Mozdahir
Mozdahir (oba Mozdahir International Institute) - Mulufaransa eyitibwa Institut Mozdahir International oba IMI) kitongole kyobwananyini ekisangibwa mu Dakar, Senegal.[1][2]
Ebikulu ebikikwatako
[kyusa | edit source]Kiyina amatabi mu nsi za Africa ezenjawulo omuli Senegal, Mali, Ivory Coast, Guinea Bissau, Burkina Faso ne ensi endala. Mozdahir yatandikibwawo Cherif Mohamed Aly Aidara omukulembeze mu diini lya Shi'i mu Senegal. Ekitongole kino kikola emilimu gyenkulakulana mubintu ebyekwata kubyengyigirisa, ebyobulamu, ebyobulimi, ebyobutonde, okusimba emiti ne nenkozesa ya amanyi genjuba nga bakolagana nebitongole ebyamanyi ebyobwananyini nga World Food Programme.
Ekitebe kya Mozdahir ekikulu kisangibwa mu Dakar kumpi ne tendekero lya University of Dakar. Etendekero lyekitongole kino ekulu liyina eterekero lyebitabo, nebintu ebikozesebwa mubyemisomo. Mozdahir eyina akatabo kefulumya buli luvanyuma lwemyezi esatu, etera okutuuza enkungaana eyina nomukutu gwa redio eyitibwa Mozdahir FM 93.2 mu Guédiawaye mu Dakar nga ye redio yediini lya Shi'i yoka mu Senegal kubuliwo. Ekola emilimu gyenkulakulana mingi mu Casamance mumaselengeta ga Senegal kwotade nebitundu ebimu mubugwanjuba bwa Africa. Ekitongole kino kikwasaganya emilimu gyenkulakulana egyamanyi mu byalo omuli okusimba amatooke mu byalo nga Nadjaf Al Ashraf.
Ebikoledwa
[kyusa | edit source]Mubuliwo Mozdahir ezimbye:
- Lycées mu Bamako, Mali ne Ouagadougou, Burkina Faso.
- Ekifo ekilabilirwamu bamulekwa ekimanyidwa nga CAPE Maimouna Diao mu Kolda, Senegal.
- Esomero lyobwananyini erimanyidwa nga Al Mahdi mu Kolda Senegal.
- Ekkungaaniro lyobuyisilamu mu Bafatá, Guinea.
- Ekifo kyebyobuwangwa mu Vélingara, Senegal.
- Esimbye ebibira mu kitundu kya Kolda nekitundu kya Thiés mu Senegal.