Moses Ndiema Kipsiro

Bisangiddwa ku Wikipedia


Moses Ndiema Kipsiro (yazalibwa nga 2 Ogwomwenda 1986 mu Singare)[1] muddusi wa Uganda ow'engendo empanvu eza.mmita 5000. Ye muwanguzi w'omudaali gw'ekikomo mu mpaka z'emisinde eza 2007 World Championships in Athletics. Y'akiikirira Uganda mu mpaka za 2008 Beijing Olympics, nga yamalirira mu kyakuna mu mmita 5000 .

Kipsiro awangudde emidaali mu mpaka za mmita 5000  mu African Championships in Athletics ne All-Africa Games. Yamalako mmita 5000/10,000 mu mizannyo gya 2010 Commonwealth Games. Ye munnayuganda omuwanguzi w'emiside egya mubunabyalo emirundi enna egy'omuddiringanwa okuva mu 2008 okutuuka mu 2011.[2][3] Y'alina likodi y'aUgandan eya mmita 3000 ne mmita 5000 era n'emisinde gya10K road distance.[4]

Emisinde gye yeetabyemu[kyusa | edit source]

Emidaali gye yasooka okuwangula mu mpaka za Afrika ne ku mutendera gw'ensi yonna[kyusa | edit source]

Yalabikako mu butongole mu misinde gya 2005 World Championships in Athletics, ng'adduka mmita 5000. At the 2006 Commonwealth Games in Melbourne, yali wa musanvu mu mmita 5000 . Kipsiro yatekebwa mu ssa ly'abaddusi amakumi asatu a basooka mu misinde emimpi ne gya mubunabyalo ku 2006 IAAF World Cross Country Championships. Wabula era yasobola okuwangula omudaali ffeeza mu misinde gya mmita 5000 era n'ogwa zaabu mu mmita 10,000 mu mpaka za 2006 African Championships in Athletics.[5]

Omwaka ogwaddako essira yaliteeka mu kuddukira mu kisaawe era n'akaza emisinde gya mmita 5000 n'akiikirira Uganda mu mizannyo gya Uganda at the 2007 All-Africa Games.[6] Mu mpaka z'emisinde eza 2007 World Championships in Athletics nga wayise omwezi gumu, y'asala akakoloboze oluvanyuma lwa Bernard Lagat ne Eliud Kipchoge okwewangulira omudaali gw'ekikomo ku mukolo ogwo. Yali wa kkuminabasatu mu 2008 IAAF World Cross Country Championships, naye naasemberera omudaali mu misinde gya 2008 Beijing Olympics nga y'amalira mu kifo ky'akuna mu mpaka z'abasajja ez'akamalirizo eza men's 5000 m final. Y'asobola okulinnya ku katuuti ku nkomekerero ya sizoni ya 2008 IAAF World Athletics Final, ng'atwala ffeeza mu mmita 5000.

Yadduka mu misinde gya World 10K Bangalore mu 2008 era n'amalira mu kifo eky'okubiri emabega wa Zersenay Tadese ne likodi ey'eddakiika 27:54.[7] Yaddamu oludduka olw'okubiri mu 2010, era n'amalira mu kifo eky'okubiri nga yawangulwa Titus Mbishei.[8]

Yawangulira mu kifo eky'okubiri mu mpaka z'amubunabyalo eza 2009 IAAF World Cross Country Championships, nga yamalira mu ddakiika 35:04.[9] Mu 2009 Super Grand Prix ng'asisinkana Herculis, yakolera Uganda likodi mu mmita 3000  yaziddukira mu ddakiika 7:30.95 .[10]

Emidaali gya zaabu gyeyafuna mu mizannyo gya Commonwealth[kyusa | edit source]

Sizoni ya Kipsiro mu 2010 yatandiika n'abuwanguzi mu 2010 IAAF World Cross Country Championships: Yawangula omudaali gw'ekikomo mu mpaka z'abasajja era n'akulembera ttiimu ya Uganda mu kifo eky'okutaano.[11] Okugezesebwa okulala kw'ajja mu mugwomusanvu mu mpaka za 2010 African Championships in Athletics, zeyawanguliramu omudaali gwa ffeeza mu mmita 10,000 emabega wa Wilson Kiprop.[12] Okusinzira ku buwanguzi obwo, yalondebwa okukiikirira Afrika mu mpaka za 2010 IAAF Continental Cup mu mmita 3000 ne mmita 5000 . Yawangulwa Bernard Lagat mu misinde gyonna, naye yasobola okuwangulira Afrika emidaali gya ffeeza ebiri.[13] Yalondebwa okudduka mu misinde gya mmita 5000 mu mizannyo gya 2010 Commonwealth Games mu kibuga kya New Delhi era omwezi ogwaddako yasanga okusoomozebwa munnaKenya trio. Wabula, Kipsiro yawamba ekifo nga akigya ku Eliud Kipchoge ng'afuuka kyampiyoni wa Commonwealth.[14] Kino y'akyolekeza n'obuwanguzi obw'okubiri mu mizannyo gya mmita 10,000 , nga yawangula Daniel Salel n'atwala omudaali gwa zaabu.[15]

Kipsiro mu misinde gya mmita 5000  2012 Summer Olympics.

