Monica Arac de Nyeko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Monica Arac de Nyeko yazaalibwa mu 1979 nga Munayuganda omuwandiisi w'ebintu ebitaliiwo nga abigya mundowooza zze, ebotontome, engero enyimpi, nga abeera Nairobi.[1] Mu 2007, yafuuka Omunayuganda eyasooka okuwangula ekirabo kya Caine Prize for African Writing,[2][3] n'olugero lwe olwali luyitibwa "Jambula Tree". Yali atereddwa kulukalala luno mu 2044 olw'olugero lwo oluyitibwa "Strange Fruit", olugero olwali lukwatagana ku mwana nga munagye abeera e Gulu, mu Bukiika Ddyo bwa Uganda.[4] Y'omu kubakyala abali mu kibiina ekigata abakyala abawandiisi, ng'ate ye musunsuzi omukulu owa T:AP Voices. Yasomesa nga ebiwandiike wamu n'oluzungu ku St. Mary's College Kisubi nga tanaba kweyongerayo kusoma Diguli yakusatu mu kuyamba abantu ku Yunivasite ye Groningen. Byeyeewandikako mu bumpi mpi mu nyenye oba "In the Stars" kyamuwanguza ekirabo ekisooka munsi ky'abakyala, byeyawandiika mu bumpi mpi nga bikwata ku bakyala mu bifo ewasinganibwa entalo bwebaali mu mpaka z'okuwandiika. Afulumiziddwa mu biwandikibwa eby'enjawulo nga mubutabo bwa; Sun, The Nation, IS magazine, Poetry International wamu n'obulala bungi.[5] Yomu ku bawandiisi abaalangirirwa okubeera mu pulojekiti ya Africa39 eyayanjulwa ab'ebikujuko bya Rainbow, Hay Festival ne Bloomsbury Publishing ku bikujuko bya London Book Fair mu 2014. Olukalala luliko abawandiisi 39 aba wa esuubi mu kuwandiika nga abasinganibwa mu mawanga agatali mu dduungu lya Afrika nga bali wansi w'emyala 40.[6][7][8][9][10][11]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Arac de Nyeko ava mu Disitulikiti y'e Kitgum mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, wabula nga yakulira mu Kampala okusinga, n'asomera ku masomero ga siniya agasingabibwa e Gulu, mu bukiika Ddyo bwa Uganda, okumala emyaka egiwera. Alina Diguli Mubusomesa okuva ku Yunivasite ye Makerere, wamu ne Diguli ey'okubiri mu by'okuyamba abantu ng'eno yagifuna okuva ku Yunivasite y'e Groningen mu ggwanga lya The Netherlands.[4][12] Bweyali e Makerere yali mu kubaali basinga okwenyigira mu kibiina ekigata abakyala abawandiisi mu Uganda[13] nga kino yakisiima olw'okubeera nga kyamuwa ekifo ne w'ayinza okuwandiikira, ng'alina abamukwatirako n'okumuyigiriza, abakwasizaako nadala nga otandika[14] Y'omu kubaawaayo webaali bawandiika ebiwandiiko bya 2019 eby'akatabo ka New Daughters of Africa, akaasunsulwa Margaret Busby.[15]

Okuwandiika[kyusa | edit source]

Mu 2007, yawangula ekirabo kya Caine Prize olw'olugero lwe olwali olumpi oluyitibwa "Jambula Tree",[16] nga lukwata ku baana aboobuwala babiri, abaagwa mu mukwano, wabula nga balina okwengaanga ebantu ababeetolodde abaali tebagenda kubasonyiwa olw'ekyo kyebaali bakoze. Ezimu ku ngero za Arac de Nyeko zebaasinga okumannya era okutekako esira, lwerwo oluyitibwa "Strange Fruit", omwali ekyefanayiriza oluyimba olulina erinya lyerimu, ng'era baaluteeka kulukalala lw'ekirabo kya Caine Prize mu 2004.[17]

By'afulumiza[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebimpi mpi[kyusa | edit source]

  • "Pastor Love", in  (2012). Space: Currencies in Contemporary African Art. Unisa Press. ISBN <bdi>978-1868886807</bdi>.

Engero enyiimpi[kyusa | edit source]

  • "Jambula Tree", in  (2013). Queer Africa: New and Collected Fiction. MaThhoko's books. ISBN 9781920590338.
  • "Back Home", in  (2008). Dreams, Miracles and Jazz. Picador Africa. ISBN 9781770100251.
  • "Jambula Tree", in  New Internationalist. 2008. ISBN <bdi>978-1904456735</bdi>.
  • "Jambula Tree", in  (2007). African Love Stories: An Anthology. Lynne Rienner Publishers. ISBN <bdi>978-0954702366</bdi>.
  • "Strange Fruit", in  Jacana Media (Pty) Ltd. 2005. ISBN <bdi>978-1770091450</bdi>.
  • "Grasshopper Redness", in  Jacana Media (Pty) Ltd. 2005. ISBN <bdi>978-1770091450</bdi>.
  • "October Sunrise", in  (2003). Memories of Sun: Stories of Africa and America. Amistad. ISBN <bdi>978-0060510503</bdi>.
  • "Bride Price for my Daughter", in  (2003). Tears of Hope. a Collection of Short Stories by Ugandan Rural Women. Femrite Publications. ISBN <bdi>978-9970700028</bdi>.
  • "Chained", in  (2001). Words from a Granary. Femrite Publications. ISBN 9789970700011.
  • "Jambula tree"
  • "The Banana Eater" in AGNI online, 2008
  • "Strange Fruit" in author-me, 2004

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.african-writing.com/four/monicaaracdenyeko.htm
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-26. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.theguardian.com/books/2007/jul/10/news.awardsandprizes
  4. 4.0 4.1 http://pambazuka.org/en/category/African_Writers/54418
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-22. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.hayfestival.com/artistlist-m-p.aspx
  7. http://www.thebookseller.com/news/africa39-list-promising-writers-revealed.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-13. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2014-04-13. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.hayfestival.com/artist.aspx?artistid=5985hayfestival
  11. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-11-01. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. "Monica Arac de Nyeko (Uganda)", Time of the Writer, 2006.Template:Webarchive
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-23. Retrieved 2023-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. http://www.belletrista.com/2009/issue2/features_2.php
  15. https://www.nation.co.ke/lifestyle/weekend/New-Daughters-of-Africa-a-must-read-for-women-writers/1220-5422114-s2c04fz/index.html
  16. http://news.bbc.co.uk/2/hi/africa/6285252.stm
  17. https://www.washingtonpost.com/wp-dyn/content/article/2007/07/10/AR2007071001271.html?nav=rss_artsandliving/entertainmentnews

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]