Jump to content

Nakasigirwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Nakasigirwa kitegeeza akagambo oba akayingo akayimirirawo ku lw’erinnya mu mboozi/sentensi. Nakasigirwa zirina ebika ebiwerako era nga mwe muli bino wammanga.

Ebika bya nakasigirwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Nakasigirwa ez'obuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino ze nakasigirwa ezikozesebwa mu kifo ky’amannya ag’abantu. Mu zino mulimu nakasigirwa za bika bibiri: i) Ezeemala ii) eziteemala

Ka tuzirabire mu mweso guno wammanga. Omweso ogusooka gulaga nakasigirwa ez'obuntu ezeemala.

OmuntuBumuBungi
AsookaNzeFfe
OwookubiriGgweMmwe
OwookusatuYeBo

Omweso oguddako gulaga nakasigirwa ez'obuntu eziteemala.

OmuntuBumuBungi
Asookan-tu-
Owookubirio-mu-
Owookusatua-ba-

Nakasigirwa ezeemala: zino zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka. Nakasigirwa eziteemala: zino zimala kuyungibwako kigambo kirala ne ziryoka ziwa amakulu. Era nga bw'olabye mu mweso ogwokubiri waggulu, nakasigirwa eziteemala, ziwandiikibwa nga ziragirwa nti buwango obuyungibwa ku ntandikwa y'ekigambo (prefixes).

Ebyokulabirako: Eziteemala

  • ndya mmere
  • osoma kitabo
  • agenda kujja

Ezeemala

  • Nze eyabbiddwa
  • Ggwe watutte omwana mu ddwaliro.
  • Omwana teyayise mmwe?

Nakasigirwa endazi

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino ze nakasigirwa eziraga ebbanga eririwo wakati w’omuntu ayogera, ekyo ky'ayogerako wamu n’oyo gw’akigamba. Nakasigirwa zino ziragibwa n’obuyingo busatu:

Ekifo awali ekyogerwako Akayingo

  • kumpi n’ayogera kyokka wala n’oyo awuliriza -no (bano)
  • wala n’ayogera kyokka kumpi n’awuliriza -o (abo)
  • kiri wala w’abantu bano bombi(ayogera n’awuliriza) -li (bali)

Nakasigirwa ezibuuza

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino zo zibeera zibuuza era nga sentensi mwe zibeera zikomekkerezebwa n’akabonero akabuuza (?); ne mu zino mulimu ezo ezeemala n’eziteemala.

Ezeemala:

  • ddi?
  • Ki?
  • wa?

Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka nga tezigattiddwa ku bigambo birala. Okugeza:

-Abadde akola ki? -Olikomawo ddi? -Wa gy’ogenda okubiggya?

Eziteemala: Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti ziba zirina kusooka kugattibwako kigambo oba kayingo kalala okusobola okuwa amakulu agategeerekeka. Okugeza:

  • Omwana okubye waaki?
  • Abaana abayise wano baani?
  • Enkoko y’akabiika amagi ameka?
  • Amazzi g’okimye galiwa?
  • Nnakawere ali atya?

Nakasigirwa ez’obwannannyini

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino ziraga obwannannyini omuntu bw’aba nabwo ku kintu oba omuntu. Zeeyolekera mu muntu asooka, owookubiri n’owookusatu, mu bumu ne mu bungi.

OmuntuBumuBungi
Asooka-ange (kyange)-affe (kyaffe)
Owookubiri-o (kikyo)-ammwe (kyammwe)
Owookusatu-e (kikye)-abwe (kyabwe)

Nakasigirwa Entabaluganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino ziteekawo oluganda wakati w’erinnya ekkozi oba erikolebwako mu mboozi. Zino zikyukakyuka n’ennyingo y’olubu erinnya mwe liba liri. Eby’okulabirako:

i)Enkozi (‘a’, ‘o’ , ‘e’)

  • Ekikopo ekyatise kinsaze.
  • Omwana alya musanyufu.
  • Omuddo ogukaze mubi

ii)Ezikolebwako Zino kuliko: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge)

  • Ekitabo kye babbye kipya.
  • Omusaayi gwe baasanze mu kinaabiro muyitirivu.
  • Ente ze baleeta zaayonoonye ebirime.
  • Ettooke lye mulidde tto.

Zino nazo zireetawo oluganda wakatiw’erinnya n’ebigambo ebirala ebikozeseddwa mu mboozi. Nakasiba zimalawo okubuusabuusa mu mboozi. Mu zino mulimu: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge,…….)

Eby’okulabirako

  • Emiyembe gye balya.
  • Matooke ge batema.
  • Lusuku lwe balima.
  • Akataayi ke kasaze.

Nakasigirwa eziggumiza

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino zongera amaanyi ku mukozi/akolebwako gwe ziba ziddiridde mu mboozi. Nazo zokyukakyuka okusinziira ku lubu lw’erinnya eriba liri mu mboozi.

Eby’okulabirako

  • Nalule ye gwe banoonya.
  • Akambe ko ke basasiza.
  • Embwa yo ye ndalu.
  • Ebinsambwe byo bye balukisa.

Nakasigirwa ez’essira

[kyusa | kolera mu edit source]

Zino ziraga era n’okussa essira ku linnya eriba mu mboozi. Ziragibwa n’obuyingo bubiri –nna, ne –kka. Buno bwe bugattibwa ku nnakasigirwa okusobola okuwa amakulu.

Eby’okulabirako;

  • Ayise yekka yajja okusuumusibwa.
  • Abalwadde bonna baanirizibwa.
  • Abasajja bonna balimba.
  • Ebijanjaalo byonna byakooleddwa.
  1. Ashton, Ethel O. (1954) Luganda grammar.London, New York, Longmans, Green.
  2. Kyagaba, Dan. (2003). Grammar w'Oluganda omusengejje.
  3. Walusimbi, Livingstone. Oluganda lwa Yunivaasite. Makerere University.