Nabulya Theopista Ssentongo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Nabulya Theopista Ssentongo (yazaalibwa nga 14 Ogwokubiri 1951) yali munnabyabuuzi wa Uganda mu Paalamenti ey'omunaana ne y'omwenda. Yali akiikirira abakozi n'ekibiina kya National Resistance Movement.

Emirimu gye egy'obufuzi[kyusa | edit source]

Yalondebwa nga omukiise w'abakozi era yaweereza mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana n'eyomwenda wansi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya NRM.[1][2][3][4] Yali omu ku ba mmemba abataano abalondebwa ku kakiiko k'eyali sipiika wa Paalamenti Rebecca Kadaga okumalawo eby'ali byogerebwa ku busosoze n'engeri etali y'abwenkanya mu kuwa emirimu mu kitongole kya NSSF, okufuna emigabo egitali mu butuufu mu UMEME, ensaasanya y'ebintu bya NSSF n'ensonga endala ez'ekuusa ku bukulembeze bwa NSSF.[5] Okunoonyereza ku NSSF kwakulemberwa eyali Ssentebe wa Disitulikiti y'e Masaka era MP w'oBuvanjuba bwa Kalungu, Vincent Bamulangaki Ssempijja (atalina kibiina).[5] Yayambibwako MP wa Kalungu ey'Obuggwanjuba Joseph Ssewungu (Democratic Party), Ann Maria Nankabirwa (NRM, Kyankwanzi Woman), Alex Ruhunda (NRM, Fort portal Municipality) ne Theopista Nabulya Ssentongo (Workers representative for NRM).[5] Mu 2014, abaali abakozi b'ekitongole ky'ebyempuliziganya ekya Uganda Telecom Limited beekubira enduulu eri Paalamenti era okwemulugunya kwabwe kwayanjibwa Nabulya.[6] Kino kyava ku kkampuni eno okuggyawo ebirungi ebyongerezebwa ku musaala eri abakozi bano ne bifiirwa emirimu gyabwe kw'ossa ebyo bye bandibadde bafuna nga bawummudde okukola.[6] Ali ku ddaala lya waggulu nnyo erya A mu nkola ye ey'omu bukiiko bwa Paalamenti.[7] Y'omu ku babaka abaakyalira Paalamenti ya Pan African Parliament okutegeera bw'eddukanyizibwa naddala ku ky'okukuuma eddembe ly'obuntu mu Africa.[8]

Ebirala ebimukwatako[kyusa | edit source]

Mu 2003, yategeeza Paalamenti nga bwe yali asimattuse okukakibwa omukwano mu maka ge eg'e Namasuba, okuliraana ekibuga Kampala ng'omusajja Omusudani ye yali agezaako okukimutuusaako.[9] Ono yategeeza Paalamenti nti n'omukozi we yali yakwatibwa akabinja k'avubuka be bamu ke yagamba nti kaalina ebissi.[9] Omusango yagwongerayo ku poliisi kyokka tewali kya maanyi kyakolebwa nti poliisi yalemererwa okukwatayo omuntu n'omu.[10] Okutuuka okwogera ku nsonga eno, Paalamenti yali eteesa ku kiteeso kya Ssaabaminisita wa Uganda eky'okuzzaayo Abasudan mu bitundu bya West Nile.[10] Oluvannyuma lw'olutuula lwa Paalamenti luno, eyali omumyuka asooka owa Ssaabaminisita wa Uganda, Lt Gen. Moses Ali n'asaba Nabulya nti amusisinkane.[10]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://ugandaradionetwork.net/story/bakabulindi-bounces-back-pajobo-edged-out
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-15. Retrieved 2023-04-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://everypolitician.org/uganda/parliament/term-table/9.html
  4. https://www.dembefm.ug/amawulire/mwongeze-abasomesa-emisaala.html
  5. 5.0 5.1 5.2 "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-25. Retrieved 2023-04-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 6.0 6.1 https://techjaja.com/uganda-telecom-limited-utl-dragged-to-parliament-by-former-employees/
  7. https://www.independent.co.ug/still-need-youthworkers-army-mps/
  8. http://howwebiz.ug/news/politics/11916/human-rights-committee-visits-pan-african-parliament
  9. 9.0 9.1 https://allafrica.com/stories/200309120226.html
  10. 10.0 10.1 10.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1260546

Ebijuliziddwaamu ebiri wabweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]