Nakato Kyabangi Katusiime
Nakato Kyabangi Katusiime (yazaalibwa nga 23 Ogwekkuminebiri 1972) Munnayuganda, munnabyabufuzi era nga yaliko Mmemba mu Paalamenti (MP) akiikirira Disitulikiti y'e Gomba. Ye yali omubaka omukyala mu Paalamentiya Uganda 9 nga yali wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM).[1] Yali omu ku babaka ba Paalamenti abaweebwa emidaalo gy'azaabu (Golden Jubilee Medals) mu Gwomwenda nga 9 2012.[2]
Emirimu mu by'obufuzi
[kyusa | edit source]Mu kalulu ka bonna aka 2011,Ms Nakato Kyabangi yawangula eky'omubaka akiikirira Disitulikiti y'e Gomba, ku kaadi y'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement. Mu kalulu k'ekibiina kya NRM, Nakato Kyabangi yawangulwa Nayebale nga yalina obululu 9,297 ate nga Nayebale yafuna obululu 21,835. [3]
Obukuubagano n'ensonga z'amateeka
[kyusa | edit source]Mu 2014, Nakato Kyabangi Katusiime yasisikana emitawaana olw'ebbanja eryali limubanjibwa aba Kenroy Investments (U) Ltd. Ebbanja lyali liweza obukadde bwa Uganda 79 (kumpi Doola 22,000 mu kaseera ako). Okugyako ebiragiro bya Kkooti n'ebiwandiiko by'okukwatibwa, teyabikkiriza. N'olwensonga eyo, Kkooti enkulu yasalawo asibibwe mu kkomera ly'abantu babulijjo.[4][5][6]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://everypolitician.org/uganda/parliament/term-table/9.html
- ↑ https://eagle.co.ug/2016/09/22/besigye-byanyimas-generals-oyite-ojok-rwigyema-parliament-medal-list/
- ↑ http://www.elections.co.ug/new-vision/election/1417394/uganda-elections-2016-provisional-parliamentary-results
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.aljazeera.com/news/2014/9/3/ugandan-mps-drown-in-debt
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/would-bringing-back-constituency-development-fund-save-mps--1592552