Yawangula omulundi ogw'okuna ogw'omuddiringanwa mu misinde egy'amubuna byalo egya Ugandan Cross Country Championships mu gw'okubiri 2011, nga talina kutya kwonn okuva eri baddusi banne Stephen Kiprotich ne Geofrey Kusuro.[3] Wabula, Kiprotich yamukulembera mu mpaka za 2011 IAAF World Cross Country Championships, nga yamalira mu kya kkuminomu era ttiimu ya uganda newangula omudaali gw'ekikomo.[16] Sizoni ye eya 2011 yataataganyizibwa bweyalwala omusujja gw'ensiri ne Tayifoyidi.[17] Olw'obulwadde, yasubwa okwetaba mu mpaka za 2011 World Championships in Athletics, naye oluvanyuma yaddayo okukuuma engule ya mmita 5000 mu mizannyo gya 2011 All-Africa Games era nawangula omulundi ogw'okubiri. Yaddamu okudduka mu 2012 era namalira mu kya kusatu mu mpaka za Cross de Itálica.[18]

Emizannyo gya 2012[kyusa | edit source]

Kipsiro yakola likodi z'eggwanga bbiri mu mizannyo gya Birmingham Indoor Grand Prix, ng'adduka mmita 3000  mu ddakiika 7:37.40 nga tannaweza mayilo bbiri mu likodi ya ddakiika 8:08.16.[19] Kipsiro yamalira mu kya musanvu mu mpaka z'akamalirizo eza mmita 3000 mu 2012 IAAF World Indoor Championships. Mu liigi ya 2012 IAAF Diamond League yamalira mu kya kusatu mu mpaka za Doha ne London legs series, naye ate mu fayinolo y'empaka za mmita 5000 mu 2012 London Olympics yakomekkerera mu kya kkuminabataano. Mu mpaka ez'akamalirizo eza mmita 10,000 yakola bulungi era yamalira mu kifo kya kkumi.[20] Omwaka yaguwunzika n'obuwanguzi bw'eyafuna muSilvesterlauf Trier.[21]

Mu misinde gya 2013 IAAF World Cross Country Championships yamalira mu kifo kya kuna. Yakwata ky'akubiri mu misinde gya UAE Healthy Kidney 10K mu kibuga kye New York, era yawangula abaddusi babiri abaali banyikiddwa omwali Wilson Kipsang ne Haile Gebrselassie okusobola okuwangula mu mpaka za Manchester 10K.[22][23]

Ebikwata ku misinde gye yetabamu[kyusa | edit source]

 

Emisinde gye yawangula ng'omuntu[kyusa | edit source]

Distance Mark Date Location
1500 m 3:37.6 14 June 2008 Watford, United Kingdom
3000 m 7:30.95 28 July 2009 Monaco
5000 m 12:50.72 14 September 2007 Brussels, Belgium
10,000 m 27:04.48 22 June 2012 Birmingham, United Kingdom

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20200418121954/https://www.sports-reference.com/olympics/athletes/ki/moses-kipsiro-1.html
  2. http://www.iaaf.org/news/news/kipsiro-makes-it-three-in-a-row-at-ugandan-xc
  3. 3.0 3.1 http://www.iaaf.org/news/news/kipsiro-takes-fourth-straight-ugandan-xc-titl
  4. https://web.archive.org/web/20110629124118/http://www.iaaf.org/news/athletes/newsid=52477.html
  5. http://www.iaaf.org/athletes/uganda/moses-ndiema-kipsiro-188288
  6. http://www.africathle.com/perso/events/ALGER_2007/ALG_results.html
  7. http://www.iaaf.org/news/news/tadese-the-mens-10km-victor-while-abeylegesse
  8. http://www.iaaf.org/news/news/mbishei-yimer-the-surprise-winners-in-sunfeas
  9. http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/athletics/7968791.stm
  10. http://www.iaaf.org/news/news/kipsiro-the-standout-in-ugandas-berlin-line-u
  11. http://www.iaaf.org/news/report/joseph-ebuya-ends-kenyan-drought-mens-senio
  12. http://www.iaaf.org/news/news/kiprop-takes-mens-10000m-as-african-champions
  13. http://www.iaaf.org/news/report/event-report-mens-3000-metres
  14. http://news.bbc.co.uk/sport1/hi/commonwealth_games/delhi_2010/9067230.stm
  15. https://web.archive.org/web/20130407033049/https://www.puma.com/running/news/kipsiro-earns-second-gold-at-cwg
  16. https://web.archive.org/web/20110323003033/http://www.iaaf.org/wxc11/results/eventCode=4527/sex=M/discCode=XSE/combCode=hash/roundCode=f/team.html#det
  17. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1009104/moses-kipsiro-risked-death
  18. http://www.iaaf.org/news/news/kipsang-and-masai-reign-in-rainy-seville
  19. http://www.runblogrun.com/2012/02/2012-aviva-gp-mens-two-mile-eliud-kipchoge-wins-in-80739-mo-farah-takes-second-in-80807-new-british.html
  20. "Archive copy". Archived from the original on 2013-04-07. Retrieved 2022-11-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  21. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-31. Retrieved 2022-11-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  22. http://www.newvision.co.ug/news/643251-kipsiro-reigns-supreme-in-manchester.html
  23. http://www.nyrr.org/races-and-events/2013/uae-healthy-kidney-10k/race-story/komon-chases-record-wins-second-uae-healthy-kidney-10k-title

Ebijuliziddwamu ebiri wa bw'eru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

  • Moses Ndiema Kipsiro mu misinde gy'ensi yonnaFocus on athletes – munda mu kiwandiiko kya IAAF

Template:Footer All-Africa Champions 5000 m Men