Jump to content

Mourine Osoru

Bisangiddwa ku Wikipedia
Osoru Mourine

Mourine Osoru yazaalibwa nga 3 mu Gwekuminoogumu mu 1989, nga Munayuganda omubalirizi w'ebitabo ng'ate ali ku kakiiko akakola amateeka nga mu Gwokubiri mu 2022 yawerezaako ng'omubaka omukyala akiikirira ekibuga kya Arua mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[1][2][3] Yabeera mu kifo kyekimu mu Paalamenti ya Uganda eyekumi.[4] Mu byobufuzi alina akakwate ku kibiina kya National Resistance Movement nga beebaamuwa kaadi kweyagira okwesimbawo mu kulonda kwa bonna okwa 2016, n'afuna obuwanguzi, nga yali avuganya Christine Bako Abia.[5][6]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Osoru yazaalibwa mu Arua nga 3 Ogwekuminoogumu mu 1989 nga bazadde bbe ye Sabua Ajio ne Loyce Adiru.[6] Osoru alina Diguli mu Byokubala ebitabo n'okudukanya ebyensiimbi gyeyafuna okuva ku University of East London mu 2014. Okwongereza kuno yasomera ku Kisubi High School fgyeyatulira S4 wakati wa 2004 ne 2008 ne Forest Hill College e Mukono gyeyamalira S6 wakati wa 2009 ne 2010. Emikutu egimu gimuteeka kulukalala lw'abasomera ku St. Jude Nursery and Primary School[4] ate abalala balaga nti yaliko ku Kirinya Parents Primary School.[6][4]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Ng'ogyeyko okubeera ku kakiiko akakola amateeka okuva mu 2016, Osoru yali mubalirizi w'ebitabo mu 2010, oluvannyuma omumyuka w'omukwanaganya w'emirimu ku Ajio Sabua Enterprises okuva mu 2014 okutuuka mu 2015).[4]

Mu Paalamenti ya Uganda eyekumi, y'omu kubali ku kakiiko akalwanirira Eddembe ly'Abantu nga kwekuli n'Ekikula ky'Abantu, Emirimu n'Enkulakula y'Ebitundu.

Mu 2017, Osoru yalondebwa ku ky'okubeera Pulezidenti w'ekibiina ky'Ababaka ba Paalamenti abato abali mu kibiina kya Inter Parliamentary Union (IPU).[7][8][9][10]

Osoru yawambibwa mu 2016.[11]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebujuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.parliament.go.ug/sites/default/files/Members.pdf
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/osoru-mourine-10135/
  3. https://www.bukedde.co.ug/articledetails/103234
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=74
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-17. Retrieved 2024-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 6.0 6.1 6.2 https://observer.ug/lifestyle/53865-osoru-takes-on-youth-women-unemployment
  7. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1450061/mp-osoru-elected-president-global-youth-body
  8. http://www.sunrise.ug/news/parliament/201709/when-a-ugandan-legislator-was-elected-to-head-global-youth-body.html
  9. https://www.youtube.com/watch?v=pFKpNBeXl8Q
  10. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1535273
  11. https://www.monitor.co.ug/News/National/Woman-MP-kidnapped--assaulted/688334-3309128-fp11giz/index.html

Ewala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]