Jump to content

Mustafa Adrisi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mustafa Adrisi Abataki ( c. 1922 – 28 Ogwomusanvu 2013) yali muserikale mu magye ga Uganda eyaweereza ng’omumyuka wa pulezidenti wa Uganda ow'okusatu okuva mu 1977 okutuuka mu 1979 era nga y’omu ku baali ku lusegere lwa Pulezidenti Idi Amin. Mu 1978, oluvannyuma lwa Adrisi okulumizibwa mu kabenje k’emmotoka akaali kateeberezebwa okuba akaluke, amagye agaali gamuwuliriramu gaatandika okujeema. Amin yasindika amagye okulwanyisa abo abaali bajeemye nga abamu ku bbo baali basaze ensalo ya Tanzania, nga kiyinzika okuba nga kye kyaviirako lutalo wakati wa Uganda ne Tanzania . [1] Olutalo lwa Uganda bwe lwagwa, Adrisi n’addukira e Sudan gye yakalambirira okusigaza ekifo ky’omumyuka wa Pulezidenti. Y'enyigira mu mirimu gy’abayeekera egy’ekibiina kya Uganda National Rescue Front okumala akaseera katono nga tannadda mu buwanganguse mu 1987. Yalwanagana n’ebizibu by’ebyobulamu mu bulamu bwe obw’oluvannyuma n’afa mu 2013.

Obulamu bwe obw'obuto

[kyusa | edit source]

Mustafa Adrisi yazaalibwa mu kika kya Picara mu Aringa ethnic group mu Disitulikiti y'e Yumbe, Uganda. Yakkirizibwa mu ssomero lya Lodonga Demonstration Primary School mu Lodonga. Oluvanyuma lw''okumaliriza ekibiina eky'okuna, abamisani abaali batwala essomero bagezaako okumukyusa eddiini okuva mu Busiiramu okufuuka omukulisitaayo era n'ebamuwa elinnya erya Christopher. Adrisi yasalawo okuleka eby'emisomo era teyagimaliriza.[2] N'olwensonga eyo, teyafuna buyigirize bumala.

Adrisi yalina abakyala abasukka mu omu era nga mu bulaamu bwe bwonna, yawasa abakyal munaana era yazaala abaana abawerako newankubadde mu kaseera w'eyafiira yali yayawukana ne bakyala be omusanvu nga abamu baafa.

Emirimu gye mu Magye

[kyusa | edit source]

Mu 1951 Adrisi yagattibwa ku Ggye lya King's African Rifles. yatendekebwa mu Nanyuki, Kenya Colony. Mu myaka gye egyasooka mu buweereza bwa magye, Adrisi yafuna ettaka mu Keri, Disitulikiti y'e Koboko, Uganda. Mu 1952 yalinyisibwa n'ateekebwa ku ddala lance corporal. Oluvanyuma lw'okutendekebwa ennyo n'okwetaba mu kukkakanya olutalo lw'abayeekera olwa Mau Mau Rebellion mu Kenya, yalinyisibwa n'ateekebwa ku eddala lya corporal. Oluvanyuma lw'okufuna ejjinja lya sergeant major, yegatta ku ssomero elitendeka abapoliisi elya police cadet school mu Entebbe, Uganda. Ng'ali mu luwummula, yalinnyisibwa ku ddaala lya lieutenant.[3] Nga 1 Ogusooka 1967 Gavumenti ya Uganda ng'egenderera okusiga empisa mu Bannamagye, yatandikawo poliisi y'amagye era nga ekiragiro yakikwasa Adrisi ne Lutenanti ow'okubiri. Oluvanyuma lwokutendekebwa Abayizirayiri, yafuulibwa Kaputeeni. Ngayise emyaka, yaweerezaako nga omuduumizi ow'okubiri mu Balaakisi y'e Mbarara barracks ne ku kitebe ekikulu eky'e Mbuya, era ng'awereza nga omuduumizi wa Poliisi[3] era ng'omusirikale addumira amagye ga Malire.

  1. http://lcweb2.loc.gov/frd/cs/ugtoc.html
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1340661/mustafa-adrisi-life-exile
  3. 3.0 3.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named butagira