Namba ez'endagakifo
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Namba za Ndagakifo ziba namba ezisengeka mu bifo(ordinal numbers)
Namba endagakifo oba edding’anya (Ordinal Number) ye namba erondobamu okusinziira ku kifo ekintu mwe kisengekeddwa mu lunyiriri(ist) bweti “. 1ka, 2li, 3tu, 4na, 5no, 6ga, 7vu, 8na, 9da, 10mi, 11mu, n’okweyongerayo. Namba za ndagakifo bwe ziba zoogera ku kintu ng’ojjeko 1 eyatulwa ekisooka, eziddako zaatulwa na “kya”……oba “ekyo….”
okugeza kya kubiri oba eky’okubiri (2li) kyokka bwe ziba ziraga kifo kya muntu zitandika na “wa….”.eky’okulabirako wa kubiri, wa kusatu, wa kuna, n’okweyongerayo. Ate olunaku luba lwa kusooka, lwa kubiri...
Ekyokulabirako:
(a)Mu kkala za musoke“. Kkala eya bbululu ekwata ekifo kya mukaaga.
(b)Omwana yakoze bulungi; yabadde wa 8na mu kibiina kyonna.
(c)Ku lusooka ' wajja kubaawo okuwandiisa abaana ku ssomero lya Twekembe Kindergarten.
N’olwekyo namba za endagakifo zikugamba ensengeka oba ekifo ky’ekintu ekiri mu musengeko (set).