Jump to content

Namaganda Susan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Namaganda Susan (eyafa mu mwaka gwa 2015) yali munnabyabufuzi wa Uganda eyalondebwa mu Ppaaliyamenti ya Uganda ey'omwenda okukiikirira disitulikiti y'e Bukomansimbi. Yafuuka omubaka omukyala eyasooka owa Bukomansimbi mu ppaaliyamenti mu mwaka gwa 2011 oluvannyuma lw'okutondebwawo kwa disitulikiti eyo mu mwezi Gwomusanvu (Kasambula) mu mwaka gwa 2010.[1]

Obuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Yasomera ku St. Mary of Lourdese primary school, ne Mengo Senior School. Susan yafuna ebbaluwa ya ssiniya eyookuna (UCE) mu Christ the King Bulinda mu mwaka gwa 2002 bwe yali tanneegatta ku St. Andrew Kagwa ne Daniel okusoma eddaala lya "A".[2][3] Yasoma bya ttekinologiya (ICT) era ng'alina ddiguli mu Cisco Certified Network Associate gye yafunira mu ddiguli ya ttekinologiya (Information Technology) mu mwaka gwa 2006.[2][3] Mu mwaka gwa 2008, yafuna ddipulooma mu Cisco Certified Network professional okuva mu Ssettendekero e Makerere.[1][2][3]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Namaganda yazaalibwa nga ennaku z'omwezi 10 Ogwokuna (Kafuumuulampawu), 1984, nga yazaalibwa omugenzi Simon Peter Kamala ne Elizabeth Sserunkuma Bbosa.[4] Mu mwaka gwa 2015, Susan yafiira mu ddwaliro e Nakasero oluvannyuma lw'okufuna akabenje k'emmotoka e Mpanga, mu disitulikiti y'e Mpigi ku luguudo lw'e Masaka bwe yali nga agenda e Kampala mu lutuula lwa Ppaaliyamenti.[5][6][7][1] Okusinziira ku muwandiisi w'ekibiina kya Democratic Party, Innocent Katerega, akabenje kaaliwo nga ennaku z'omwezi 11 Ntenvu, mu mwaka gwa 2015 wakati wa ssaawa musanvu (7) ne munaana (8) nga obudde bukya mu kibira ky'e Mpanga okumpi n'akabuga k'e Mpigi.[1] Susan yasigalawo n'abaana basatu nga mw'otwalidde n'omwana omuwala ow'emyezi omusanvu.[1][3] Namaganda yali mukyala w'omubaka wa ppaaliyamenti owa East African Legislative assembly, Mukasa Mbidde[2][6] eyamuwasa mu mwezi gwa Ntenvu mu mwaka gwa 2012 mu mbaga ey'obuwangwa emanyikiddwa nga (Kwanjula) eyakolebwa mu maka ga bazadde ba Susan mu kyalo ky'e Kisojjo, mu ggombolola y'e Kibange, mu disitulikiti y'e Bukomansimbi.[1][3][8] Kyokka, Mukasa Mbidde, oluvannyuma yayanjulwa muganzi we, Fiona ku mukolo gw'obuwangwa bw'Ekinyarwanda.[9]

Obulamu bwe mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu ppaaliyamenti ey'omwenda, Susan yaweereza ng'omubaka omukyala mu ppaaliyamenti nga ali ku kkaadi y'ekibiina kya Democratic Party (DP). Susan yayingira ebyobufuzi mu mwaka gwa 2010 oluvannyuma lw'okuweerezaako ng'omukulembeze mu Egy Trading and Engineering Ring e Bugolobi.[1] Bwe yali mu Ppaaliyamenti mu mwaka gwa 2011, Susan yaweerezaako ng'omumyuka wa ssentebe omukyala ow'ekibiina kya DP mu ggwanga lyonna okuva mu Kasambula w'omwaka gwa 2015, yaliko mmemba wa Parliamentary Scripture Union era n'abeerako omuwandiisi omuteesiteesi ow'ekibiina kya DP mu Bukomansimbi.

Yaweerezaako nga mmemba ku kakiiko ka ssaayansi ne ttekinologiya ate ne ku kakiiko k'ebyobulimi, obulunzi n'ebyobuvubi. Yafuuka ensonga bwe yalwana ennyo ku bbeeyi y'ebirime era bw'atyo n'akazibwako erinnya lya bbeeyiyabirime. Nga wayise ennaku nnya nga Susan amaze okufa, Veronica Nanyondo yafukibwako amafuta n'alondebwa ng'omusika wa Susan mu byobufuzi era nga kino kyaliwo mu boomunju mu kuziika kwa Namaganda.  Nanyondo yavuganya mu kifo kya mwannyina ku Democratic Party (DP) era nga 18 Ogwokubiri, 2016, yalondebwa mu ofiisi n'awangula abalala bataano.[4]

Mu kulaba kw'omulambo gw'omugenzi Susan Namaganda ogwalindiridde mu Palamenti, omubaka wa Rwampara, Vincent Kyamadidi yagamba nti eggwanga lyafiirwa munnabyabufuzi ow'amaanyi eyali akyalina bingi eby'okuwa abantu be.[10]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 "Archive copy". Archived from the original on 2016-01-19. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/mp-susan-namaganda-dies-after-accident-1633638
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  4. 4.0 4.1 https://www.independent.co.ug/time-to-tame-family-politics/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-21. Retrieved 2022-04-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 6.0 6.1 https://bigeye.ug/bukomansimbi-woman-mp-namaganda-susan-dead/
  7. https://web.archive.org/web/20201129165217/https://chimpreports.com/mp-susan-namaganda-dies-after-road-accident/
  8. https://eagle.co.ug/2015/12/11/mp-namaganda-dead.html
  9. https://www.pmldaily.com/features/celebrity/2019/12/pictures-mbidde-swept-by-stunning-rwandan-fiancee.html
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)