eza nakazzi ne aminasidi bwe zajja ku Nsi. Kyokka bwe zatuuka ku Nsi, aminasidi zekung’anya wamu okutondekawo molekyo endala enzibuwavu okusingawo nga ezasooka ku zino zaali asidi za libonyukiraiki oba libonnyukirayikasidi (ribonucleic acids), ne kuddako ebizimbamubiri(proteins). Molekyo y’ebiramu esingayo obunene leero y’endagabutonde (DNA). Buli molekyo y’endagabutonde erimu atomu za kaboni ezisukka mu buwumbi obubiri gattako atomu ez’ebika ebirala nkuyanja. Molekyo zonna zetaaga engeri ey’okukuumira obuziba bwazo awamu.Engeri ebbiri ezisinga okukuumira obuziba bwa mulokyo awamu zirimu: • Enkwasowazo ez’ekiyayaano ekyawamu (covalent bonding) nga mu kabonibbiri-okisadi n’amazzi. • Enkwasowazo eza ez’ekivaatiso (ionic bonding) nga mu byazi. Ku mulembe guno bannasayansi bayinza okukola ebika bya molekyo ebipya mu laabu n’amakolero nga molekyo za pulasitiika. Pulasitiika nazo molekyo molekyo za kaboni za nakazzi. Abantu era bakola molekyo empya ez’okujjanjabisa endwadde. Tumaze okulaba nti ekiyitibwa erementi mu essomabuzimbe (chemistry), ye matiiriyo ekolebwa akaziba ek’ekika ekimu kyokka yadde nga eyinza okuba atomu essukka mu emu. Ky’olina okumanya kwe kuba nti eba atomu ya kika kimu.

Kyokka ate atomu ez’ebika eby’enjawulo bbiri bwe zekwasawaza (bonding), zikola ekiyitibwa “molekyo” (molecule), kino nga era kiyitibwa kitooli (compound).

Molekyo eyinza okukolebwa atomu ez’ekika ekimu ezisukka mu emu oba atomu ez’ebika eby’enjawulo. Ebyokulabirako:

(i) Obuziba bubiri obwa ayidologyeni bukola molekyo ya ayidologyeni, H2. Eno molekyo nnyangu. (ii) Obuziba bubiri obwa okisigyeni bukola molekyo ya okisigyeni, O2. N’eno molekyo nnyangu. (iii) Obuziba busatu obwa okisgyeni bukola molekyu ya Ozoni, “O3”. N’eno molekyu nnyangu. (iv) Molekyu y’amazzi H2O, ekolebwa obuziba bwa ayidologyeni bubiri n’akaziba ka okisigyeni kamu. Eyo molekyo nzibuwavu(complex molecule). (v) Molekyu y’omunnyo, Nacl2, ekolebwa akaziba ka sodiyamu kamui nakaziba ka kololiini kamu. Eno nayo molekyu nzibuwavu.

Ki ekitali Molekyo?

Obuziba obwa namunigina ez’endagakintu teziba molekyo. Akaziba ka okisigyeni eya namunigina, O, teba molekyo. Kyokka okisigyeni bwe yekwasawaza (bonds) ne okisegyeni nga O2 , O3 oba ne yekwasawaza ku ndagakintu oba akaziba ak’ekika ekirala, eno eba molekyo.

Molekyo ezasooka ze zaali molekyo ezaali zisingayo obutono. Obuziba bwa ayidologyeni bubiri bweekwasawaza wamu. Bwe waayitawo ekiseera, semufu z’enjuba ne zibwatuka ne ziwanda obuziba(atoms) obw’enjawulo ne watondekebwawo molekyu ez’ebika eby’enjawulo ne zitandika okutseyeeya mu bwengula.

Olw’okuba obuziba obusinga mu bwengula bwali bwa ayidologyeni, molekyu zino ezisinga obungi zaagatta ayidologyeni ‘akaziba ak’ekika ekirala. Ayidologyeni yeegatta ne okisegyeni okukola molekyo z’amazzi, ayidologyeni yegatta ne kaboni okutondekawo kaboni za nakazzi (hydrocarbons), zino nga ze zizimba buli kiramu.

N’enkulungo bwe zaali tezinnabaawo, obuziba bw’amazzi ne kaboni za nakazzi (hydrocarbons) bwali buseyeeya mu bwengula ku bwazo.Molekyu ezimu zaakolebwa mu buziba obuzito okusingawo nga sirikoni oba zaabu. Kyokka era mu bwengula kaboni za nakazzi (hydrocarbons) zekwata ne zitondekawo molekyu ennene okusingawo eziyitibwa aminasidi (amino acids). Enkulungo bwe zitondekebwawo, ezo ezaali ewala okuva awali enjuba zaakolebwa okusinga mu molekyu eziwewuka ng’amazzi ne kaboni za nakazzi(hydrocarbons).

Ensi eyatondekabwawo emyaka nga obuwumbi 4.5 egiyise, yali kumpi ekolebwa okusinga molekyo enzito nga kkalwe (iron).

Sirikoni mungi ne minero endala nazo zaayingira mu nsi gye zaakola enjazi mu magombe g’ensi.

Tekinnaba kukakasibwa ddi molekyu z’amazzi, kaboni za nakazzi, ne aminasidi bwe zayingira ku nsi. Kyokka bwe zaatuuka ku nsi aminasidi zeegatta okukola molekyu endala enzibuwavu oba oli awo okusooka asidi za libonyukiraiki (ribonucleic acids) ne kuddako ebizimbamubiri (proteins). Molekyu y’ebiramu esinga obunene y’endagabutonde (DNA). Buli molekyo ya ndagabutonde erina atomu za kaboni buwumbi bubiri munda mwayo, gattako ebika bya atomu ebirala.

Molekyo zonna zetaaga engeri y’okukuumira atomu zazo awamu. Engeri enkulu bbiri ezikuumira atomu za molekyo awamu zirimu:

a) Enkwasowazo ez’ekigabanyo (covalent bonding). Enkwasowazo ez’ekigabanyo ng’eza kabonibbiri-okisadi n’eya amazzi. b) Enkwasowazo ez’ekivaatiso (ionic bonding). Ekika ekinafu nga mu njazi ezisinga obungi. Ku mulembe guno abantu bakola molekyo empya mu laabu n’amakolero. Ezimu ku molekyo ezisinga obunene abantu ze bakola mulimu molekyo za pulasitiika (plastics) ng’ebidomola bya kasasiro n’obuveera. Pulasitika nazo molekyo za kaboni eza nakkazzi (hydrocarbons). Abantu era bakola molekyo empya ez’eddagala.

Template:Charles Muwanga