Mugisha Muntu

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Gregory Mugisha Muntuyera, nga asinga kuyitibwa Mugisha Muntu (yazalibwa mu Gwomwenda 1958), munnabyabufuzi wa Uganda era omusirikale wa magye eyawummula. Ye Pulezidenti w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Alliance for National Transformation (ANT), ekibiina ky'ebyobufuzi eky'atandikibwawo mu Gwokusatu 2019. Yaweerezaako nga Pulezidenti w'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), ekibiina ky'ebyobufuzi ekivuganya Gavumentian, okuva mu 2012 okutuusa mu 2017. Mu Gwomwenda 2018, General Muntu yayawukana okuva ku kibiina kya FDC ng'entabwe y'ava ku butakaanya wakati we n'omukulembeze wa FDC omugya Hon.Patrick Oboi Amuriat. Nga 27 Ogwomwenda 2018 y'alangirira mu lukiiko lw'abannamawulire omwali n'aba telefayina nti ye wamu n'abakulembeze abalala baali batandisewo ekisinde oluvanyuma eky'afuuka ANT.

Yaweerezaako ng'omudumizi w'amagye, ekifo eky'awaggulu mu magye ga Uganda, okuva mu 1989 okutuusa mu 1998. Eggye lya National Resistance Army bwe ly'akyusibwa okufuuka Uganda People's Defence Forces (UPDF), General Muntu y'afuuka omuduumizi wa UPDF.

Mu 2008, teyasobola kuwangula kifo ky'obwapulezidenti wa FDC mu lw'okaano lw'eyalimu ne Kizza Besigye[1] naye oluvanyuma yalondebwa ku bwa Pulezidenti w'ekibiina mu 2012.

Ye mutandisi era pulezidenti w'ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT)[2]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Mugisha Muntu yazalibwa mu Gwekkumi 1958[3] mu kyalo ky'e Kitunga nga mu kiseera kino kyafuuka Ntungamo District, Ankole sub-region, Buggwanjuba bwa Uganda, eri Enock Ruzima Muntuyera ne Aida Matama Muntuyera.[4] Obuto bwe bw'amwanguyira olw'ensonga nti kitaawe yali muweereza wa Gavumenti ow'amaanyi era ow'okulusegere lw'eyali omukulembeze wa Uganda Milton Obote. Yasomera ku Mbarara Junior School, Kitunga Primary School ne Kitunga High School. (Kitunga High School oluvanyuma yatuumibwa Muntuyera High School, ng'ekijjukizo kya kitaawe.) Muntu era yasomera ku Makerere College School era oluvanyuma yatikkirwa mu ssomo lya political science okuva ku ssetendekero wa Makerere University, ng'eno yali mumyuka wa pulezidenti w'ekibiina ky'abayizi.

Emirimu gyeyakola mu magye[kyusa | edit source]

Muntu yegatta ku ggye ly'omunsiko erya National Resistance Army ekya Yoweri Museveni olunaku lw'eyamaliriza ebigezo bye ebya Yunivasite ekintu eky'anyiiza ennyo ab'eŋŋanda ze saako ne Pulezidenti Obote eyali amutwala nga mutabani we.[5] Mu bwangu ddala nga y'akeggata ku bayekera, yakubibwa essasi mu kifuba wabula y'awona oluvanyuma lw'okufuna obujjanjabi mu Kampala. Oluvanyuma yafuulibwa omukulu w'ekitongole ky'amagye ekikesi oluvanyuma lw'obuwanguzi bwa NRA mu 1986. Mu kitongole ky'amagye ekikessi, y'alina abantu baali wansi w'obuduumizi bwe nga Paul Kagame, ng'ono oluvanyuma yafuuka pulezidenti wa Rwanda.[6]

Muntu yatwalibwa okwongera okutendekebwa mu magye mu Russia nga tannafuuka muduumizi wa Divizoni y'omu Bukiika kkono bwa Uganda. Yalinyisibwa ku mutendera gwa Maj. Genero mu ggye lya UPDF. Okukuzibwa kwe okw'amangu tekwakolebwanga awatali kumanyisibwa kw'abasirikale abakulu mu magye ga Uganda. Oluvanyuma yali w'akuweereza ng'omuduumizi wa UPDF. Ekifo ekyo oluvanyuma kyakyusibwa nekifuulibwa Omuduumizi w'eggye ly'eggwanga erya UPDF. Ng'omuduumizi w'eggye, y'alabirira okusuulibwa kw'ebitundu ebimu okuva mu magye. Abalabi baakinogaanya nti okulinyisibwa kwa Maj. Gen. Muntu okwamangu mu NRA/UPDF kw'ava ku nkola ye ng'omusirikale omwelufu era n'obuwulize eri Pulezidenti wa Uganda. Obuwulize bwe bwasasulwa n'abuwagizi okuva eri Pulezidenti mu kaseera k'ennyombo ezaali ziliwo wakati wa Muntu n'ebiwayi by'amagye eby'ali bimuvunaana olw'okugezaako okubigyawo. Mu bano mwalimu abasirikale abaali bagambibwa 'abataasoma'nga bano bakulemberwamu Maj. Genero James Kazini. Muntu yavunaanibwa olw'okutandikawo enjawukana mu maggye nga yasukkulumya nga abasirikale abaali basoma ate nga abataasoma abazza ku bbali.

Byatuseeko mu kisaawe ky'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Muntu yali mmemba mu Kakiiko akaali kalondebwa okukyusa Ssemateeka mu Paalamenti ya (1994–1995). Oluvanyuma lw'obutakkiriziganya n'ankola ya Museveni eri eby'obufuzi n'amagye, yagyibwa ku bw'omuddumizi w'amagye era nalondebwa ku bwa Minisita ekifo ky'eyagaana mu mirembe.[7] Mu Gwekkuminogumu 2001, yalondebwa ba mmemba ba Paalamenti ya Uganda okuweereza ng'omu ku bantu omwenda abaali bakiikiridde Uganda mu lukiiko lwa Paalamenti y'omukago gwa East Afrika ogwa East African Legislative Assembly (EALA).[8]

Nga 21 Ogwekkuminogumu 2020, Muntu, wamu n'abaali besimbyewo ku kifo ky'obukulembeze Bobi Wine, Henry Tumukunde, Norbert Mao, ne Patrick Amuriat Oboi, bakkiriziganya okukola omukago ogw'awamu.[9]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Okuva mu 1992, abadde mufumbo eri Julia Kakonge Muntu. Balina omutabani omu nga yazalibwa mu 1993, n'omwana ow'obuwala nga yazalibwa mu 1996.[10]

Laba n'abino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/muntu-asks-for-trust-promises-victory--2729496
  2. https://www.independent.co.ug/muntu-unveils-alliance-for-national-transformation-leadership/
  3. https://www.eala.org/index.php?/eala-members/view/maj.-gen.-rtd-muntu-mugisha-o
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/who-is-maj-gen-mugisha-muntu--1780682
  5. https://www.independent.co.ug/open-letter-gen-mugisha-muntu/
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-05-25. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.newvision.co.ug/D/8/17/474407/Mugisha%20Muntu
  8. http://www.newvision.co.ug/D/8/13/517625/Mugisha%20Muntu
  9. https://www.independent.co.ug/presidential-candidates-join-forces-to-deal-with-police-brutality/
  10. http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/The-Muntu-you-did-not-know/-/691232/1645342/-/oba9ekz/-/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:S-mil Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:End