Najibu Kivumbi
Al-Hajji Najibu Kivumbi (muzzukulu wa Kisolo) munnamawulire omukukuutivu, ayogerwako okutandika mu Yuganda pulogulaamu y'okunoonyereza (Ssaawa 24), oluvannyuma n'egenda nga esaasaanira emikutu emirala, mu kusoosootola ebifa emitala w'amayanja.
Ng'omu ku mikwano gya munnamawulire era munnabyabufuzi Kazibwe Bashir Mbaziira bwe baali abakozi ku laadiyo emu,[1] Kivumbi ayogerwako ng'omu ku bannamawulire abayivu, nga ne gyebuli eno akyaweereza ku laadiyo y'Obusiraamu Voice of Africa, eyasookerawo ddala mu ggwanga eyo mu 2001.
Ng'oggyeeko okuweereza Abayisiraamu n'abantu bonna okutwaliza awamu, ono era amanyikiddwa ng'omu ku bantu abakyasinze okuyiwawo omubiri olw'okukuuma obuwangwa n'ennono za Buganda, era azze abeera ssentebe ku bukiiko obw'enjawulo, okugeza, akaalimu okulangirira Abaana n'Abazzukulu ba Nasuru Muwanga.[2] Era yalondebwa okutuula mu nkiiko z'obwakabaka ez'enjawulo, okugeza, ye mukiise w'essaza ly'e Butambala okuva mu 2011.[3]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Al-Hajji Najibu y'omu ku bantu ab'amaanyi abakuumye obulamu baabwe nga bwa kyama nnyo, weewo awo nga bingi bizze bimuwandiikibwako. Ne bw'aba atuukiriddwa mu buntu, ono talina ky'akyogera ku bintu nga ennaku ze ez'obuzaale weewo awo nga ateeberezebwa okuzaalibwa eyo ku ntandikwa y'emyaka gya 1980. Mu bulambulukufu, teri amanyi bifa ku famire ye (ze), ekibiina ky'eby'obufuzi mw'agwa, n'ebirala ebigwa mu kkowa eryo.
Wabula okwawukana ku bantu abasinga, ettutumu ly'omwami ono azze alizimba mu kuba omukkakkamu n'okuteekawo enkola ey'okukolaganira awamu, wadde nga tewabuzeewo kusoomoozebwa okw'enjawulo omuli n'okugezaako okutirimbulwa mu 2014 — bwe yagezaako okutemulwa ba mutamanyanngamba. Wadde teyavaayo kukyogerako mu lujjudde, ensonda zaategeeza nti kyava ku kuba nga ye yali omutwe omukulu mu kukunngaanya ensimbi z'ekitongole ki Union of Muslim Councils for East, Central and Southern Africa nga kiyita mu laadiyo yaakyo Voice of Africa, okuzimba emizikiti mu bitundu by'eggwanga ebitali bimu.
Mu mawulire
[kyusa | edit source]Oluvannyuma lw'okuyingira obuweereza buno ku ntandikwa y'ekyasa kino ekya 21, al-Hajji Najibu atutumukidde ku mukutu gw'amawulire gumu gwokka nga aweereza pulogulaamu ez'okumanyisa, omuli Vva mu Tulo ebeerawo kumakya ne Ssaawa 24 eweerezebwa mu biseera ebya kalasamayanzi.[4]
Mu kaseera kano (Ssebo aseka 2023), y'akola nga akulira abakozi ku laadiyo kw'aweereza (General Manager) oluvannyuma lw'okuddirira Hajji Ismail Ntege mu bigere,[5] eyavaako oluvannyuma lw'ebbugumu n'okutya okwabalukawo oluvannyuma lw'okuttibwa kw'omukulembeze wa Libya Muamar al-Gaddafi, eyalina omukono mu laadiyo eyo.
Mu by'emizannyo
[kyusa | edit source]Najibu Kivumbi muwagizi wa byamizannyo nnakinku era azze akola ebintu bingi okubitumbula. Olw'obwagazi bwe yajja ayolesa, nga 5 Kafuumulampawu 2020, yalondebwa okumyuka omukulu Kiyingi Bbosa, ssentebe w'olukiiko oluteesiteesi e Butambala olwali lwetegekera ekikopo ky'amasaza ekyavujjirirwa omukutu gw'eby'empuliziganya, Airtel, mu biseera ekimbe ki COVID-19 we kyakyakira.[6][7][8]
Emirimu emirala
[kyusa | edit source]Mu birala ebimanyiddwa, mulimu okuba nga y'atwala essomero lya siniya ery'obwannanyini, Ngando Secondary School e Wamala, Butambala.[9] Lino lye limu ku gakyatutumuse mu disitulikiti eyo olw'eby'enjigiriza n'okunywanga akendo mu malala mu by'emizannyo okumala ebbanga, era ne kyongera okumutunda.
Byonna mu byonna, ekitayinza kulekebwaayo, al-Hajji Kivumbi amanyiddwa nnyo mu kujjumbira okulamaga buli mwaka n'ekigendererwa ky'agamba eky'okusabira abantu b'eggwanga okubukanamu emirembe n'obutebenkevu. Bangi ku Bannayuganda bamussaamu ekitiibwa[10] naddala nga bayita mu by'emizannyo ne mu kibiina ky'abawuliriza kye yatandikawo, Team Aamanu (Tiimu Bakkiriza).
Omuwandiisi: Ibraheem Ahmad Ntakambi
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/sports/hajji-bashir-kazibwe-ffiizi-yaziggya-mu-kusii-88265
- ↑ https://www.studocu.com/my/document/universiti-tun-hussein-onn-malaysia/artificial-intelligence/abaana-nabazukulu-ba-nasuru-muwanga/48024401
- ↑ https://ekitibwakyabuganda.wordpress.com/2011/01/
- ↑ http://voiceofafricafmuganda.com
- ↑ https://www.thefreelibrary.com/Al+Qathafi+Projects+in+Uganda+Collapsing-a0275697828
- ↑ https://entebbepost.com/butambala-chief-names-management-team-prior-to-2020-masaza-cup/
- ↑ https://kawowo.com/2020/04/04/butambala-ssaza-eyes-maiden-airtel-masaza-title-names-full-management-team/
- ↑ https://chimpreports.com/masaza-cup-emuron-retains-head-coach-role-at-butambala/
- ↑ https://voiceofbugerere.com/umea-solidarity-games-ngando-ss-retains-netball-trophy-as-the-hosts-kawanda-express-dirty-behaviors-on-final/
- ↑ https://swiftsportsug.com/blog/butambala-reappoint-emuroni-recoba-as-their-head-coach/