Monica Mugenyi

Bisangiddwa ku Wikipedia


  Monica Kalyegira Mugenyi Munnamateeka wa Uganda era mulamuzi, eyalondebwa nga 4 Ogwekkumi 2019, okutuula mu ntebe ya Kkooti ya Uganda ejulirwamu.[1]

Nga tannaba kutuuka awo, yatuulako ku Kkooti ya Uganda enkulu. Yalondebwa omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni nga 17 Ogwomukaaga 2010.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Yatikkirwa mu ssomero ly'amateeka erya Ssettendekro wa Makerere, Yunivasite ya Uganda eya Gavumenti esinga obukulu n'obugazi ne Diguli esooka mu mateeka, mu 1992. Omwaka ogwaddako, yaweebwa Dipuloma mu kutaputa amateeka okuva ku Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Era alina Diguli ey'okubiri mu mateeka mu International Trade Law, okuva mu University of Essex mu Bungereza.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tannaba kutuuzibwa mu ntebe, yali munnamateeka mu kampuni y'obwannakyewa eya Mugenyi & Company Advocates era yaweereza nga maneja w'ekitongole kya Uganda Road Fund. Era yaweerezaako mu Offisi ya Ssabawaabi wa Gavumenti ne mu Privatization Unit. Ku Kkooti enkulu, yaweerereza ne mu kkooti ya East African Court of Justice (EACJ), gy yali nga "omulamuzi wa kkooti w'edaala eryawansi".[3][4] Mu Gwekkumi 2019, yatuumibwa mu Kkooti ya Uganda ejulirwamu ng'alinda okukkirizibwa Paalamenti ya Uganda.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]