NBS Television (Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox television channel

NBS Television Mukutu gwa televizoni ya Uganda ogutwalibwa Next Media Services. Ekitebe ky'ayo ekikulu kisangibwa ku Next Media Park, Poloti 13, oluguudo lwa Summit View, Naguru, Disitulikiti y'eKampala.[1]

Ebyafaayo by'ayo[kyusa | edit source]

Olugero lwa Next Media Services lw'atandiika oluvanyuma lw'okutandikawo NBS televizoni eyali ey'okutandika okuweereza ku mpewo nga 16 Ogwomukaaga 2008, lw'eyawandisibwa era nefuna layisinsi nga balina ekyuma kimu kikalimagezi (transmitter) n'ekitebe ky'ayo nga kiri ku Media Plaza mu Kamwokya, ku ngyegoyego z'ekibuga Kampala. Okutandikibwawo kwa televizoni eno kwayoleka akabonero akokutandikawo Kkampuni endala omw'ali Sanyuka TV, Salaam TV (ng'ebilagibwa bisinzira ku nzikiriza y'oBuyisiraamu), Nile post (olupapula lw'okumutimbagano), Next Radio, ne Next Conference Centre ( ekifo ky'emikolo), Next Productions ne Next Communications. Ekibiina ky'ajaguza anivasale y'akyo ey'omulundi ogwekkumi mu mwezi Gwomukaaga 2018 era oluvanyuma basengukira ku Media Park, ekyali ekitebe ky'eyali emanyikiddwa nga WBS TV.[1] NBS elina abantu abaweereza ku mpewo ab'enkizo era abamanyikiddwa omuli Joseph Kigozi; akulira enteekateeka, engeli wamu n'ebigendererwa bya Kkampuni , Canary MugumeRukh-Shana Namuyimba, ne Solomon Serwanjja ng'omusomi w'amawulire. Omu ku bakyala ab'enkizo bannamawulire mu Buvanjuba bwa Afrika, Joy Doreen Biira, naye yali muweereza.[2]

Kkampuni eno emanyikiddwa nnyo mu kussa essira mu by'obufuzi, ekyaviirako enjogera eya “Entabiro y'ebyobufuzi”. Sitesoni elina emu ku pulogulaamu ey'ebyobufuzi ennene mu Ggwanga eya Frontline eragibwa buli Lwakuna lwa wiiki ekiro era nga eleeta abakulembeze ab'enjawulo okuva mu bibiina by'obufuzi eby'enjawulo ne Barometer eno nga y'amuLuganda era nga eragibwa buli Lwakubiri ekiro.[2]

NBS era elina pulogulaamu ezikwata ku bya bizinensi, filimu, ebyemizannyo, eby'abavubuka n'ebisanyusa ebirala.

Televizoni y'abwe ey'oluganda eya Sanyuka eraga pulogulaamu omuli Startimes Uganda Premier League ne pulogulaamu enyumira ennyo abavubuka eya Uncut era ng'eno eragibwa ne ku NBS.[3]

Abakozi baayo ab'enkizo[kyusa | edit source]

Canary Mugume[kyusa | edit source]

Canary Mugume munnamawulire wa Uganda era omunonyereza akola ne NBS Televizoni era nga mmemba mu Léo Africa Young Emerging Leaders Program. Obuweerezaabwe mukunoonyereza bwekuusa nnyo ku nsonga ezifa mu Ggwanga, okugootana kw'ebyenfuna, n'ensonga z'abantu ba bulijjo era kino ky'amuleetera okulinyisibwa eddala era asoma amawulire ga bulletin Live @ 9 agasinga okulabibwa wamu ne Isabella Tugume ku lusooka 2 Ogwomunaana 2021.

Samson Kasumba[kyusa | edit source]

Samson Kasumba musumba wa Uganda, musasi w'amawulire. Akola ne NBS Televizoni naddala ku pulogulaamu ya live at 9.

Yasooka kuweereza ku Urban TV Uganda nga tannaba kwegatta ku NBS Televizoni mu 2016. Era yali omu ku kakuyege wa Topowa owa CCEDU, ttiimu y'abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu mu kaseera k'okulonda kwa wamu okwa 2016. Yakwatibwa olw'okugyemera ebiragiro bya Gavumenti ebyali by'atekebwawo okutangira okusaasana kw'ekirwadde ki lumiima mawugwe ekya COVID-19.

Solomon Serwanjja[kyusa | edit source]

Solomon Serwanjja mmunnamawulire wa Uganda omunoonyereza era omusasi w'amawulire wa NBS Televizoni. Mu 2019, Serwanjja yaweebwa awaadi ya Komla Dumor Award, awaadi y'omwaka etegekebwa aba BBC "eri omuntu anywedde mu banne akendo mu kubeera era n'okukola mu Afrika ng'agatta wamu obukugu bw'okusaka amawulire, okuweereza, n'ekitone eky'enjawulo mu kunyumya emboozi z'Afrika n'okwagala okungi n'ekigendererwa eky'okufuuka omututumufu mu biseera by'omumaaso."

Mildred Amooti Tuhaise[kyusa | edit source]

Mildred Amooti Tuhaise munnayuganda era musasi w'amawulire ku [./Https://en.wikipedia.org/wiki/NBS%20Television NBS Televizoni].

Rukh-Shana Namuyimba[kyusa | edit source]

Rukh-Shana Namuyimba munnayuganda omukugu muu by'empuliziganya, musasi w'amawulire, era omu kubatandisi ba Xfinity Communications, Ltd. Y'akolako nga omusasi w'amawulire owa NTV Uganda nga tannegata ku NBS Televizoni.

Dalton Kaweesa[kyusa | edit source]

Dalton Kaweesa munnamawulire omunoonyereza ng'alina ekiluyi ku by'kwelinda n'obweguguungo. Mukugu mu kuweereza eby'obufuzi n'ebikwata ku by'enfuna. Nga tannegatta ku ttivvi, yali akolera mu kufulumya mawulire. Amagezi ge ku byafaayo by'ebyobufuzi era okwewaayo kwe kw'amusobozesezza okulinnya eddala mu mawulire n'afuuka akulira okuwandiika amawulire (NBS's Chief News Editor). Era yakolako nga omumyuka w'omuwandiisi w'amawulire mu kitongole ky'ekimu.

Abaweereza b'okumpewo abamanyikiddwa[kyusa | edit source]

Abaweereza abaaliko[kyusa | edit source]

Pulogulaamu ez'enkizo ezimanyikiddwa[kyusa | edit source]

  • Kyaddala, 2019
  • The Campus, 2016
  • NBS Live at 9
  • NBS Amasengejje
  • NBS After 5
  • NBS Frontline
  • NBS Barometer
  • Startimes Uganda Premier League (Sanyuka TV)
  • Uncut and Uncut Sabula (NBS Television & Sanyuka)

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://thetowerpost.com/2019/11/30/nbs-tv-set-to-shift-to-former-wbs-offices-in-naguru/
  2. https://www.showbizuganda.com/nbs-television-launches-state-of-the-art-studio-ahead-of-2021-polls/
  3. https://nilepost.co.ug/2021/09/30/third-edition-of-the-nbs-tvs-housing-baraza-launched/

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]