Jump to content

Moses Matovu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Moses Matovu
Moses Matovu

  Moses Matovu Munnayuganda omukubi w'ebivuga era omukommonsi w'omulele.[1] Y'omu ku batandikawo Afrigo Band, bbandi ya Uganda esinga obuwangaazi nga yatandikibwawo mu 1975.[2][3][4]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Matovu yazaalibwa nga 19 Ogwomukaaga 1949 mu Divizoni y'e Kawempe, Disitulikiti y'e Kampala eri Abdallah Bukenya ne Solome Nakitto.[5] Bazadde be bwebayawukana, yasengukura e Mengo, ne maamawe ng'alina emyaka etaano. Obuto bwe yasinga kubumala n'ennyina. Yasomera ku Namirembe Primary School n'oluvannyuma Kibuli Secondary School.[6] Era yasomera ne ku Pillai's Secondary School. Wabula emisomo gya Matovu gy'asalibwako mu 1966 amatendekero g'abulijjo bwe gaggalwawo. Yali ku sikaala okuva mu Bwakabaka bwa Buganda. Awataali mukisa gwonna okweyongerayo mu ssomero, Matovu essira yasalwo okulissa ku kusamba Omupiira gw'ebigere era neyegatta ku kisaawe ky'okuyimbamu 1967 ng'omuyimbi w'amaloboozi nga yali ne Bandi ya Thunderbirds Band.[5]

Mu kisaawe ky'okuyimba

[kyusa | edit source]

Matovu abadde mu kisaawe ky'okuyimba okumala emyaka 45. Yatandikira mu Thunderbirds Band mu 1967 ng'omuyimbi w'amaloboozi. Bweyava eyo, y'egatta ku Police Band mu 1968 n'oluvannyuma Cranes Band mu 1969 nga ye n'emikwano gye emirala tebannatandikawo Afrigo Band mu 1974.[2] Abadde aweereza ne Bbandi eno nga ye mukulembeze w'ayo okuva mu Gwokubiri 2015.[7]

Ennyimba ze y'ayimba

[kyusa | edit source]

Ezimu ku nnyimba ne Alubaamu z'eyafulumya yazikola ne Afrigo Band:[7]

Omwaka Elinnya ly'oluyimba Omuwandiisi
Afrigo Batuuse
Akola Bwenkanya Charles Ssenkyanzi
Musa Charles Ssenkyanzi
Enneyisa Charles Ssenkyanzi
Rose Guma Charles Ssenkyanzi
Onnemye Charles Ssenkyanzi
Nnemeddwa Charles Ssenkyanzi
Obangaina Rachael Magoola
Sipiidi Kendeeza
Olumbe Lwo'bwaavu
Sikulimba (Olunderebu)

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-12-09. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-25. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.newvision.co.ug/news/646720-celebrating-afrigo-band.html
  4. https://books.google.com/books?id=MZJMlaisYmwC&q=moses+matovu+musician&pg=PA104
  5. 5.0 5.1 https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)
  6. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/-/689856/1390566/-/cbsoyr/-/index.html
  7. 7.0 7.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-12-25. Retrieved 2022-12-09.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.