Nakongezabwangu (Catalyst)
Appearance
Nakongezabwangu
(Catalyst)
Okuisinziira ku Muwanga , nakongezabwangu(Catalysts) ziba sebusitansi ezanguyiriza ekikyusabuziba(chemical reaction) kyokka zo ne zisigala nga tezikyusiddwa.
Nakongezabwangu(catalyst) zikola nga zikkakkanya obwetaavu bw’amasobozeso (activation energy) okusobozesa ekikyusabuziba okugenda mu maaso mu bwangu.
Mu biramu , nakongezabwangu ziba molekyu za bizimbamubiri(protein molecules) eziyitibwa enzayimu(enzymes). Enzayimu zetaagisiza ddala okusobozesa ekikyusabuziba okugenda mu maaso mu butaffaali bw’omubiri.