Jump to content

Moses Magogo Hassim

Bisangiddwa ku Wikipedia
Moses Magogo

 

Moses Magogo Hassim yazaalibwa mu Gwekumineebiri nga 8, 1976 nga Munayuganda adukanya ebyemizannyo ate munabyabufuzi. ye pulezidenti w'ekibiina ekidukanya omuzannyo gwomupiira mu Uganda (FUFA),[1][2] era eyaliko ku kakiiko ky'ekibiina ekidukanya omupiira ku semazinga wa Afrika (CAF).[3] Mu kulonda kwa bonna okwa 2021 yalondebwa ng'omubaka wa Paalamenti, okukiikirira Budiope Eyobuvanjuba mu Disitulikiti ya Buyende,[4] ku lw'ekibiina kya National Resistance Movement ekyobufuzi.[5]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Moses Magogo yazaalibwa mu Disitulikiti ye Buyende, mu Buvanjuba bwa Uganda ng'esangi zino abeera mu Kampala mu Uganda.

Moses Hassim Magogo yafuna ekifo ky'okubeera pulezidenti w'ekibiina ekidukanya omuzannyo gw'omupiira mu Uganda nga 31 Ogwomunaana mu 2013 oluvannyuma lw'okudira Dr. Lawrence Mulindwa eyali akidukanya mu kusooka.[6][1] Baddamu nebamulonda mu 2017 ku bisanja ebirala bya myaka enna.[7]

Moses Magogo yasomera ku Kagulu Primary School mu Disitulikiti ye Kamuli, Jinja College e Jinja ne Namilyango College mu Disitulikiti y'e Mukono oluvannyuma neyeegata ku Yunivasite ye Makerere okusoma Diguli mu bwa yinginiya w'eby'amasanyalaze.[7]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]