Nabuzimbe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nabuzimbe(Matter)

Nabuzimbe(matter) oba endagabuzimbe era oyinza okugamba nti kiva mu bigambo by'oluganda "nakazaala bw'obuzimbe bw'ekintu". Nakazaala w'obuzimbe bwa buli kintu ye nabuzimbe(matter).

Nabuzimbe(matter) ky'ekyo ekibugaana ekibangirizo ate nga kirina enzitoya(mass) n'obuzito(weight). Nambuzimbe ebeera mu mbeera 5:

(a) Embeera ey'Enkalubo(solid state) (b) Embeera eya kakulukusi oba ekikulukusi(Liquid state) (c) Embeera ey'omukka oba ggaasi(Gas state) (d)Embeera ey'ejjengerero(Plasma State) (e) Embeera ey'oluzira(Bose Einstein State)