Jump to content

Muhammad Ssegirinya

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ssegirinya Muhammad.jpg

Muhammad Ssegirinya (yazaalibwa mu Ogwokubiri 22, 1988 n'afa nga 9 Ogwolubereberye 2025) yali mubaka mu Palamenti ow'oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti ya Uganda ng'akiikirira Kawempe ey'omubukiikakkono.[1]

Ebimukwatako n'eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu 1988 mu Butale, Kadugala, mu disitulikiti y'e Masaka, mu Uganda. Yasomera ku Pimbas secondary school gyeyatuulira S4 ne S6, oluvannyuma n'atikirwa ne dipulooma mu by'amawulire okuva kutendekero lya Datamine Technical Business School ne diguli ey'okubiri mu bya sayaansi gyeyagya okuva ku Musa Body University.[2]

Obumannyirivu mu kukola

[kyusa | kolera mu edit source]

Ssegirinya munamawulire omukugu era omukiise mu palamenti ya Uganda. Yawerezaako nga kansala mu kitongole ekidukanya emirimu gy'ekibuga Kampala ekya ng'akiikirira abantu ba Kyebando okuva mu 2016 okutuusamu 2020.[3]

Obulamu bwe mu by'obuufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2011, Ssegirinya yeesimbawo ku ky'entebbe y'okukiikirira Kawempe y'omubukiika ddyo, wabula nebamuwangula. Yeesimbawo mu kamyuufu ka 2016 ak'ekibiina kya Forum for Democratic Change okulaba ani anaaba kiikirira mu palamenti ku lwa Kawempe ey'omubukiika ddayo, wabula nebamuwangula. Yeesimbawo ku kifo ky'obwa kansala akiikirira Kawempe ey'obukiika ddyo ku kitebe kya KCCA ekya Kampala city hall era n'awangula.[3]

Mu 2021, Ssegirinya yeesimbawo mu konsitituweensi ya Kawempe ey'obukiika ddyo ng'ali ku tikiti y'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya National Unity Platform (NUP), n'awangula.[4] Obuwanguzi bwe bwawakanyizibwa nnyo ou kubeyali avuganya nabo mu kkooti z'amateeka, naye oluvannyuma nebakusazaamu era kkooti n'emulangirira ng'omuwanguzi.[5][6][7]

Okukwatibwa, okutulugunya n'okujanjabibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 3 Ogwomwenda 2021, Ssegirinya yayitibwa poliisi ya Uganda okugenda mu maaso g'ekitongole ekikola ku by'okunoonyereza ku buzzi bw'emisango annyonnyole ku byali bigambibwa nti yeenyigira mu kutemula abantu mu bitundu by'e Masaka.[8][9][10][11]

Nga 7 Ogwomwenda 2021, kkooti enkulu ey'e Masaka yamusindika ku alimaanda n'emisango enna, esatu nga gyabutemu, ogumu nga gwa kwagala kwenyigira mu butemu.[12][13][14][15] Yali mu kkomera ly'e Kitalya.[16][17]

Obukakafu eri okulumiriza kuno tebwaletebwa. Kyali kikirizibwa nti Ssegirinya ne Ssewanyana baali bakwatiddwa olw'okubeera abakiise abasinga okumannyikwa mu kuwakanya gavumenti.[18] Ne mu 2005, abakiise abalala babiri baakwatibwa nga babalumiriza mungeri etaali ntuufu era oluvannyuma nebateebwa.[19] Nga 13 Ogwokubiri mu 2023, ababbiri bani bateebwa ku kakalu ka poliisi. Nga 10 Ogwomunaana mu 2023 Ssegirinya yatuuka e Budaaki gyeyali mu kufunira obujanjabi mu ddwaliro lya AMC mu kibuga Amsterdam olw'ebiwundu byeyafuna olw'okutulugunyizibwa.[20] Nga 9 Ogwolubereberye 2025 Muhammad ssegirinya yafiira mu ddwaliro e Lubaga mu kampala[21]

Ebijuliriziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://observer.ug/lifestyle/68348-here-s-muhammad-ssegirinya-s-plan-for-that-shs-321m-car-cash
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-23. Retrieved 2024-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/ssegirinya-a-radio-caller-who-had-his-sight-on-parliament--3234452
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mp-elect-ssegirinya-further-remanded--3354066
  5. https://www.independent.co.ug/court-dismisses-petition-against-ssegirinya/
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-dismisses-poll-petition-against-mp-ssegirinya-3541348
  7. https://chimpreports.com/mp-muhammad-ssegirinya-wins-election-petition/
  8. https://www.independent.co.ug/mps-ssegirinya-ssewanyana-summoned-over-masaka-killings/
  9. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/masaka-murders-police-summon-mps-muhammad-ssegirinya-and-allan-ssewanyana--3536938
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-21. Retrieved 2024-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://observer.ug/news/headlines/70932-court-issues-criminal-summons-against-ssegirinya
  12. https://www.bbc.com/gahuza/amakuru-58479554
  13. https://www.reuters.com/world/africa/uganda-charges-lawmakers-allied-opposition-leader-with-murder-2021-09-07/
  14. https://www.africanews.com/2021/09/07/uganda-charges-opposition-mps-over-machete-killings/
  15. https://www.thecitizen.co.tz/tanzania/news/east-africa-news/uganda-charges-opposition-mps-over-killings-3542444
  16. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mps-ssegirinya-ssewanyana-charged-with-murder-remanded-3541640
  17. https://nilepost.co.ug/2021/09/07/mps-ssewanyana-ssegirinya-remanded-over-masaka-murders/
  18. https://www.nrc.nl/nieuws/2021/10/03/critici-museveni-verder-vervolgd-2-a4060557
  19. https://observer.ug/news/headlines/71205-why-state-slapped-murder-on-ssegirinya-ssewanyana
  20. https://www.nrc.nl/nieuws/2023/08/27/gemarteld-in-oeganda-herstellen-in-het-amsterdamse-amc-a4172851
  21. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mp-muhammad-ssegirinya-dies-t-37-4883142

Ebiwandiiko ebirala ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]