Jump to content

Muhammad Nsereko

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Muhammad Nsereko
Mubaka mu lukiiko lw'eggwanga ku bwa namunigina, ng'akiikiridde Kamplala ey'amasekkati okuva mu 2011.Munnamateeka era ng'akozeeko ne kampuni y'amateeka eya Nsereko and Mukalazi.Yaliko ssentebe w'akakiiko k'ebyettaka aka Kampala ey'amasekkati Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamusajja Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga25 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1981 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waKampala Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, munnamateeka Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raSsettendekero wa Makerere, Essomero lya Kibuli Sekendule Kyusa Wikidata
GyabeeraKampala Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)2005 Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa Wikidata

Muhammad Nsereko (yazaalibwa nga 25 Ogwomunaana 1981) Munnayuganda nga munnabyabufuzi era munnamateeka. Ye pulezidenti w'ekibiina kya Ecological Party of Uganda(EPU) era yali mubaka wa paalamenti atalina kibiina, eyakiikirira Kampala Central Division constituency okuva mu 2011.[1][2][3]

Obuto n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 25 Ogwomunaana mu 1981. Yasomera ku "Buganda Road Primary School" eby'enjigiriza bye ebisooka, n'amaliriza 1995. Oluvannyuma yagenda ku Kibuli Secondary School, gy'eyamaliriza S4 mu 1999. Ate S6 n'agisomera ku "Kawempe Muslim Secondary School", gy'eyamala mu 2002.[4]

Mu 2005, yattikirwa ne dipulooma mu by'amawulire, okuva ku ttendekero lya "International Institute of Business and Management Studies" (IIBMS). Mu mwaka ogwaddako, yattikirwa ku yunivasite y'e Makerere, ne diguli mu by'amateeka. Mu 2007 n'aweebwa dipulooma mu by'okwenyigira mu by'amateeka okuva ku ttendekero lya Law Development Centre.[4]

Nsereko mukugu era looya omuwandiise ng'era y'omu ku bammemba b'ekibiina ekiyitibwa Uganda Bar. Yakolerako mu kibiina ekigatta ba looya ekya "Nsereko, Mukalazi and Company Advocates", okuva mu 2007. Yawerezaako nga ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'ettaka mu masekkati ga Kampala okuva mu 2006 okutuuka mu 2010.[4]

Omulimu gw'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Nsereko yeesimbawo okuvuganya ku kifo kya Kampala Central Division constituency ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), n'awangula.[1] Mu paalamenti ey'omwenda, (okuva mu 2011 okutuusa mu 2016), yatandika okuvumirira engeri NRM gy'eyali efugamu eggwanga. Yanokolayo ebintu eby'enjawulo by'eyali takkiriziganya n'abyo we kyatuuka ku kibiina kino, omwali (a) okukyusa ekibira ky'e Mabira batandike okukirimiramu ebikajjo (b) okuggyawo eky'okuta abantu ku kakalu ka poliisi ku misango egimu (c) yayolesa obukyayi eri obuli bw'enguzi mu kibiina ekiri mu buyinza (d) yavumirira eky'abavubuka b'eggwanga okubeera nga tebalina mirimu (e) yawagira eky'okukomyawo ekkomo ku bisanja ku ntebe y'obwa pulezidenti ekyagibwawo mu 2005.[5]

Okugyeema kwe eri ekibiina kya NRM, kyamuviirako okugobwa mu kibiina kino mu Gwokuna mu 2013, ng'ali wamu n'abakiise ba palamenti abalala basatu. Bano batuuka okuyitibwa ''abakiise abayekera''.[6] Mu Gwomwenda 2013, kkooti etaputa ssemateeka yategeeza ku kawayiro 4–1, ng'ababaka abana webaalina okuva mu palamenti, mpaka nga kkooti y'emu esazeewo oba basigale.[6] Oluvannyuma lw'ennaku ssatu, nga 10 Ogwomwenda 2013, kkooti enkulu n'etegeeza mu kawaayiro 6–1 nti abakiise bano basigale mu paalamenti okutuusa nga kkooti etaputa ssemateeka emaliriza okusalawo kwayo oba basigale.[6] Oluvannyuma nga 12 Ogwokubiri mu 2014, kkooti etaputa ssemateeka yakisalawo nti ababaka abana baalina okwamuka paalamenti.[6] Okusalawo kuno kwakyusibwa kkooti enkulu nga 30 Ogwekumi mu 2015, nga wano Nsereko ne banne webaddira mu paalamenti nga tebalina kibiina kya byabufuzi kye beesimbyemu.[7][8]

Muhammad Nsereko yaddamu n'alondebwa mu paalamenti ey'ekkumi okuva mu 2016 okutuuka mu 2021, nga yali talina kibiina kyajjiddemu ng'era ye mukulembeze awakanya enkyukakyuka mu nnongosereza mu ssemateeka n'okuggyawo ekkomo ku bisanja ku ntebe y'obwa pulezidenti.[9]

Nsereko yali omu ku abo abaali beesimbyewo ku bwa pulezidenti abaalemererwa okusunsulwa okuvuganya ku bwa pulezidenti ng'akiikirira The Ecological party of Uganda mu kulonda kwa bonna okwa 2026.[3]

Ebijuliriziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2017-10-11. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. ↑ Archives, Author (2026-07-11). "WHO REPLACES WANGADYA? Inside the race for Uganda Human Rights Commission top job as four heavyweight lawyers namely Katuntu, Ns". The Investigator News (in American English). Retrieved 2026-07-24. {{cite web}}: |first= has generic name (help)
  3. 1 2 "Muntu, Munyagwa, Nsereko, Kabuleta stranded as presidential nominations near deadline". Monitor (in Lungereza). 2025-09-23. Retrieved 2026-07-24.
  4. 1 2 3 http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=188
  5. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-26. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 1 2 3 4 http://www.monitor.co.ug/News/National/-Rebel--MPs-thrown-out-of-Parliament/688334-2216438-146yufiz/index.html
  7. ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Jubilation-court-re-instates-rebel-MPs/688334-2936046-67w2ji/index.html
  8. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-03-08. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-12-19. Retrieved 2021-08-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]